LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Febwali lup. 25-27
  • Weewale Okwetwala Nti Oli wa Kitalo ng’Abantu Bangi Bwe Beetwala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weewale Okwetwala Nti Oli wa Kitalo ng’Abantu Bangi Bwe Beetwala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI GYE TUYINZA OKWEWALA OMWOYO GW’OKWEFAAKO FFEKKA OBA OKWETWALA NTI TULI BA KITALO
  • Teweetwala Kuba wa Waggulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Yakuwa Ayagala Nnyo Abaweereza Be Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Beera Mwetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yakuwa Abikkula Ekitiibwa Kye eri Abeetoowaze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Febwali lup. 25-27
Omusajja ayogera mu ngeri ey’obukambwe n’omukyala akola awatuukirwa mu wooteeri. Bakasitoma abalala balindiridde okubakolako.

Weewale Okwetwala Nti Oli wa Kitalo ng’Abantu Bangi Bwe Beetwala

OKYETEGEREZZA nti abantu bangi mu nsi baagala nnyo okuweebwa ebitiibwa oba okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo ku balala? Naye ne bwe baweebwa ebitiibwa ebyo basigala bakyayagala ebirala. Abantu abalina endowooza ng’eyo baba beefaako bokka era tebasiima bye balina. Bayibuli yalaga nti bangi mu nnaku ez’enkomerero bandibadde bwe batyo.—2 Tim. 3:2.

Kya lwatu, okuva edda wabaddewo abantu abeefaako bokka. Adamu ne Kaawa baasalawo okwesalirawo ekirungi n’ekibi era ebyavaamu byali bibi nnyo. Nga wayise ebyasa bingi, kabaka wa Yuda eyali ayitibwa Uzziya yalowooza nti yalina obuyinza okwotereza obubaani ku yeekaalu, naye ekyo tekyali kituufu. (2 Byom. 26:​18, 19) Ate era Abafalisaayo n’Abasaddukaayo baali balowooza nti Katonda yandibayisizza mu ngeri ya njawulo olw’okuba baali bazzukulu ba Ibulayimu.—Mat. 3:9.

Abantu bangi leero beefaako bokka era beetwala nti ba kitalo. Naffe tuyinza okutwalirizibwa endowooza eyo. (Bag. 5:26) Tuyinza okutandika okulowooza nti tugwanidde okuweebwa enkizo emu, oba okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo. Tuyinza tutya okwewala okuba n’endowooza eyo? Okusookera ddala, tusaanidde okumanya endowooza ya Yakuwa ku nsonga eyo. Waliwo emisingi gya Bayibuli ebiri egisobola okutuyamba.

Yakuwa y’alina okusalawo ekyo kye tusaanidde okuweebwa. Ka tulabeyo ebyokulabirako.

  • Mu maka, omwami yeetaaga okuwulira nti mukyala we amussaamu ekitiibwa, era n’omukyala yeetaaga okuwulira nti omwami we amwagala. (Bef. 5:33) Abafumbo buli omu asaanidde okulaga munne omukwano so si okugulaga omuntu omulala. (1 Kol. 7:3) Abazadde basuubira abaana baabwe okubagondera, era n’abaana basuubira bazadde baabwe okubaagala n’okubalabirira.—2 Kol. 12:14; Bef. 6:2.

  • Mu kibiina, abakadde abakola ennyo bagwanidde okussibwamu ennyo ekitiibwa. (1 Bas. 5:12) Naye tebalina kukajjala ku bakkiriza bannaabwe.—1 Peet. 5:​2, 3.

  • Katonda yawa gavumenti z’abantu obuyinza okusaba abantu omusolo era n’okuweebwa ekitiibwa abo be bafuga.—Bar. 13:​1, 6, 7.

