EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
‘Oyize Ekyama’ eky’Okuba Omumativu?
“Njize okubeera omumativu mu buli mbeera.”—BAF. 4:11.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba engeri gye tusobola okuba abamativu bwe tuba abantu abasiima, abeetoowaze, era abafumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso.
1. Okuba omumativu kitegeeza ki, era kiki kye kitategeeza?
OLI mumativu n’ebyo by’olina? Omuntu omumativu aba musanyufu era aba n’emirembe kubanga aba asiima ebyo Yakuwa by’amukoledde. Taba munakuwavu era taba musunguwavu olw’ebyo by’aba talina. Naye okuba abamativu tekitegeeza buteefiirayo. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo ayinza okuluubirira enkizo asobole okugaziya ku buweereza bwe eri Yakuwa. (Bar. 12:1; 1 Tim. 3:1) Wadde kiri kityo, taggweebwako ssanyu enkizo ezo bw’atazifuna mu kiseera ky’aba azisuubiriramu.
2. Kiki ekisobola okubaawo singa tetuba bamativu?
2 Obutaba bamativu kiyinza okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, abamu bakola essaawa nnyingi nnyo ku mulimu basobole okufuna ssente okugula ebintu bye baagala kyokka nga tebabyetaaga. Eky’ennaku, Abakristaayo abamu batuuse n’okubba ssente oba ebintu ebirala bye beegomba. Muli bayinza okuba nga baalowooza nti, ‘Ekintu kino kisaanidde kuba kyange,’ oba ‘Ekintu kino nkyagala kati,’ oba ‘Ssente zino nsobola okuzitwala ne nzisasula oluvannyuma.’ Kyokka okubba okw’engeri yonna kunyiiza Yakuwa, era tekumuweesa kitiibwa. (Nge. 30:9) Abamu baweddemu amaanyi olw’obutafuna nkizo gye bamaze ekiseera nga baluubirira, ne batuuka n’okulekera awo okuweereza Yakuwa. (Bag. 6:9) Kiki ekiyinza okuviirako omuweereza wa Yakuwa okukola ekintu ng’ekyo? Omuntu oyo ayinza okuba nga takyali mumativu.
3. Abafiripi 4:11, 12, watuyigiriza ki?
3 Ffenna tusobola okuyiga okuba abamativu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Njize okubeera omumativu mu buli mbeera.” (Soma Abafiripi 4:11, 12.) We yawandiikira ebigambo ebyo yali musibe mu kkomera. Wadde kyali kityo, yali akyali musanyufu. Yali ‘ayize ekyama’ eky’okuba omumativu. Bwe kiba nga si kyangu gy’oli okuba omumativu, ebigambo bya Pawulo ebyo n’ebyo bye yayitamu biraga nti tusobola okuba abamativu ka tubeere mu mbeera ki. Kyokka tetusaanidde kulowooza nti tujja kuba bamativu mu buli mbeera gye tubaamu. Tulina okuyiga okuba abamativu. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ezisobola okutuyamba okuyiga ekyama ky’okuba abamativu.
SIIMA EBYO BY’OLINA
4. Okuba abantu abasiima kituyamba kitya okuba abamativu? (1 Abassessalonika 5:18)
4 Omuntu asiima emirundi mingi aba mumativu. (Soma 1 Abassessalonika 5:18.) Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tusiima ebintu bye tulina era bye twetaaga mu bulamu, tetujja kulowooza nnyo ku bintu bye twagala naye nga tetubirina. Bwe tuba nga tusiima enkizo ze tulina mu kiseera kino, tujja kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku nkizo endala ze twagala naye nga tetunnazifuna. Tekyewuunyisa nti Ebyawandiikibwa bitukubiriza okwebaza Yakuwa bwe tuba tusaba. Bwe tuba abantu abasiima tujja kuba ‘n’emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna.’—Baf. 4:6, 7.
