LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 66
  • Yezeberi—Kkwini Omubi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yezeberi—Kkwini Omubi
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kino Kye Kiseera Okubaako ky’Okolawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Yagumiikiriza mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Olina Endowooza ng’Eya Yakuwa ku Bwenkanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 66

OLUGERO 66

Yezeberi—Kkwini Omubi

OLUVANNYUMA lw’okufa kwa kabaka Yerobowaamu, buli kabaka afuga obwakabaka obw’omu bukiika kkono obw’ebika 10 ebya Isiraeri aba mubi. Kabaka Akabu y’asingayo obubi mu bakabaka bonna. Omanyi lwaki? Ensonga emu enkulu eyavaako ekyo ye mukazi we, Kkwini Yezeberi omubi.

Yezeberi si mukazi Muisiraeri. Muwala wa kabaka w’e Sidoni. Asinza katonda ow’obulimba ayitibwa Baali, era aleetera Akabu n’Abaisiraeri bangi okusinza Baali. Yezeberi tayagala Yakuwa era atta bannabbi be bangi. Abalala beekweka mu mpuku baleme okuttibwa. Yezeberi bw’aba alina ky’ayagala, ayinza n’okutta omuntu okukifuna.

Lumu Kabaka Akabu munakuwavu nnyo. Yezeberi amubuuza: ‘Lwaki oli munakuwavu leero?’

‘Olw’ekyo Nabosi ky’aŋŋambye,’ Akabu addamu. ‘Mbadde njagala okugula olusuku lwe olw’emizabbibu. Naye n’aŋŋamba nti siyinza kulufuna.’

‘Teweeraliikirira,’ Yezeberi addamu. ‘Nja kulukufunira.’

Awo, Yezeberi awandiikira amabaluwa abantu abakulu mu kibuga omusajja oyo Nabosi gy’abeera. ‘Mufuneeyo abasajja abakuusa bagambe nti Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka,’ bw’atyo bw’abagamba. ‘Awo mulyoke, mutwale Nabosi ebweru w’ekibuga mumukube amayinja afe.’

Mangu ddala nga Yezeberi awulidde nti Nabosi afudde, agamba Akabu: ‘Kati genda otwale olusuku lwe olw’emizabbibu.’ Tokkiriza nti Yezeberi asaanidde okubonerezebwa olw’okukola ekintu ekibi bwe kityo?

Bwe kityo, nga wayiseewo ekiseera, Yakuwa atuma omusajja ayitibwa Yeeku okumubonereza. Yezeberi bw’awulira nti Yeeku ajja, yeetonaatona asobole okulabika obulungi. Naye Yeeku bw’ajja n’alaba Yezeberi mu ddirisa, agamba abasajja abali mu lubiri: ‘Mumusuule wansi!’ Abasajja bagondera ekiragiro kye, nga bw’olaba mu kifaananyi. Bamusuula wansi, n’afa. Eno y’enkomerero ya Kkwini Yezeberi omubi.

1 Bassekabaka 16:29-33; 18:1-4; 21:1-16; 2 Bassekabaka 9:30-37.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share