LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 1 lup. 3-7
  • Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • EBIMU KU EBYO EBIREETERA ABATIINI OKWENNYAMIRA
  • FAAYO KU MUBIRI GWO
Zuukuka!—2017
g17 Na. 1 lup. 3-7
Omuvubuka ng’atudde ku kitanda kye nga mwennyamivu

OMUTWE OGULI KUNGULU

Kiki Ekiviirako​—Abavubuka Okwennyamira?

OMUWALA ayitibwa Annaa agamba nti: “Bwe mba omwennyamivu, mba sirina kye njagala kukola. Mu butuufu mba saagala kukola na bintu ebitera okunnyumira okukola. Mba njagala kwebaka bwebasi. Mba mpulira ng’ataagalibwa era atalina mugaso.”

Julia agamba nti: “Nnalowooza ku ky’okwetta. Ekituufu kiri nti nnali saagala kufa. Naye nnali nkooye okuba omwennyamivu. Ntera okufaayo ku balala, naye bwe mba omwennyamivu, sifaayo nnyo ku balala.”

Anna ne Julia baatandika okufuna ekizibu eky’okwennyamira nga baakayingira emyaka gyabwe egy’obutiini. Wadde ng’abavubuka okutwalira awamu oluusi n’oluusi bennyamira, Anna ne Julia baamalanga wiiki eziwerako oba emyezi egiwerako nga bennyamivu. Anna agamba nti: “Owulira ng’agudde mu kinnya ekiwanvu ekikutte enzikiza, nga tosobola kuvaayo. Owulira nga tokyetegeera.”

Okufaananako Anna ne Julia, waliwo abatiini bangi abennyamira. Leero, omuwendo gw’abavubuka abennyamira gweyongedde nnyo, era okusinziira ku kitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna, okwennyamira kye kisinze okuviirako abalenzi n’abawala abali wakati w’emyaka 10 ne 19 okulwala endwadde ezitali zimu.

Obubonero obulaga nti omuntu alina obulwadde obw’okwennyamira buyinza okutandika okweyoleka ng’ayingidde mu myaka egya kaabuvubuka. Ayinza okubulwa otulo, obutaagala kulya, oba okukogga. Era ayinza okuwulira ennaku ku mutima, okuwulira nga talina ssuubi, n’okuwulira nga talina mugaso. Oba ayinza okutandika okweyawula ku balala, okuwuguka ebirowoozo, okwerabiralabira, n’okulowooza ku ky’okwetta. Abasawo bwe bateebereza nti omuntu alina obulwadde obw’okwennyamira, banoonyereza ku bubonero obwo, okulaba obanga bumaze wiiki eziwerako nga bweyoleka.

EBIMU KU EBYO EBIREETERA ABATIINI OKWENNYAMIRA

Okusinziira ku kitongole eky’eby’obulamu eky’ensi yonna, “waliwo bingi ebiviirako abantu okwennyamira.” Ka tulabeyo ebimu ku byo.

Enkyukakyuka mu mubiri. Okufaananako Julia, okwennyamira oluusi kuba kwa nsikirano. Ate oluusi okwennyamira kuva ku ndwadde z’omutima, oba ku kuba nti omuntu akozesa ebiragalalagala.b

Okweraliikirira. Wadde ng’oluusi okweraliikirira ekitonotono kiyinza okuvaamu emiganyulo, okweraliikirira ekisukkiridde kisobola okuba eky’akabi eri omuntu, era kiyinza n’okumuviirako okwennyamira. Kyokka, ensonga eziviirako abantu okwennyamira tezimanyiddwa bulungi, era ziyinza okuzingiramu ebintu ebiwerako, nga bwe kiragiddwa waggulu.

Ebimu ku bintu ebiyinza okuviirako abatiini okwennyamira kwe kugattululwa oba okwawukana kw’abazadde baabwe, okufiirwa omuntu waabwe, okukabasanyizibwa, okugwa ku kabenje ak’amaanyi, obulwadde, oba okukola obubi ku ssomero. Era abazadde bwe basuubira omwana waabwe okukola obulungi ku ssomero okusukka ku ekyo ky’asobola, nakyo kisobola okuleetera omwana okwennyamira. Ate era omwana asobola okwennyamira singa bamuyiikiriza ku ssomero, singa teyeekakasa biseera bye eby’omu maaso, singa omu ku bazadde be yennyamira, oba singa bazadde be baba bakambwe nnyo. Singa omwana yennyamira, kiki ekisobola okumuyamba?