5. Lwaki Abayisirayiri bandibadde basiima Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)
5 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Bayisirayiri. Emirundi mingi beemulugunyiza Yakuwa nga bagamba nti baagala kulya mmere gye baalyanga nga bali e Misiri. (Kubal. 11:4-6) Kyo kituufu nti obulamu mu ddungu bwali buzibu. Naye kiki ekyali kisobola okubayamba okuba abamativu? Baali balina okufumiitiriza ku bintu ebirungi Yakuwa bye yali abakoledde. Bandibadde bakijjukira nti bwe baali mu buddu e Misiri era nga bayisibwa bubi, Yakuwa yaleeta ebibonyoobonyo ekkumi ku Bamisiri naye bo yabakuuma. Yakuwa bwe yanunula Abayisirayiri okuva e Misiri “batwala ebintu by’Abamisiri” omwali ffeeza, zzaabu, n’engoye. (Kuv. 12:35, 36) Abamisiri bwe baawondera Abayisirayiri okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, Yakuwa yakola ekyamagero n’ayawuzaamu ennyanja eyo ne basobola okuwonawo. Ate era bwe baali batambula mu ddungu, Yakuwa yabawanga emmaanu buli lunaku. Kati olwo lwaki Abayisirayiri baali beemulugunya? Abayisirayiri tebaali bamativu, si lwa kuba tebaalina mmere ebamala, naye lwa kuba baali tebasiima ebyo Yakuwa bye yali abakoledde.
Kiki ekyaleetera Abayisirayiri obutaba bamativu? (Laba akatundu 5)
6. Biki ebisobola okutuyamba okuba abantu abasiima?
6 Biki ebisobola okukuyamba okuba omuntu asiima? Ekisooka, buli lunaku lowooza ku bintu ebirungi ebikuleetera essanyu. Osobola n’okuwandiika ebintu bibiri oba bisatu ebikuleetera essanyu. (Kung. 3:22, 23) Eky’okubiri, siima abalala bwe babaako kye bakukoledde. Naye okusingira ddala weebaze Yakuwa buli lunaku. (Zab. 75:1) Eky’okusatu, kola emikwano n’abantu abasiima. Bwe tukola omukwano n’abantu abatasiima era abeemulugunya, naffe tujja kuba nga bo. Naye mikwano gyaffe bwe baba abantu abasiima, naffe tujja kuba bantu abasiima. (Ma. 1:26-28; 2 Tim. 3:1, 2, 5) Bwe tukozesa buli kakisa ke tufuna okwebaza abalala, tetujja kunakuwala nnyo olw’ebizibu bye tufuna oba olw’ebintu bye tutalina.
7. Kiki ekyayamba mwannyinaffe Aci okuba omumativu?
7 Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mwannyinaffe Aci, abeera mu Indonesia. Agamba nti: “Mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, nnatandika okugeraageranya embeera yange ku yabakkiriza bannange, era ekyo kyandeetera obutaba mumativu.” (Bag. 6:4) Kiki ekyamuyamba okutereeza endowooza ye? Aci agamba nti: “Nnatandika okufumiitiriza ku bintu ebirungi Yakuwa by’ankolera buli lunaku, n’okufumiitiriza ku birungi bye nfunye olw’okuba ndi mu kibiina kye era ne mmwebaza olw’ebintu ebyo. Ekyo kyannyamba okuba omumativu.” Bw’oba nga toli mumativu olw’embeera gy’olimu, osobola okukola ekyo Aci kye yakola kikuyambe okuba omuntu asiima?
