LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 3 lup. 4-7
  • Omulimu gw’Okuvvuunula

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omulimu gw’Okuvvuunula
  • Zuukuka!—2016
  • Similar Material
  • A1 Obulagirizi Abavvuunula Bayibuli Bwe Baagoberera
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • Yakuwa Katonda Ayogera eri Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebitabo Byaffe Biwandiikibwa Bitya era Bivvuunulwa Bitya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira Omuntu Ayogera Olulimi lw’Otomanyi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
See More
Zuukuka!—2016
g16 Na. 3 lup. 4-7

OMUTWE OGULI KUNGULU

Omulimu gw’Okuvvuunula Bagukola Batya?

“Oluusi kigambibwa nti tewali kintu kizibu nga kuvvuunula.”​—“The Cambridge Encyclopedia of Language.”

ABAJULIRWA BA YAKUWA bwe baba tebannatandika mulimu gwa kuvvuunula basooka ne banoonyereza ku ebyo bye bagenda okuwandiika oluvannyuma ne babiwandiika. Ku mutendera guno, Ekitongole Ekikola ku by’Okuwandiika ekiri ku kitebe kyabwe ekikulu ekiri mu New York kisooka kwekebejja ebiwandiikiddwa okulaba obanga bituufu era nti bituukana n’olulimi olukozesebwa mu kiseera kino.a

Oluvannyuma Ekitongole Ekikola ku by’Okuwandiika kiweereza ebiba biwandiikiddwa eri abavvuunuzi okwetooloola ensi, ng’abasinga obungi babeera mu bitundu olulimi lwe bavvuunula gye lwogerwa. Era abasinga obungi ku bo olulimi lwe bavvuunulamu lwe baba bakuze boogera. Balina okuba nga bategeera bulungi Olungereza n’olulimi lwe bagenda okuvvuunulamu.

Abavvuunuzi nga bakola omulimu gwabwe

EMITENDERA GY’OKUVVUUNULA

Mu kipande kino tugenda kukozesa ekyokulabirako ky’abo abavvuunula magazini ya Zuukuka! ey’Olusipeyini

  • Abavvuunuzi bafuna eby’okuvvuunula ebiba mu Lungereza okuva ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Amerika

  • Buli omu ku ttiimu asooka n’abisomamu n’abyekenneenya

  • Nga tebannatandika kuvvuunula, batuula wamu ne babikubaganyaako ebirowoozo

  • Abavvuunuzi bakakasa nti ebyo bye bavvuunudde bitegeerekeka bulungi era nti amakulu tegakyuse

  • Bwe balaba nga buli kimu kiteredde, babiweereza ku matabi ag’enjawulo okukubibwa mu kyapa

  • Abantu okwetooloola ensi baganyulwa mu magezi agali mu Bayibuli mu nnimi zaabwe

Abavvuunuzi bakola batya omulimu gwabwe?

Geraint, omuvvuunuzi abeera mu Bungereza agamba nti: “Tukolera wamu nga ttiimu. N’olwekyo kikulu okukolagana obulungi. Tukolera wamu mu kunoonya engeri gye tuyinza okuvvuunulamu ebintu ebitali byangu kuvvuunula. Tetutunuulira bigambo kinnakimu, wabula tutunuulira ebigambo byonna awamu. Tulowooza nnyo ku makulu g’ebyo bye tuba tugenda okuvvuunula era tukuumira mu birowoozo abantu be tuvvuunulira.”

Kigendererwa ki kye muba nakyo nga muvvuunula?

“Tuba twagala oyo anaasoma bye tuba tuvvuunudde alowooze nti byasooka kuwandiikibwa mu lulimi lwe, so si nti byavvuunulwa buvvuunulwa. Ekyo okusobola okukituukako, tufuba okuwandiika mu ngeri abantu aboogera olulimi olwo gye boogeramu. Ekyo kireetera omuntu okunyumirwa ennyo okusoma ebitabo byaffe.”

Miganyulo ki egiri mu kuba nti abavvuunuzi babeera mu bitundu olulimi lwe bavvuunula gye lwogerwa?

“Okuba mu bantu aboogera olulimi lwe tuvvuunula kituyamba okuvvuunula mu ngeri gye basobola okutegeera obulungi. Kitusobozesa buli lunaku okuwulira abantu nga boogera olulimi olwo. Era tuba tusobola okubuuza abantu obanga bategeera bulungi ebigambo ebimu bye tuba twagala okukozesa. Ekyo kituyamba okuggyayo obulungi amakulu agaba mu Lungereza.”