FAAYO KU MUBIRI GWO

Emirundi mingi omuntu aba yennyamidde aba yeetaaga okulaba omusawo.c Yesu yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” (Makko 2:17) Obulwadde busobola okukosa ekitundu kyonna eky’omubiri gwaffe, nga mw’otwalidde n’obwongo! N’olwekyo, omuntu kiba kimwetaagisa okufaayo ennyo ku mubiri gwe, kubanga ebyo ebituuka ku mubiri gwe birina kye bikola ku bwongo bwe.

Bw’oba olina obulwadde obw’okwennyamira, fuba okulabirira obulungi omubiri gwo. Ng’ekyokulabirako, fuba okulya obulungi, weebake ekimala, era kkolanga dduyiro obutayosa. Okukola dduyiro kisobola okukukyamula, okukuleetera okufuna amaanyi, n’okukusobozesa okufuna otulo. Gezaako okumanya ebintu ebikuviirako okwennyamira oba obubonero obulaga nti ogenda kwennyamira era osalewo n’ekyo ky’onookola okwewala okwennyamira. Yogerako n’omuntu gwe weesiga. Bw’oyogerako n’ab’eŋŋanda zo oba mikwano gyo, basobola okukuyamba okwaŋŋanga ekizibu eky’okwennyamira, si na kindi n’okukikendeezaako. Baako w’owandiika by’olowooza n’engeri gye weewuliramu. Ekyo kyayamba nnyo Julia, ayogeddwako waggulu. N’okusinga byonna, faayo ku byetaago byo eby’omwoyo. Ekyo kijja kukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bulamu. Yesu Kristo yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”​—Matayo 5:3.

Omuwala omuvubuka ng’aliirako wamu ne bazadde be, ng’akola dduyiro, era nga yeebase

Lya bulungi, kola dduyiro, era weebake ekimala

Omuwala ng’asoma Bayibuli

Okunyweza enkolagana yo ne Katonda kisobola okukuyamba

Anna ne Julia baakolera ku bigambo bya Yesu ebyo. Anna agamba nti: “Okwenyigira mu bintu eby’omwoyo kinnyamba okulowooza ku bantu abalala mu kifo ky’okulowooza ku bizibu byange byokka. Ekyo oluusi tekiba kyangu naye kinnyamba okwongera okuba omusanyufu.” Okusaba n’okusoma Bayibuli biyambye nnyo Julia. Agamba nti: “Okubuulira Yakuwa ebyo ebindi ku mutima kinnyamba okufuna emirembe mu mutima. Ate okusoma Bayibuli kinnyamba okukiraba nti ndi wa muwendo eri Katonda era nti anfaako. Era kinnyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku biseera eby’omu maaso.”

Olw’okuba Yakuwa Katonda ye Mutonzi waffe, amanyi bulungi embeera ze twakuliramu, ebyo bye tuyiseemu mu bulamu, n’enkula y’emibiri gyaffe gye bikwata ku nneewulira yaffe. N’olwekyo asobola okutubudaabuda n’okutuwa obuyambi bwonna bwe twetaaga, oboolyawo ng’ayitira mu bantu bannaffe. Mu butuufu, ekiseera kijja kutuuka Katonda awonye endwadde zaffe zonna, nga mw’otwalidde n’obulwadde obw’okwennyamira. Isaaya 33:24 wagamba nti: “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’”

Bayibuli egamba nti Katonda “alisangula buli zziga mu maaso [gaffe] era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.” (Okubikkulirwa 21:4) Ng’ebigambo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi! Bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eri abantu n’ensi, genda ku jw.org/lg. Ku mukutu ogwo kuliko Bayibuli n’ebitundu ebyogera ku nsonga ezitali zimu nga mw’otwalidde n’ebyo ebyogera ku kwennyamira.

a Amannya gakyusiddwa.

b Oluusi obulwadde, obujjanjabi obumu, oba okukozesa ebiragalalagala kiviirako embeera z’omuntu okukyuka. N’olwekyo kikulu okwebuuza ku musawo.

c Abawandiika magazini ya Zuukuka! tebalina nzijanjaba gye basalirawo bantu.

