LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 40 lup. 223-lup. 225 kat. 3
  • Okwogera Ebituufu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwogera Ebituufu
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Ebituufu era Ebyesigika
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Engeri y’Okunoonyerezaamu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Buulira Okusobola Okufuula Abantu Abayigirizwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 40 lup. 223-lup. 225 kat. 3

ESSOMO 40

Okwogera Ebituufu

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yogera ebintu by’okakasa.

Lwaki Kikulu?

Bw’oyogera ebintu ebituufu, kiwa ekifaananyi ekirungi ku gwe kennyini, ku kibiina ky’olimu, era ne ku Katonda gw’osinza.

KIKI ekiyinza okuviirako Omukristaayo okwogera ebintu ebitali bituufu? Ayinza okuba ng’ayogera ebyo bye yawulira obuwulizi, nga tasoose kukakasa nti bituufu. Oba ayinza okwogera ebintu bye yategedde mu bukyamu. Bwe twogera ebintu ebituufu mu nsonga ezirabika ng’entono, abatuwuliriza bajja kukkiriza n’ensonga enkulu ze tuba twogerako.

Mu Buweereza bw’Ennimiro. Olw’okuba balowooza nti bakyalina bingi eby’okuyiga, bangi batya okutandika okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera kitono, abalinga abo beesanga nga basobola okubuulira obulungi, wadde nga tebamanyi bingi ebikwata ku mazima. Bayinza batya okukikola? Nga bategeka bulungi.

Nga tonnagenda mu buweereza bw’ennimiro, kakasa nti otegeera bulungi by’ogenda okwogerako. Gezaako okulowooza ku bibuuzo abakuwuliriza bye bayinza okubuuza. Noonyereza eby’okuddamu ebimatiza nga byesigamiziddwa ku Baibuli. Kino kijja kukusobozesa okuddamu ebibuuzo by’abantu ng’oli mukkakkamu. Ogenda kuyigiriza omuyizi wa Baibuli? Teekateeka bulungi kye mugenda okuyigako. Kakasa nti otegeera bulungi engeri Ebyawandiikibwa gye biwagiramu eby’okuddamu mu bibuuzo ebiri mu kitabo.

Watya singa nnyinimu oba mukozi muno akubuuza ekibuuzo kyokka nga teweekakasa kya kuddamu? Bw’oba nga teweekakasa kyakumuddamu, tokiteebereza buteebereza. ‘Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza nga tannayanukula.’ (Nge. 15:28) Osobola okufuna obuyambi bwe weetaaga mu katabo Reasoning From the Scriptures oba “Bible Topics for Discussion” mu nkyusa ya New World Translation bwe biba nga weebiri mu lulimi lwo. Bwe biba nga tebiriiwo, mutegeeze nti ojja kusooka kunoonyereza oluvannyuma oddeyo omuddemu ekibuuzo kye. Oyo abuuzizza ekibuuzo bwaba nga mwesimbu, ajja kulinda okutuusa lw’onoomuddamu ekituufu. Mu butuufu, ayinza n’okukwatibwako ennyo olw’obuwombeefu bw’omulaze.

Okukolera awamu mu buweereza bw’ennimiro n’ababuulizi abalina obumanyirivu, kiyinza okukuyamba okuyiga okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda. Weetegereze ebyawandiikibwa bye bakozesa n’engeri gye babinnyonnyolamu. N’obuwombeefu kkiriza okuwabulwa n’amagezi ge bakuwa. Omuyigirizwa omunyiikivu Apolo, yaganyulwa mu buyambi abalala bwe baamuwa. Lukka yayogera ku Apolo ‘ng’omuntu eyali omwogezi omulungi,’ ‘ng’amanyi nnyo ebyawandiikibwa,’ ‘ng’ajjudde omwoyo,’ ‘ng’ayogera era ng’ayigiriza mu ngeri entuufu ebikwata ku Yesu.’ Kyokka, waaliwo bye yali tategeera bulungi. Pulisikira ne Akula bwe bakitegeera, ‘ne bamutwala, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.’​—Bik. 18:24-28.