TOWUGULIBWA ERA BEERA MWETOOWAZE
8. Kiki ekyatuuka ku Baluki?
8 Waliwo ekiseera omuwandiisi wa nnabbi Yeremiya eyali ayitibwa Baluki, lw’ataali mumativu. Baluki yalina obuvunaanyizibwa obutaali bwangu. Yalina okuyamba Yeremiya okulangirira obubaka obw’omusango eri Abayisirayiri abaali abajeemu. Naye mu kifo ky’okussa ebirowoozo bye ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala akole, Baluki yatandika kulowooza ku ekyo ye kye yali ayagala okukola. Ng’ayitira mu Yeremiya, Yakuwa yagamba Baluki nti: “Weenoonyeza ebikulu. Lekera awo okunoonya ebintu ng’ebyo.” (Yer. 45:3-5) Mu ngeri endala Yakuwa yali ng’agamba Baluki nti: “Beera mumativu n’ebyo by’olina.” Baluki yakkiriza okuwabula Yakuwa kwe yamuwa, n’asobola okusigala nga mukwano gwe.
9. Ebiri mu 1 Abakkolinso 4:6, 7, bituyamba bitya okubeera n’endowooza ennuŋŋamu ku nkizo ze tuba twagala? (Laba n’ebifaananyi.)
9 Ebiseera ebimu, Omukristaayo ayinza okuwulira nti agwanidde okufuna enkizo emu. Ayinza okuba awulira bw’atyo olw’okuba alina obukugu mu kukola ekintu ekimu, mukozi munyiikivu, era ng’amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza Yakuwa. Kyokka, abalala bayinza okuweebwa enkizo yennyini gy’abadde ayagala. Kiki ekiyinza okumuyamba obutawulira bubi? Kiba kirungi n’alowooza ku bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 4:6, 7. (Soma.) Buli nkizo gye tufuna oba obukugu bwe tulina, byonna biva eri Yakuwa. Yakuwa tatuwa bintu ebyo olw’okuba tugwanidde okubifuna. Abituwa olw’ekisa kye eky’ensusso.—Bar. 12:3, 6; Bef. 2:8, 9.
Obusobozi bwonna bwe tulina, Yakuwa abutuwadde olw’ekisa kye eky’ensusso (Laba akatundu 9)b
10. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abeetoowaze?
10 Tusobola okuyiga okuba abeetoowaze bwe tulowooza ku kyokulabirako Yesu kye yatuteerawo. Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiro Yesu lwe yanaaza abatume be ebigere. Omutume Yokaana yagamba nti: “Yesu, ng’akimanyi nti [1] Kitaawe yali amukwasizza ebintu byonna, era [2] nti yava eri Katonda era [3] nga gye yali agenda okudda, . . . [yatandika] okunaaza abayigirizwa be ebigere.” (Yok. 13:3-5) Yesu yandibadde agamba abatume be be baba bamunaaza ebigere. Naye Yesu bwe yali ku nsi, teyakitwala nti olw’okuba yali mwana wa Katonda yalina okuba mu bulamu obulungi. (Luk. 9:58) Yali mwetoowaze era ekyo kyamuyamba okuba omumativu. Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.—Yok. 13:15.
11. Kiki ekyayamba Dennis okuba omumativu?
11 Dennis, abeera mu Netherlands, afuba okubeera omwetoowaze nga Yesu, naye tekimubeeredde kyangu. Agamba nti: “Omuntu bw’aweebwa enkizo gye mbadde njagala, ebiseera ebimu mpulira bubi kubanga mba ndowooza nti nze agwanidde okufuna enkizo eyo. Ekyo bwe kibaawo, nsoma ku bwetoowaze. Waliwo ebyawandiikibwa bye nnatereka mu JW Library® apu ebikwata ku bwetoowaze, bye nsoma ekyo bwe kibaawo. Ate era waliwo vidiyo ezikwata ku bwetoowaze ze nnawanula ne nziteeka mu ssimu yange era nziraba enfunda n’enfunda.a Njize nti buli kintu kye tukola, tukikola lwa kutendereza Yakuwa, so si kuleetera balala kutugulumiza. Olw’ekisa kye, buli omu ku ffe Yakuwa aliko ky’amuwadde okukola era y’amusobozesa okukituukiriza.” Bw’owulira nga toli musanyufu olw’okuba olina enkizo gy’oyagala naye nga tonnagifuna, weeyongere okukulaakulanya obwetoowaze. Ekyo kijja kunyweza enkolagana yo ne Yakuwa era kikuyambe okuba omumativu.—Yak. 4:6, 8.
