LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • gf essomo 12 lup. 20
  • Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?
  • Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Similar Material
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Biki bye Tuyiga mu Bayibuli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Bajjajjaffe Abaafa Bali Ludda Wa?
    Ekkubo Erituusa Mu Bulamu Obutaggwawo​—Olizudde?
  • Abafu Bali Ludda Wa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
gf essomo 12 lup. 20

ESSOMO 12

Kiki Ekibaawo mu Kufa?

Okufa bwe butaba na bulamu. Okufa kulinga otulo otw’amaanyi. (Yokaana 11:11-14) Abafu tebasobola kuwulira, kulaba, oba kulowooza kintu kyonna. (Omubuulizi 9:5,10) Eddiini ez’obulimba ziyigiriza nti abafu bagenda mu nsi ey’emyoyo okubeera ne bajjajjaabwe abaafa. Baibuli si bw’eyigiriza.

Yesu azuukiza omwana wa Yayiro

Abafu tebasobola kutuyamba, era tebayinza kutukolako kabi. Kya bulijjo abantu okukola emikolo n’okuwaayo ebiweebwayo bye balowooza nti bijja kusanyusa abafu. Kino tekisanyusa Katonda kubanga kyesigamye ku bulimba bwa Setaani. Era tekiyinza kusanyusa bafu kubanga tebalina bulamu. Tetusaanidde kutya bafu oba okubasinza. Tusaanidde kusinza Katonda yekka.​—Matayo 4:10.

Abafu baliba balamu nate. Yakuwa ajja kuzuukiza abafu babeere mu lusuku lwe ku nsi. Ekiseera ekyo kiri mu maaso. (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Katonda asobola okuzuukiza abafu nga bw’oyinza okuzuukusa omuntu okuva mu tulo.​—Makko 5:22, 23, 41, 42.

Endowooza nti tetufa, bulimba obusaasaanyiziddwa Setaani Omulyolyomi. Setaani ne balubaale be balowoozesa abantu nti emyoyo gy’abafu miramu era nga gireeta obulwadde n’ebizibu ebirala. Setaani abuzaabuza abantu, ng’oluusi ayitira mu birooto n’okwolesebwa. Yakuwa avumirira abo abagezaako okwogera n’abafu.​—Ekyamateeka 18:10-12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share