OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA
Biki Ebiviirako Abantu Okweraliikirira?
Lipoota eyafulumizibwa eddwaliro eriyitibwa Mayo Clinic yagamba nti: “Abantu abakulu abasinga obungi bagamba nti balina bingi ebibeeraliikiriza. Leero embeera mu nsi zikyukakyuka buli kiseera.” Lowooza ku bimu ku bintu ebitera okuviirako abantu okweraliikirira oba okuwulira nga bazitoowereddwa:
okugattululwa mu bufumbo
okufiirwa omuntu
obulwadde obw’amaanyi
obubenje
obumenyi bw’amateeka
eby’okukola ebingi
obutyabaga
obunkenke ku ssomero oba ku mulimu
emirimu n’eby’enfuna