LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp25 Na. 1 lup. 14-15
  • Engeri gy’Osobola Okuba n’Emirembe Wadde nga Waliwo Entalo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri gy’Osobola Okuba n’Emirembe Wadde nga Waliwo Entalo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
  • Similar Material
  • Ebintu Ebibi Ebibaawo mu Lutalo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Katonda Awulira Atya bw’Alaba ng’Obonaabona?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Engeri Entalo gye Zijja Okumalibwawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
wp25 Na. 1 lup. 14-15
Omusajja omukadde eyavaako omukono olw’entalo ali mu kagaali k’abalema era ali wamu n’ab’omu maka ge ku kijjulo.

Engeri gy’Osobola Okuba n’Emirembe Wadde nga Waliwo Entalo

Gary eyali mu magye nga tannayiga Bayibuli agamba nti: “Nnali simanyi nsonga lwaki waliwo ebikolwa eby’obukambwe bingi, obutali bwenkanya, n’ebizibu ebirala mu nsi. Naye kati nnina emirembe ku mutima. Nkimanyi nti Yakuwa Katonda ajja kutereeza ensi ebe nga tekyalimu bizibu.”

Gary si ye yekka awulira bw’atyo. Laba engeri Bayibuli gy’eyambyemu n’abalala.

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Ai Yakuwa, oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.”—Zabbuli 86:5.

ENGERI EKYAWANDIIKIBWA EKYO GYE KINNYAMBAMU: “Ebigambo ebiri mu lunyiriri olwo binkakasa nti Yakuwa musaasizi. Nkimanyi nti mwetegefu okunsonyiwa byonna bye nnakola nga ndi mu magye.”—Wilmar, Colombia.

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya; ebintu ebyasooka tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.”—Isaaya 65:17.

ENGERI EKYAWANDIIKIBWA EKYO GYE KINNYAMBAMU: “Ebintu bye nnalaba nga ndi mu magye byanviirako okufuna obulwadde obukosa ebirowoozo. Naye ekyawandiikibwa ekyo kinzijukiza nti mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kunnyamba okulekera awo okuloota ebirooto eby’entiisa olw’ebyo bye nnalabanga mu ntalo. Ebintu ebyo bijja kuviira ddala mu birowoozo byange. Nneesunga nnyo ekiseera ekyo!”—Zafirah, Amerika.

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Mu nnaku ze abatuukirivu bajja kumeruka, era emirembe ginaabanga mingi nnyo okutuusa omwezi lwe guliba nga tegukyaliwo.”—Zabbuli 72:7.

ENGERI EKYAWANDIIKIBWA EKYO GYE KINNYAMBAMU: “Ntera okulowooza ku bigambo ebyo. Mu kiseera ekitali kya wala, ebizibu ebireetebwa entalo bijja kukoma, era tetuliddamu kweraliikirira nti abantu baffe bajja kutuusibwako obulabe.”—Oleksandra, Ukraine.

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Abafu bo baliba balamu. . . . Muzuukuke mwogerere waggulu n’essanyu mmwe ababeera mu nfuufu!”—Isaaya 26:19.

ENGERI EKYAWANDIIKIBWA EKYO GYE KINNYAMBAMU: “Kumpi ab’omu maka gaffe bonna battibwa mu kittabantu ekyaliwo, ng’ab’e ggwanga erimu bagezaako okusaanyaawo ab’eggwanga ly’Abatuusi. Naye ebigambo ebiri mu lunyiriri olwo binkakasa nti nja kuddamu mbalabe. Nneesunga okuddamu okuwulira ku maloboozi gaabwe nga bazuukiziddwa!”—Marie, Rwanda.

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”—Zabbuli 37:​10, 11.

ENGERI EKYAWANDIIKIBWA EKYO GYE KINNYAMBAMU: “Wadde ng’olutalo lwaggwa, abantu ababi n’ebikolwa eby’obutali bwenkanya bikyaliwo. Ennyiriri zino zinnyambye nnyo. Yakuwa alaba buli kimu era ategeera embeera gye mpitamu. Asuubiza nti okubonaabona kujja kuggwaawo era kwerabirwe.”—Daler, Tajikistan.

Abantu aboogeddwako mu katabo kano, be bamu ku bukadde n’obukadde obw’Abajulirwa ba Yakuwa Bayibuli b’eyambye okufuna emirembe ku mutima. Bayigiriziddwa okweggyamu obukyayi. Tebakyawa bantu olwa langi yaabwe, ensi yaabwe, oba olw’eggwanga lyabwe. (Abeefeso 4:​31, 32) Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi era tebeenyigira mu ntalo.—Yokaana 18:36.

Ate era Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi, bayambagana. (Yokaana 13:35) Ng’ekyokulabirako, Oleksandra, ayogeddwako waggulu, yava mu nsi ye ne muganda we ne baddukira mu nsi endala olw’olutalo. Agamba nti: “Amangu ddala nga twakasala ensalo twalaba Abajulirwa ba Yakuwa era baatwaniriza. Baatuyamba okumanyiira okubeera mu nsi eyo gye twaddukira ng’abanoonyi b’obubudamu.”

Tukwaniriza okubaawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa gye tuyigira ku bubaka obubudaabuda obuli mu Bayibuli n’engeri gye tusobola okubukolerako. Okumanya ekifo ekikuli okumpi, genda ku mukutu gwaffe jw.org. Osobola n’okusaba okuyigirizibwa Bayibuli ku bwereere era omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ajja kukuyamba ng’akozesa akatabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share