LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mrt ekitundu 112
  • Okulwanagana Kulikoma Ddi?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okulwanagana Kulikoma Ddi?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
  • Ensonga Endala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ensi erimu entalo
  • Olutalo olujja okukomya entalo zonna
  • Olutalo Wakati wa Isirayiri ne Iran—Bayibuli Ekyogerako Ki?
    Ensonga Endala
  • Olutalo Oluyindira mu Ukraine Luyingidde Omwaka ogw’Okubiri—Bayibuli Ewa Ssuubi Ki?
    Ensonga Endala
  • Obuwumbi n’Obuwumbi bwa Ssente Ezisaasanyiziddwa mu Ntalo Zikoze Ki?
    Ensonga Endala
  • Engeri Entalo Gye Zitukosaamu Ffenna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2025
See More
Ensonga Endala
mrt ekitundu 112
Ebifaananyi: Ebitundu ebirimu entalo mu nsi za Buwalabu. 1. Ekibuga ekikubiddwa bbomu mu Gaza. 2. Yerusaalemi oluvannyuma lw’okukubwamu bbomu.

Left: Yasser Qudaih/Anadolu via Getty Images; right: RONALDO SCHEMIDT/AFP via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Okulwanagana Kulikoma Ddi?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Ku Lwomukaaga, Apuli 13, 2024, Iran bwe yakola obulumbaganyi ku Isirayiri, omuwandiisi w’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ayitibwa António Guterres yagamba nti: “Kino kye kiseera okukkakkanya embeera ebe nga si ya bulabe nnyo era ng’abantu tebali nnyo ku bunkenke. ”

Okulwanagana okuliwo mu nsi za Buwalabu kwe kumu kulwanagana okuliwo mu nsi.

“Leero waliwo ebikolwa bingi nnyo eby’obukambwe okusinga bwe kyali oluvannyuma lwa Ssematalo ow’Okubiri era bukosa abantu obuwumbi 2, kwe kugamba, omuntu omu ku buli bantu bana.”—United Nations Security Council, Jjanwali 26, 2023.

Zino ze zimu ku nsi ezirimu ebikolwa eby’obukambwe: Isirayiri, Gaza, Bwasuli, Azerbaijan, Ukraine, Sudan, Ethiopia, Niger, Myanmar, ne Haiti.a

Okulwanagana kulikoma ddi? Abafuzi b’ensi basobola okuleetawo emirembe? Kiki Bayibuli ky’egamba?

Ensi erimu entalo

Entalo eziriwo mu nsi leero bukakafu obulaga nti mu kiseera ekitali kya wala entalo zonna zijja kukoma. Entalo eziriwo zituukiriza obunnabbi obukwata ku kiseera kye tulimu. Ekiseera kye tulimu Bayibuli ekiyita “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.”—Matayo 24:3.

  •  “Muliwulira entalo mu bifo ebitali bimu. . . . Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.”—Matayo 24:6, 7.

Soma ekitundu “What Is the Sign of ‘the Last Days,’ or ‘End Times’?” olabe engeri entalo eziriwo leero gye zituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli.

Olutalo olujja okukomya entalo zonna

Bayibuli eraga nti entalo zijja kuggwaawo. Ekyo kinaabaawo kitya? Abantu si be bajja okumalawo entalo. Zijja kuggwaawo ku Amageddoni, “olutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Oluvannyuma lw’olutalo olwo, Katonda ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eri abantu, eky’okubeera mu nsi nga bali mu mirembe.—Zabbuli 37:10, 11, 29.

Okumanya ebisingawo ku lutalo lwa Katonda olujja okukomya entalo zonna, soma ekitundu “Olutalo Amagedoni kye Ki?”

a ACLED Conflict Index, “Ranking violent conflict levels across the world,” Jjanwali 2024

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share