LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Noovemba lup. 32
  • Kozesa Bulungi ‘Ekirabo Kyo eky’Eby’Omwoyo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kozesa Bulungi ‘Ekirabo Kyo eky’Eby’Omwoyo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Similar Material
  • Mweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Okunoonya Ekirabo Ekisinga Obulungi
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Lwaki Ekirabo Ekyo kya Muwendo Nnyo?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • “Kye Kirabo Ekisinga Ebirabo Byonna Bye Nnali Nfunye”
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Noovemba lup. 32

AMAKULU G’EBIMU KU EBYO EBYOGERWAKO MU BAYIBULI

Kozesa Bulungi ‘Ekirabo Kyo eky’Eby’Omwoyo’

Ffenna tuzzibwamu nnyo amaanyi bwe tubeerako wamu ne bakkiriza bannaffe. Naye okusobola okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi tulina okubaako bye tukola nga tuli nabo. Obusobozi bwe tulina obw’okuzzamu abalala amaanyi Bayibuli ebuyita “ekirabo eky’eby’omwoyo.” (Bar. 1:​11, 12) Ekirabo ekyo tuyinza tutya okukikozesa mu bujjuvu?

Zzaamu abalala amaanyi okuyitira mu ebyo by’oyogera. Ng’ekyokulabirako, bwe tubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana tusaanidde okuba abeegendereza obutatumbula ndowooza zaffe oba okwogera ennyo ku bitukwatako. Mu kifo ky’ekyo, ebyo bye tuddamu bisaanidde okulaga ebyo bye tuyiga ku Yakuwa, Ekigambo kye, n’abaweereza ba Katonda abeesigwa. Bwe tuba twogera ne bakkiriza bannaffe kiba kirungi ne twogera ku bintu ebibazimba.

Zzaamu abalala amaanyi okuyitira mu ebyo by’osalawo ne by’okola. Ng’ekyokulabirako, abalala bayinza okuzzibwamu amaanyi bwe bakiraba nti osazeewo okweyongera okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna wadde ng’olina ebikusoomooza. Era kisobola okubazzamu amaanyi bwe bakiraba nti ofuba okubaawo mu nkuŋŋaana za wakati mu wiiki wadde ng’olina obulwadde obw’amaanyi, oba ng’oba mukoowu olw’eby’okukola ebingi by’olina.

Ozzaamu bakkiriza banno amaanyi okuyitira mu ebyo by’oyogera ne by’okola? Ate era weetegereza ebyo bakkiriza banno bye boogera ne bye bakola okukuzzaamu amaanyi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share