LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g22 Na. 1 lup. 4-6
  • 1 Kuuma Obulamu Bwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1 Kuuma Obulamu Bwo
  • Zuukuka!—2022
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI KIKULU?
  • Bye Weetaaga Okumanya
  • By’Osobola Okukola Kati
  • Okuba Abalamu Obulungi mu Mubiri
    Zuukuka!—2019
  • Beera n’Endowooza ya Baibuli ku Bujjanjabi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okwaŋŋanga Ebitweraliikiriza
    Zuukuka!—2020
  • Siima Ekirabo eky’Obulamu Katonda Kye Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Zuukuka!—2022
g22 Na. 1 lup. 4-6
Emmere ennungi eri omubiri ng’eri ku mmeeza.

ENSI EJJUDDE EBIZIBU

1 | Kuuma Obulamu Bwo

LWAKI KIKULU?

Ekizibu eky’amaanyi oba akatyabaga, biyinza okukosa obulamu bw’abantu mu ngeri ez’enjawulo.

  • Abantu bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi oluusi bibaviirako okwennyamira, era bwe baba mu mbeera eyo okumala ekiseera, kiyinza n’okubaviirako okulwala.

  • Ebizibu eby’amaanyi, gamba ng’obutyabaga n’endwadde biyinza okuviirako n’amalwaliro okuba nga tegakyalina ddagala limala.

  • Ebizibu biyinza okukosa abantu mu by’enfuna ne baba nga tebakyalina ssente zimala okukozesa ku bintu ebikulu, gamba ng’okugula emmere ey’omugaso eri obulamu bwabwe oba okufuna obujjanjabi.

Bye Weetaaga Okumanya

  • Obulwadde obw’amaanyi n’okwennyamira biyinza okukuviirako okusalawo obubi, n’olekera awo okukola ebintu eby’omugaso eri obulamu bwo. N’ekivaamu, oyinza okweyongera okulwala.

  • Bwe baba tebakujjanjabye, obulwadde obwo buyinza okweyongera ne kikuviirako n’okufiirwa obulamu bwo.

  • Bw’oba omulamu obulungi, kijja kukuyamba okusalawo obulungi ng’ofunye ekizibu.

  • K’obe ng’oli mugagga oba ng’oli mwavu, waliwo by’osobola okukola okusobola okukuuma obulamu bwo.

By’Osobola Okukola Kati

Omuntu ow’amagezi alowooza ku bizibu ebiyinza okubaawo era bwe kiba kisoboka abaako ky’akolawo okubyewala. Ekyo kikwata ne ku bulamu bwaffe. Ebiseera ebisinga osobola okwewala okufuna endwadde ng’ofuba okuba omuyonjo. Okuziyiza kusinga okuwonya.

“Bwe twekuuma nga tuli bayonjo era ne tuyonja n’ebifo we tubeera, kituyamba obutamalira ssente mu malwaliro.”​—Andreas.a

a Amannya agamu mu katabo kano gakyusiddwa.

ENGERI GY’OYINZA OKUGUMIRA EBIZUBU​—Amagezi Aganaakuyamba

Mu biseera ebizibu, kuuma obulamu bwo ng’okola ebintu bino

BEERA MUYONJO

Omusajja ng’anaaba mu ngalo n’amazzi ne sabbuuni.

Beera muyonjo

Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Gezaako okulowooza ku bintu ebiyinza okuteeka obulamu bwo mu kabi era obyewale.

  • Naabanga mu ngalo ne ssabbuuni, nnaddala nga tonnakwata ku kya kulya oba oluvannyuma lw’okukozesa kaabuyonjo.

  • Yonjanga awaka era okozese eddagala eritta obuwuka, naddala ku bifo ne ku bintu ebitera okukwatibwako.

  • Bwe kiba kisoboka weewale okusemberera abantu abalina obulwadde obukwata.

LYA EMMERE ERIMU EKIRIISA

Emmere ennungi eri omubiri ng’eri ku mmeeza.

Lya emmere erimu ekiriisa

Bayibuli egamba nti: “Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.” (Abeefeso 5:29) Tukiraga nti twagala emibiri gyaffe nga tufaayo ku bye tulya.

  • Nywa amazzi mangi.

  • Lya ebibala eby’ebika eby’enjawulo era n’enva endiirwa.

  • Weewale okulya ennyo ebisiike, omunnyo omungi, oba sukaali omungi.

  • Weewale okunywa ssigala, okukozesa ebiragalalagala, oba okunywa ennyo omwenge.

“Okusobola okwewala okulwala, tulya emmere egasa omubiri, kubanga tukimanyi nti bwe tutakola tutyo, ssente entono ze tulina tujja kuzisaasaanya ku by’obujjanjabi. Okukozesa ssente okugula emmere egasa omubiri kye kisingako.”​—Carlos.

KOLA DDUYIRO ERA WUMMULA EKIMALA

Omusajja ng’akola dduyiro.

Kola dduyiro

Bayibuli egamba nti: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.” (Omubuulizi 4:6) Tulina okukola, naye era twetaaga okuwummula ekimala.

  • Kola dduyiro. Oyinza okutandika ng’otambula butambuzi. Okukola dduyiro kya mugaso nnyo eri obulamu bwo ne bwe kiba nti oli mukulu mu myaka, oliko obulemu, oba ng’olina obulwadde obukutawaanya.

  • Omukazi nga yeebaseemu.

    Wummula ekimala

    Wummula ekimala. Obuteebaka kimala kiyinza okukuviirako okukoowa ennyo n’obutassaayo mwoyo ku by’okola. Oluvannyuma lw’ekiseera, kiyinza n’okukuviirako okulwala.

  • Ssaawo ekiseera eky’okwebakiramu era okinywerereko. Gezaako okugenda okwebaka mu budde bwe bumu era n’okuzuukuka mu budde bwe bumu buli lunaku.

  • Weewale okulaba ttivi oba okukozesa essimu oba kompyuta ng’oli ku buliri.

  • Weewale okulya emmere ennyingi, okunywa kkaawa, oba okunywa omwenge ng’onootera okwebaka.

“Nkizudde nti okwebaka kwa mugaso nnyo eri obulamu bwange. Bwe seebaka kimala, mpulira ng’omutwe gunnuma era nga n’omubiri gwonna gunnuma. Naye bwe nneebaka ekimala mpulira bulungi nnyo. Mba n’amaanyi era sitera kulwalalwala.”​—Justin.

Ebifaananyi okuva mu vidiyo “Nga Wabaluseewo Obulwadde​—By’Oyinza Okukola.” Omukazi ng’aggulirawo akawuka akaleeta obulwadde oluggi.

YIGA EBISINGAWO. Laba vidiyo erina omutwe ogugamba nti, Nga Wabaluseewo Obulwadde​—By’Oyinza Okukola. Era soma ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Ways to Improve Your Health” (“Ebinaakuyamba Okuba Omulamu Obulungi.”).

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share