LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 13
  • Ebyo Ebikwata ku Yesu Byawandiikibwa Ddi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebyo Ebikwata ku Yesu Byawandiikibwa Ddi?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Baibuli Etubuulira Byonna Ebikwata ku Yesu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Naye Ddala Byaliyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 13
Omusajja ng’awandiika mu muzingo

Ebyo Ebikwata ku Yesu Byawandiikibwa Ddi?

Bayibuli ky’egamba

Ng’ayogera ku ebyo bye yawandiika ebikwata ku Yesu, omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo eyakiraba ye yakiwaako obujulirwa buno; obujulirwa bwe yawa butuufu era amanyi nti by’ayogera bya mazima nammwe musobole okukkiriza.”—Yokaana 19:35.

Ekimu ku bintu ebituleetera okukkiriza nti ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana bituufu kye ky’okuba nti byawandiikibwa nga bangi ku bantu abaabirabako nga bakyali balamu. Okusinziira ku kunoonyereza okutali kumu okwakolebwa, ekitabo ky’Enjiri ya Matayo kyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 41 E.E., nga waakayita emyaka nga munaana gyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu. Wadde nga waliwo abamu abagamba nti ekitabo ekyo kyawandiikibwa luvannyumako, okutwalira awamu bonna bakkiriza nti Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byonna byamalirizibwa okuwandiikibwa mu kyasa ekyasooka E.E.

Abantu abaalaba Yesu ng’ali ku nsi, abaalaba ng’attibwa, oba abaaliwo ng’azuukiziddwa baali basobola bulungi okukakasa ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo by’Enjiri. Era baali basobola okulaga ensobi ezaalimu singa ddala zaalimu. Profesa F. F. Bruce agamba nti: “Ebyo abatume bye baali babuulira ebikwata ku Yesu baali babyekakasa era abantu be baabuuliranga tebaabiwakanyanga. Abatume baagamba nti, ‘baali bajulirwa b’ebintu byonna Yesu bye yakola,’ era ne bagamba n’abo abaali babawuliriza nti, ‘nabo baali bamanyi ebintu ebyo’ (Ebikolwa 2:22).”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share