FUMIITIRIZA KU BISUUBIZO BYA YAKUWA
12. Biki Yakuwa by’asuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso ebituyamba okuba abamativu? (Isaaya 65:21-25)
12 Tuba bamativu bwe tufumiitiriza ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso. Mu kitabo kya Isaaya, Yakuwa akiraga nti ategeera ebizibu bye tuyitamu, naye era asuubiza nti ajja kuggyawo ebizibu ebyo byonna. (Soma Isaaya 65:21-25.) Mu kiseera ekyo tujja kuba n’amayumba amalungi. Tujja kuba n’emirimu gye tunyumirwa okukola, era tujja kulya emmere ennungi era ewooma. Tetujja kuddamu kweraliikirira nti ebintu ebibi biyinza okututuukako oba okutuuka ku baana baffe. (Is. 32:17, 18; Ezk. 34:25) Tuli bakakafu nti ebintu ebyo byonna ebirungi Yakuwa by’asuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso, ajja kubituukiriza.
13. Okusingira ddala ddi lwe twetaaga ennyo okufumiitiriza ku ebyo Katonda by’atusuubizza?
13 Lwaki kikulu okufumiitiriza ku ebyo Katonda by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso? Kubanga tuli mu “nnaku ez’enkomerero” era waliwo ebizibu bingi nnyo. (2 Tim. 3:1) Yakuwa atuyamba okugumiikiriza buli lunaku ng’atuwa obulagirizi, amaanyi, n’obuyambi bwe twetaaga. (Zab. 145:14) Ate era essuubi lye tulina lituyamba okugumira ebizibu bye tuyinza okuba nabyo. Oboolyawo sikyangu okukola ku byetaago by’ab’omu maka go eby’omubiri. Ekyo kitegeeza nti buli kiseera tekijja kuba kyangu okukola ku byetaago by’ab’omu maka go? Nedda! Yakuwa asuubiza nti ajja kukola ku byetaago byammwe mu kiseera kino. Ate era mu Nsi Empya ajja kubawa n’ebisingawo. (Zab. 9:18; 72:12-14) Oyinza okuba ng’olumizibwa buli kiseera, ng’oli mwennyamivu, oba ng’olina obulwadde obw’amaanyi. Onoobeera mu mbeera eyo ekiseera kyonna? Nedda. Katonda asuubiza nti mu nsi empya tewajja kubaayo bulwadde na kufa. (Kub. 21:3, 4) Essuubi eryo lituyamba okuba abamativu n’obutanakuwala kisukkiridde olw’ebizibu bye tufuna mu kiseera kino. Tusobola okuba abamativu ne bwe tuba nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya, nga tufiiriddwa omuntu waffe, nga tulina obulwadde obw’amaanyi, oba nga twolekagana n’embeera enzibu. Lwaki kiri bwe kityo? Kubanga ka kibe kizibu ki kye tulina oba mbeera ki enzibu gye tulimu, tukimanyi nti okubonaabona kwe tufuna “kwa kaseera buseera,” era nti mu nsi empya ebizibu byonna bijja kuggibwawo.—2 Kol. 4:17, 18.