Ebintu Yakuwa by’atuwa bingi nnyo okusinga ebyo bye tugwanidde okuweebwa. Olw’okuba twasikira ekibi, tugwanidde kufa. (Bar. 6:23) Wadde kiri kityo, Yakuwa atuwa ebintu bingi nnyo olw’okuba atulaga okwagala okutajjulukuka. (Zab. 103:​10, 11) Ebintu byonna by’atuwa abituwa olw’ekisa kye eky’ensusso, naye si lwa kuba nti tugwanidde okubifuna.—Bar. 12:​6-8; Bef. 2:8.

ENGERI GYE TUYINZA OKWEWALA OMWOYO GW’OKWEFAAKO FFEKKA OBA OKWETWALA NTI TULI BA KITALO

Weegendereze oleme kutwalirizibwa ndowooza y’abantu abali mu nsi ya Sitaani. Nga tetukigenderedde, tuyinza okutandika okulowooza nti tugwanidde okuweebwa enkizo oba okufiibwako okusinga abalala. Olugero Yesu lwe yagera olukwata ku bakozi abaasuubizibwa okusasulwa ddinaali emu, lulaga nti kyangu nnyo okufuna endowooza eyo. Abamu ku bakozi abo baatandika okukola ku makya era baakola olunaku lwonna ng’omusana gubookya. Abalala baakolera essaawa emu yokka. Abakozi abaakola olunaku olulamba baalowooza nti baali bagenda kuweebwa ssente nnyingiko olw’ekyo kye baali bakoze. (Mat. 20:​1-16) Yesu bwe yali alaga ekyo kye tuyiga mu lugero olwo, yakyoleka nti abagoberezi be basaanidde okuba abamativu n’ebyo Katonda by’abawa.

Abamu ku bakozi aboogerwako mu lugero lwa Yesu nga beemulugunya eri mukama waabwe.

Abasajja abaakola olunaku olulamba baalowooza nti baalina okusasulwa ssente nnyingiko

Beera muntu asiima era tosuubira kufuna bintu mu balala. (1 Bas. 5:18) Koppa omutume Pawulo eyali tasuubira kufuna bintu mu bakkiriza banne ab’omu Kkolinso, wadde nga yalina eddembe okubasaba ebintu ebyo. (1 Kol. 9:​11-14) Tusaanidde okusiima buli kintu kye tufuna era tulina okwewala okusuubira okufuna ebintu mu bannaffe.

Omutume Pawulo ng’ali n’abasajja abalala babiri bakola weema.

Omutume Pawulo teyasaba bakkiriza banne kumuwa buyambi bwa ssente

Kulaakulanya obwetoowaze. Omuntu bwe yeetwala nti wa kitalo, emirundi mingi aba alowooza nti agwanidde okuweebwa ekisinga ku ekyo ky’alina. Obwetoowaze bwe busobola okutuyamba okwewala endowooza eyo embi.

Ebifaananyi: 1. Nnabbi Danyeri ng’akaddiye. 2. Ekibuga Babulooni eky’edda. 3. Danyeri ng’akyali muto ng’ali wamu ne banne Abebbulaniya abasatu.

Obwetoowaze bwa Danyeri bwamufuula wa muwendo eri Yakuwa

Nnabbi Danyeri yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuba omwetoowaze. Amaka mwe yali ava, endabika ye ennungi, amagezi ge, n’obusobozi bwe, byali bisobola okumuleetera okulowooza nti yali agwanidde okuyisibwa mu ngeri ey’enjawulo n’okuweebwa enkizo ze yafuna. (Dan. 1:​3, 4, 19, 20) Kyokka Danyeri yasigala mwetoowaze, era obwetoowaze obwo bwamufuula wa muwendo nnyo eri Yakuwa.—Dan. 2:30; 10:​11, 12.

Ka bulijjo twewale omwoyo gw’okwefaako n’ogw’okwetwala nti tuli ba kitalo, ogubunye mu nsi leero. Mu kifo ky’ekyo, ka bulijjo tusanyukirenga ebirungi byonna Yakuwa by’atuwa olw’ekisa kye eky’ensusso.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share