Abazadde Bye Basobola Okukola

  • Abazadde basaanidde okukimanya nti abatiini bwe bennyamira kiyinza okubazibuwalira okwogera ekibali ku mutima era bayinza n’obutamanya kiki kibatuuseeko. Bayinza n’okuba nga tebamanyi bubonero bulaga nti omuntu alina obulwadde obw’okwennyamira.

  • Engeri abatiini gye beeyisaamu nga bennyamivu etera okwawukana ku ngeri abantu abakulu gye beeyisaamu nga bennyamivu. N’olwekyo, weetegereze enkyukakyuka eziba zizzeewo mu bulamu bw’omwana wo, naddala singa ziba zibaddewo okumala wiiki eziwerako. Enkyukakyuka ezo ziyinza okubaawo mu ngeri gye yeeyisaamu, mu ngeri gy’alyamu, mu mbeera ze, mu kiseera ky’amala nga yeebase, oba mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala.

  • Omwana wo bw’ayogera ku ky’okwagala okwetta, ebigambo ebyo tobitwala ng’eby’olusaago.

  • Bw’okiraba nti ddala waliwo obubonero obulaga nti omwana wo ayinza okuba ng’alina obulwadde obw’okwennyamira, laba omusawo.

  • Yamba omwana wo okukolera ku bujjanjabi omusawo bw’aba amuwa, era singa oluvannyuma lw’ekiseera okiraba nti tewali nkyukakyuka ezzeewo oba nti obujjanjabi obwo bukosa omwana wo, ekyo kitegeeze omusawo.

  • Fuba okulaba nti ab’omu maka go bonna balya bulungi, bakola dduyiro, era nti beebaka ekimala.

  • Fuba okuba n’empuliziganya ennungi n’omwana wo omutiini era omuyambe obutaggwaamu maanyi olw’engeri abalala gye bayinza okuba nga bamutwalamu.

  • Okuva bwe kiri nti omuntu omwennyamivu atera okuwulira ng’atayagalibwa era atalina mugaso, fubanga okukakasa omwana wo omutiini nti omwagala nnyo.

Ebisobola Okukuyamba ng’Oli Mwennyamivu

Ekipande okiraga ebintu ebisobola okuyamba omuntu alina obulwadde obw’okwennyamira, nga muno mwe muli, ebifaananyi, ebyawandiikibwa, ennyimba, n’ebitundu by’asobola okusoma, n’ebirala

Bw’oba olina obulwadde obw’okwennyamira, ebintu ebiragiddwa ku kipande kino bisobola okukuyamba era osobola okubikyusakyusaamu nga bwe kiba kyetaagisizza:

  • Olukalala lw’amasimu g’abantu b’osobola okukubira ng’onakuwadde

  • Ennyimba ezisinga okukunyumira

  • Ebigambo ebikuzzaamu amaanyi

  • Olukalala lw’ebyawandiikibwa ebisobola okukubudaabuda n’okukuzzaamu amaanyi, gamba nga Zabbuli 34:18; 51:17; 94:19; Abafiripi 4:6, 7

  • Ebifaananyi by’abantu abakwagala

  • Ekitabo mw’owandiika ebintu ebikusanyusa n’ebyo ebyakusanyusa

Abawala Abatiini Okwennyamira

Omuwendo gw’abawala abatiini abennyamira guli waggulu okusinga ku gw’abalenzi. Ekyo kiyinza okuba nga kiva ku kuba nti abawala batera okutawaanyizibwa ennyo abalala okusinga abalenzi. Omuwi w’amagezi omu ayitibwa Sharon Hersh yagamba nti: “Singa omuntu aba n’ebimweraliikiriza ate nga n’embeera ezimwetoolodde zimumalako emirembe, ekyo kiyinza okumuleetera okusoberwa.” Ate era abawala abamu batera okukwatibwako ennyo ebyo ebifulumira ku mikutu gy’empuliziganya, ebikwata ku ndabika ennungi. Kyangu abawala abalowooza nti endabika yaabwe si nnungi oba abo abaagala ennyo okuwaanibwa abalala, okwennyamira.d

d Laba ekitundu “Bayibuli ky’Egamba​—Endabika Ennungi,” mu Zuukuka! Na. 4 2016.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share