Ogw’Okusoma
JJANWALI 2023
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: FEBWALI 27–APULI 2, 2023
© 2022 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2023:
“Amazima gwe mulamwa gw’ekigambo kyo.”—ZAB. 119:160
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
EKIFAANANYI KU DDIBA:
Abakoppolozi b’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya beegenderezanga nnyo era baakakasanga nti ebyo bye baabanga bakoppolodde bituufu (Laba ekitundu eky’okusoma 1, akatundu 5)