Omulimu gwammwe gutegekeddwa gutya?

“Abavvuunuzi bakolera wamu nga ttiimu. Buli omu ku ttiimu asooka n’asoma ebyo ebiba bigenda okuvvuunulwa asobole okubitegeera obulungi, era asobola okutegeera engeri gye bisengekeddwamu, n’okumanya baani be babiwandiikidde. Bwe tuba tusomamu twebuuza: ‘Bye tugenda okuvvuunula bikwata ku ki? Nsonga ki enkulu eyogerwako era lwaki eyogerwako? Kiki abawandiisi kye baagala abantu bayige?’ Ekyo kituyamba ng’abavvuunuzi okulowooza ku bintu ebitali bimu ebijja okutuyamba nga tuvvuunula.

“Oluvannyuma abo abali ku ttiimu basisinkana ne bakubaganya ebirowoozo. Beebuuza: Ddala tutegedde bulungi bye tugenda okuvvuunula? Tuyinza tutya okusengeka ensonga nga bwe zisengekeddwa mu Lungereza? Ekigendererwa kyaffe kiba kya kuyamba omuntu anaasoma ebyo ebivvuunuddwa okukwatibwako mu ngeri y’emu ng’oyo anaasoma Olungereza.”

Abantu ababa ku ttiimu bakola batya omulimu gwabwe?

“Tuba twagala omuntu ategeererewo ebyo by’asoma. N’olwekyo, enfunda n’enfunda, tusoma mu ddoboozi eriwulikika buli katundu ke tumala okuvvuunula.

“Bwe tuba tuvvuunula, omuvvuunuzi asooka n’avvuunula akatundu, ng’abalala ababiri amaaso bagatadde ku kompyuta. Tukebera okulaba nti amakulu tegakyuse. Ate era twetegereza okulaba nti ebivvuunuddwa bivvuunuddwa mu ngeri olulimi gye lwogerwamu, nti ebigambo tebiriimu nsobi, era nti n’amateeka g’olulimi gagobereddwa. Oluvannyuma omu ku ffe asoma akatundu konna mu ddoboozi eriwulikika. Bw’asikattiramu ng’asoma, twebuuza ensonga lwaki asikattidde. Ekitundu kyonna bwe kimala okuvvuunulwa, omu ku ffe akisoma kyonna ng’abalala bawuliriza era nga balaba aweetaaga okutereeza.”

Ogwo nga mulimu gwa maanyi!

“Yee! Era we tunnyukira, tuba tukooye. N’olwekyo, ebyo bye tuba tuvvuunudde tuddamu okubisomamu enkeera ku makya ng’obwongo tebukooye. Oluvannyuma lw’ekiseera, Ekitongole Ekikola ku by’Okuwandiika kitusindikira enkyukakyuka ze kiba kikoze mu ebyo bye kyasooka okutusindikira. Bwe tumala okuzikola, tuddamu okusoma mu bye tuba twavvuunula ne twongera okutereeza we kyetaagisa.”

Bintu ki ebiba ku kompyuta ebibayamba?

“Kya lwatu nti kompyuta tezisobola kukola bintu byonna abantu bye bakola. Naye Abajulirwa ba Yakuwa bayiiyizza ebintu ebitali bimu ku kompyuta ebibayamba okwanguyirwa okukukola omulimu gw’okuvvuunula. Ekimu ku byo ye nkuluze mwe tuteeka ebigambo ebitali bimu bye tutera okukozesa. Ekintu ekirala ye programu etusobozesa okukebera ebitabo byonna eby’olulimi lwaffe ebyavvuunulwa emabega ne kituyamba okulaba engeri ebintu ebimu ebizibu gye byavvuunulwamu.”

Owulira otya bw’olowooza ku mulimu gwe mukola?

“Omulimu gwe tukola tugutwala ng’ekirabo eri abantu. Era tufuba nnyo okulaba nga tugukola bulungi abantu basobole okunyumirwa bye basoma. Kitusanyusa nnyo buli lwe tulowooza ku ky’okuba nti ekitundu ekimu mu magazini oba ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti kisobola okukwata ku mutima gw’omuntu ne kimuyamba okuba n’obulamu obulungi.”

