LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Jjulaayi lup. 31
  • Obadde Okimanyi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obadde Okimanyi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Similar Material
  • Siima Enkizo gy’Olina ey’Okusinziza Yakuwa mu Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Jjulaayi lup. 31
Bakabona nga bawaayo ssaddaaka ku kyoto kya yeekaalu.

Obadde Okimanyi?

Mu kyasa ekyasooka, bakabona abaaweerezanga ku yeekaalu baayiwanga wa omusaayi ogwavanga mu nsolo ezaaweebwangayo nga ssaddaaka?

BULI mwaka, bakabona mu Isirayiri ey’edda baawangayo ensolo nkumi na nkumi nga ssaddaaka ku kyoto kya yeekaalu. Munnabyafaayo Omuyudaaya eyaliwo mu kyasa ekyasooka ayitibwa Josephus, yagamba nti ku Mbaga ey’Okuyitako, endiga ezisukka mu 250,000 zaaweebwangayo era zaavangamu omusaayi mungi. (Leev. 1:​10, 11; Kubal. 28:​16, 19) Omusaayi ogwo baaguteekanga wa?

Abo abayiikuula ebintu eby’edda baazuula omukutu omuwanvu mu yeekaalu Kerode gye yazimba, ogwakozesebwanga okutuusa yeekaalu eyo lwe yazikirizibwa mu mwaka gwa 70 E.E. Omukutu ogwo gwe gwakulukutirangamu omusaayi ogwavanga mu yeekaalu.

Weetegereze ebintu bibiri ebyayamba bakabona okukuumanga ekyoto nga kiyonjo:

  • Ebituli ebyali wansi w’ekyoto: Ekitabo ky’Abayudaaya ekiyitibwa Mishnah ekyawandiikibwa ng’ekyasa eky’okusatu E.E. kyakatandika, ekyogera ku mateeka gaabwe n’obuwangwa bwabwe, kyogera ku bituli omwayitanga omusaayi n’amazzi. Kigamba nti: “Waaliwo ebituli bibiri ku nsonda emu ey’ekyoto. Omusaayi gw’ebiweebwayo n’amazzi agaakozesebwanga okuyonja ekyoto byayitanga mu bituli ebyo, ne bikulukutira mu mukutu ogutwala amazzi mu kiwonvu Kidulooni.”

    Ebyo abayiikuula ebintu eby’edda bye bazudde biraga nti ebyoto byabangako ebituli omwayitanga omusaayi n’amazzi. Ekitabo ekiyitibwa The Cambridge History of Judaism nakyo kyogera ku bintu ebyazuulibwa ebyali biraga nti okumpi ne yeekaalu waaliwo “omukutu omunene.” Kigamba nti: “Kirabika omukutu ogwo gwakozesebwanga okutwala amazzi n’omusaayi ogwavanga mu nsolo ezaaweebwangayo nga ssaddaaka ku yeekaalu.”

  • Baalina amazzi agamala: Bakabona baali beetaaga amazzi mangi okuyonja entobo y’ekyoto n’omukutu omusaayi mwe gwayitanga. Mu kibuga mwalimu amazzi agamala bakabona ge baabanga beetaaga. Ekibuga ekyo kyalimu emikutu egyaleetanga amazzi, n’ebidiba mwe baagaterekanga. Omu ku abo abayiikuula ebintu eby’edda ayitibwa Joseph Patrich yagamba nti: “Kirabika mu kiseera ekyo tewaaliwo yeekaalu ndala yonna yalina nteekateeka nnungi ey’okufunamu amazzi ag’okuyonja yeekaalu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share