14. Tuyinza tutya okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe mu bisuubizo bya Yakuwa?
14 Essuubi lye tulina lituyamba okuba abamativu. Kati olwo kiki ekisobola okutuyamba okuba abakakafu nti ebyo Katonda by’asuubizza bijja kutuukirira? Ng’omuntu bw’ayinza okwetaaga okwambala galubindi okusobola okulaba obulungi ebintu ebiri ewala, naffe twetaaga okubaako kye tukolawo okunyweza essuubi lyaffe tusobole okweraba nga tuli mu Nsi Empya. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tweraliikirira olw’okuba tetulina ssente zimala okweyimirizaawo, tusobola okukuba akafaananyi ku ngeri obulamu gye bunaabaamu nga tetwetaaga ssente era nga tewali muntu mwavu. Bwe tuba nga tuwulira bubi olw’okuba waliwo enkizo gye twagala naye nga tetunnagifuna, tusobola okufumiitiriza bwe kinaabeera mu nsi empya nga tuweereza Yakuwa emirembe gyonna era nga tutuukiridde. (1 Tim. 6:19) Bwe tuba n’ebintu ebingi bye tweraliikirira mu kiseera kino, kiyinza okutuzibuwalira okufumiitiriza ku bintu ebirungi Katonda by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso. Naye gye tukoma okulowooza ku bintu ebirungi Katonda by’atusuubizza, kijja kutuyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tulina.
15. Kiki ky’oyigidde ku Christa?
15 Waliwo kye tusobola okuyigira ku Christa, mukyala wa Dennis, eyayogeddwako waggulu. Agamba nti: “Nnina obulwadde obunnafuya ennyo ne kiba nti nnina kutambulira mu kagaali, era ebiseera bingi mba nneebase. Gye buvuddeko awo, omusawo yaŋŋamba nti sijja kutereera. Naye muli nnagamba nti, ‘Omusawo ono talaba biseera bya mu maaso nga nze bwe mbiraba.’ Ebirowoozo byange mbimalidde ku ssuubi lye nnina era ekyo kimpa emirembe ku mutima. Mu kiseera kino kinneetaagisa okugumiikiriza, naye nja kubeera n’obulamu obulungi mu nsi empya!”
“ABO ABAMUTYA TEBALINA KYE BAJULA”
16. Lwaki Kabaka Dawudi yagamba nti abo abatya Yakuwa “tebalina kye bajula”?
16 Wadde ng’abaweereza ba Yakuwa baba bamativu n’ebyo bye balina, nabo bafuna ebizibu. Lowooza ku Kabaka Dawudi, basatu ku baana be baafa. Abantu abamu baamuwaayiriza ebintu by’ataakola, mikwano gye baamulyamu olukwe, era okumala emyaka mingi kabaka yali amuyigga okumutta. Ne bwe yali ng’ayolekagana n’ebizibu ebyo yasigala mumativu. Yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Abo abamutya tebalina kye bajula.” (Zab. 34:9, 10) Lwaki yali asobola okwogera ebigambo ebyo? Kubanga yali akimanyi nti wadde nga Yakuwa taziyiza baweereza be kufuna bizibu, baba bakakafu nti ajja kubayamba okufuna bye beetaaga. (Zab. 145:16) Okufaananako Dawudi, naffe tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali ne bwe tuba nga tulina ebizibu. N’olwekyo tusobola okuba abamativu mu mbeera yonna gye tubaamu.
17. Lwaki omaliridde okuyiga ekyama eky’okuba omumativu?
17 Yakuwa ayagala obeere mumativu. (Zab. 131:1, 2) N’olwekyo fuba okuyiga ekyama eky’okuba omumativu. Bw’ofuba okuba omuntu asiima, n’otowugulibwa era n’oba mwetoowaze, era n’ossa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi Katonda by’atusuubizza mu biseera eby’omu maaso, ojja kusobola okugamba nti: “Ndi mumativu.”—Zab. 16:5, 6.
OLUYIMBA 118 “Twongere Okukkiriza”
a Ng’ekyokulabirako, laba ku jw.org vidiyo z’ekyawandiikibwa ky’olunaku zino: Jehovah Cares for the Humble ne Pride Is Before a Crash.
b EBIFAANANYI: Ow’Oluganda ayambako mu kuddaabiriza ekizimbe ekikozesebwa ekibiina, mwannyinaffe eyayiga olulimi lwa bakiggala ng’abuuzibwa ebibuuzo ku lukuŋŋaana olunene, n’ow’oluganda ng’awa emboozi eri bonna.