Emiganyulo egy’Olubeerera

Okwetooloola ensi yonna, abantu bukadde na bukadde baganyulwa mu kusoma ebitabo mu lulimi lwabwe ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Amagezi agali mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, mu vidiyo zaabwe, ne ku mukutu gwabwe jw.org, geesigamiziddwa ku Bayibuli. Ekyo kiri kityo kubanga mu Bayibuli, Katonda ow’amazima ayitibwa Yakuwa atugamba okutegeeza abantu mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi” ebimukwatako.​—Okubikkulirwa 14:6.b

a Ebitabo bisooka kuwandiikibwa mu Lungereza.

b Osobola okugenda ku www.pr418.com/lg n’olaba ebitabo ne vidiyo mu lulimi lwo ne mu nnimi endala nnyingi.

JW.ORG

Omukutu omutongole ogw’Abajulirwa ba Yakuwa

Mu nnimi ezisukka mu 700

Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna

Akatabo akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Mu nnimi ezisukka mu 640

Omunaala gw’Omukuumi

Magazini ekubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Mu nnimi ezisukka mu 250

Zuukuka!

Magazini ekubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Mu nnimi ezisukka mu 100

Magazini ya Zuukuka! mu nnimi ez’enjawulo

“Ntawanyizibwa obulwadde. Ng’oggyeeko amagezi omusawo ge yampa, nnaganyulwa nnyo mu magezi agaaweebwa mu magazini ya Zuukuka! ey’olulimi lwange, Olumalagase. Magazini ya Zuukuka! yannyamba okuyiga okufuga obusungu. Era yayogera ne ku ndya ennungi n’okukola dduyiro.c Nnakolera ku magezi agaalimu era kati obulwadde tebukyantawaanya nnyo.”​—Ranaivoarisoa, Madagascar.

“Omusawo ankolako akozesa ebitundu ebifulumira mu magazini ya Zuukuka! ey’Olugujalati okusomesa abantu ku by’obulamu. Nga wayise wiiki ntono oluvannyuma lw’okwogerako eri abaana b’essomero erimu ku bikwata ku kukozesa obubi omwenge n’okukozesa ebiragalalagala, abayizi baagamba nti amagezi agaali mu magazini ya Zuukuka! gaayamba bataata baabwe okulekera awo okwonoonera ssente ku mwenge ne batandika okuzikozesa okuyamba abaana baabwe.”​—Janet, Buyindi.

c Abawandiika magazini ya Zuukuka! tebalina ndya oba nzijanjaba gye basalirawo bantu. Kiri eri buli muntu okunoonyereza ne yeesalirawo eky’okukola mu nsonga eyo.

Omulenzi ng’alaba vidiyo egamba nti Okubba Kibi ku jw.org

Abawandiisi ba magazini ya Zuukuka! baafuna ebbaluwa okuva eri maama omu mu Angola eyali egamba nti: “Mutabani wange ow’emyaka omunaana yabuza ekkalaamu ze n’asalawo okubba eza banne b’asoma nabo. Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo egamba nti Okubba Kibi ey’Olupotugo ku jw.org, yantegeeza kye yakola. Yansaba ŋŋende naye ku ssomero mbeerewo nga yeetondera bayizi banne olw’okubba ekkalaamu zaabwe era ng’ababuulira ensonga lwaki asazeewo okuzibaddiza. Omusomesa we yatukkiriza okulaga ekibiina kyonna vidiyo eyo. Oluvannyuma lw’okugiraba, abaana bangi baagamba nti tebaliddamu kubba.”

Omusajja ng’akozesa JW Language app

Programu Etuyamba Okuyiga Ennimi!

Akabonero ka JW Language app

Mu 2014, Abajulirwa ba Yakuwa baakola programu ya kompyuta eyitibwa JW Language, ebayamba okuyigiriza Bayibuli abantu aboogera ennimi ezitali zimu. Muno mwe muli abantu aboogera ennimi gamba ng’Olubengali, Olukyayina, Olungereza, Olufalansa, Olugirimaani, Oluhindi, Oluyindonesiya, Oluyitale, Olujapaani, Olukoleya, Olumyanima, Olupotugo, Olulasa, Olusipeyini, Oluswayiri, Olutagalogu, Olutaayi, n’Olutuluuki. Okumanya ebisingawo genda ku jw.org onoonye JW Language.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share