LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 2 lup. 4-6
  • Tekinologiya Akutte Atya ku Mikwano Gyo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tekinologiya Akutte Atya ku Mikwano Gyo?
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KY’OSAANIDDE OKUMANYA
  • KY’OYINZA OKUKOLA
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2021
  • Mu Magazini Eno
    Zuukuka!—2021
  • Emikutu Emigattabantu gya Bulabe eri Omwana Wo?—Engeri Bayibuli gy’Esobola Okuyamba Abazadde
    Ensonga Endala
  • Weegendereze ng’Olonda Emikwano
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 2 lup. 4-6
Ab’emikwano mu bitundu ebitali bimu eby’ensi bawuliziganya nga bakozesa videoconferencing.

Tekinologiya Akutte Atya Ku Mikwano Gyo?

Olwa tekinologiya aliwo, kati abantu babiri basobola okuwuliziganya wadde nga bali mu nsi za njawulo. Basobola okweweereza mesegi, oba n’okwogera nga buli omu alaba munne.

Kyokka abantu abamu abakozesa ennyo tekinologiya okuwuliziganya n’abalala batera . . .

  • obutalumirirwa mikwano gyabwe.

  • obutaba bamativu.

  • okwefaako bokka.

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

Omuwala ng’ali ku intaneeti ekiro. Ekifaananyi ky’atunuulira kirabiddwa abantu emirundi 723,000.

OKULUMIRIRWA ABALALA

Okusobola okulaga nti tulumirirwa omuntu, kiba kitwetaagisa okuwaayo ebiseera okumanya engeri gye yeewuliramu. Ekyo kiyinza okuba ekizibu okukola nga tusoma oba nga tuddamu mesegi ennyingi eziba zituweerezeddwa.

Bw’oba ne mesegi ennyingi ez’okuddamu, kiba kizibu okulaba mesegi ya mukwano gwo ayinza okuba nga yeetaaga obuyambi. Ebirowoozo byo biba ku kuddamu mesegi zonna.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Oyinza otya okulaga nti olumirirwa mikwano gyo ng’okozesa tekinologiya okuwuliziganya nabo?​—1 PEETERO 3:8.

OBUTABA MUMATIVU

Okunoonyereza okumu kwalaga nti abantu bangi baawulira bubi oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga bali ku mikutu emigattabantu. Abaakola okunoonyereza okwo baagamba nti oluvannyuma lw’omuntu okutunuulira ebifaananyi n’ebyo abalala bye baba batadde ku mikutu egyo, “asigala awulira nga si mumativu.”

Ate era, okutunuulira ebifaananyi abalala bye baba batadde ku mikutu egyo kiyinza okukuleetera okutandika okwegeraageranya nabo. Oyinza okutandika okulowooza nti abantu abalala bonna basanyufu era banyumirwa obulamu, ate nga ggwe toli musanyufu.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Bw’oba ng’okozesa emikutu emigattabantu, oyinza otya okwewala okwegeraageranya n’abalala?​—ABAGGALATIYA 6:4.

OKWEFAAKO WEKKA

Omusomesa omu agamba nti abayizi be baali baagala okukola emikwano n’abo bokka abasobola okubaako bye babakolera? Abantu ng’abo baba beefaako bokka, era basobola okutandika okutwala mikwano gyabwe ng’essimu oba kompyuta gye basobola okukozesa ekiseera kyonna we baba baagalidde.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Ebyo by’oteeka ku mukutu omugattabantu biraga nti oyagala nnyo okuvuganya n’abalala?​—ABAGGALATIYA 5:26.

KY’OYINZA OKUKOLA

LOWOOZA KU NGERI GY’OKOZESAAMU TEKINOLOGIYA

Tekinologiya bw’aba nga si y’akufuga, kikusobozesa okuwuliziganya ne mikwano gyo era n’okwongera okunyweza enkolagana yo nabo.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okwagala . . . tekwenoonyeza byakwo.”​—1 ABAKKOLINSO 13:4, 5.

Laba amagezi g’osobola okukolerako, oba wandiika by’osobola okukola.

  • Fuba okwogera obutereevu ne mikwano gyo (mu kifo ky’okubasindikira mesegi zokka)

  • Ggyawo essimu oba ggyako eddoboozi lyayo bw’oba onyumya n’abalala

  • Kendeeza ku budde bw’omala ku mikutu emigattabantu

  • Bw’oba onyumya n’abalala, fuba okubawuliriza

  • Mukwano gwo bw’aba ng’alina ekizibu, yogera naye butereevu

WEEBUUZE . . .

  • Nnina emikwano egya nnamaddala eginfaako era nange gye nfaako?

  • Bwe mba nnyumya ne mikwano gyange, mirundi emeka gye ntaataaganyizibwa essimu oba mesegi?

  • Kyandiba nti ebifaananyi n’ebigambo bye nteeka ku mikutu emigattabantu bireetera abalala okulowooza nti nneerowoozaako nnyo?

  • Mpulira ntya oluvannyuma lw’okukozesa omukutu omugattabantu?

  • Nkyukakyuka ki ze nnyinza okukola, kibe nti engeri gye nkozesaamu tekinologiya tennemesa kufuna mikwano gya nnamaddala?

    AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’​—ABAFIRIPI 2:4.

Emily.

“Okufuna emikwano egya nnamaddala kyetaagisa okufuba era kitwala ekiseera. N’olwekyo tosobola kuba na mikwano ng’egyo mingi. Ekikulu si kwe kuba n’emikwano emingi. Oyinza okuba n’emitono naye nga gya nnamaddala.”​—EMILY

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share