Ebirala Ebisobola Okuyamba Abazadde
Nga bw’olabye, obulagirizi obuli mu magazini eno buva mu Bayibuli. Bayibuli erimu obulagirizi obusingayo obulungi eri buli omu mu maka. Amagezi agagirimu gayamba omuntu okulowooza obulungi n’okusalawo obulungi.—Engero 1:1-4.
BAYIBULI ERA EDDAMU EBIBUUZO EBIKULU MU BULAMU, GAMBA NGA:
Tukukubiriza okusoma Bayibuli olabe engeri gy’eddamu ebibuuzo ebyo. Laba vidiyo Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? Kozesa code, oba genda ku jw.org/lg.