LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • my olugero 98
  • Ku Lusozi Olwa Zeyituuni

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ku Lusozi Olwa Zeyituuni
  • Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Similar Material
  • Yesu Addayo mu Ggulu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • ‘Ekiseera Kituuse!’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Yesu Addayo mu Ggulu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Bikumi na Bikumi Bamulaba nga Pentekooti Tennatuuka
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
my olugero 98

OLUGERO 98

Ku Lusozi Olwa Zeyituuni

ONO ye Yesu ku Lusozi lwa Zeyituuni. Abasajja abana abali naye batume be. Be b’oluganda Andereya ne Peetero, era n’ab’oluganda Yakobo ne Yokaana. Ekyo ky’olaba ekyesudde akabanga ye yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi.

Waakayitawo ennaku bbiri okuva Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi nga yeebagadde endogoyi ento. Lunaku Lwakubiri. Yesu yabaddeko mu yeekaalu ku ntandikwa y’olunaku. Eyo, bakabona baagezezzaako okukwata Yesu n’okumutta. Naye baatidde okukikola kubanga abantu baagala nnyo Yesu.

‘Mmwe emisota era abaana b’emisota!’ Bw’atyo Yesu bwe yayise abakulembeze b’eddiini abo. Awo Yesu n’agamba nti Katonda ajja kubabonereza olw’ebintu ebibi byonna bye bakoze. Oluvannyuma lw’ekyo Yesu yazze ku Lusozi lwa Zeyituuni, era abatume bano abana ne batandika okumubuuza ebibuuzo. Omanyi kye babuuza Yesu?

Abatume babuuza ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Bamanyi nti Yesu ajja kukomya obubi bwonna ku nsi. Naye baagala okumanya ddi bwe kiribaawo. Yesu alikomawo ddi okufuga nga Kabaka?

Yesu akimanyi nti abagoberezi be ku nsi tebajja kusobola kumulaba ng’akomyewo. Kino kiri kityo kubanga ajja kubeera mu ggulu, era nga tebajja kusobola kumulaba ng’ali eyo. Bwe kityo Yesu abuulira abatume be ebintu ebimu ebiribaawo ku nsi ng’afuga nga Kabaka mu ggulu. Ebimu ku bintu bino bye biruwa?

Yesu agamba nti walibaawo entalo ez’amaanyi, abantu bangi balirwala era balirumwa enjala, obumenyi bw’amateeka buliba bwa maanyi, era walibaawo musisi ow’amaanyi. Yesu era agamba nti amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda galibuulirwa mu nsi yonna. Tulabye ebintu bino nga bibaawo mu kiseera kyaffe? Yee! N’olwekyo tuyinza okubeera abakakafu nti Yesu afuga mu ggulu. Mangu ddala ajja kukomya obubi bwonna ku nsi.

Matayo 21:46; 23:1-39; 24:1-14; Makko 13:3-10.

Ebibuuzo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share