‘Nywerera ku Kigambo Ekyesigwa.’ Bye twogera mu nkuŋŋaana birina okwoleka nti ekibiina tukitwala okuba “empagi n’omusingi eby’amazima.” (1 Tim. 3:15) Okusobola okwogera ebintu ebituufu ebikwata ku mazima, kikulu okutegeera obulungi ebyawandiikibwa bye tuteekateeka okukozesa mu mboozi zaffe. Funa n’amakulu ag’ebyawandiikibwa ebiraanyeewo.

By’oyogera mu nkuŋŋaana z’ekibiina abalala bayinza okubikolerako. Kyo kituufu nti, ‘Ffenna emirundi mingi tusobya.’ (Yak. 3:2) Naye, ojja kuganyulwa bw’oneemanyiza okwogera ebintu ebituufu. Ab’oluganda bangi abayingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, bayinza okufuuka abakadde oluvannyuma lw’ekiseera. ‘Bingi’ ebisuubirwa mu abo abaweebwa obuvunaanyizibwa ng’obwo. (Luk. 12:48) Singa omukadde awa amagezi amakyamu ne kiviirako abo abali mu kibiina okufuna ebizibu eby’amaanyi, omukadde oyo tayinza kusiimibwa Katonda. (Mat. 12:36, 37) N’olwekyo, ow’oluganda okusobola okufuuka omukadde, ateekwa okuba ‘ng’anywerera ku kigambo eky’amazima ng’ayigiriza.’​—Tito 1:9.

Kakasa nti engeri gy’onnyonnyolamu etuukagana ‘n’ebigambo eby’obulamu’ ebiri mu Byawandiikibwa. (2 Tim. 1:13) Kino tekisaanidde kukutiisa. Oboolyawo, onaatera okumalako okusoma Baibuli yonna. Weeyongere okugisoma. Ng’okyakola ekyo, weetegereze engeri amagezi gano wammanga gye gayinza okukuyamba okwekenneenya ebyo by’osuubira okukozesa ng’oyigiriza.

Sooka weebuuze: ‘Bye ŋŋenda okwogerako bituukagana n’ebyo bye njize okuva mu Baibuli? Binaaleetera abampuliriza okugulumiza Yakuwa, oba okugulumiza amagezi g’ensi, ne bibakubiriza okugagoberera?’ Yesu yagamba: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17; Ma. 13:1-5; 1 Kol. 1:19-21) Ate era, weeyambise bulungi ebitabo bye tukozesa okuyiga, ebituweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Bino tebijja kukoma ku kukuyamba kutegeera butegeezi byawandiikibwa, naye era bijja kukuyamba n’okubikozesa obulungi. Singa emboozi zo ozeesigamya ku ‘bigambo eby’obulamu’ era ne weeyambisa omukutu Yakuwa gw’akozesa okutuyigiriza ng’onnyonnyola era ng’olaga engeri ebyawandiikibwa gye biyinza okussibwa mu nkola, by’oyogera bijja kuba bituufu.

Engeri y’Okukakasaamu nti bye Twogera Bituufu. Ebintu ebyakabaawo, ebijuliziddwa okuva mu bitabo ebirala era n’ebyo ebituuse ku balala, biyinza okukuyamba ng’onnyonnyola ensonga oba ng’olaga engeri ebintu ebimu gye biyinza okuteekebwa mu nkola. Oyinza otya okukakasa nti bituufu? Engeri emu, kwe kubiggya mu nsonda ezeesigika. Era kimanye nti emiwendo gikyuka, ebintu ebippya ebya sayansi bivumbulwa, era omuntu bw’agenda yeeyongera okutegeera ebyafaayo n’ennimi ez’edda, ebintu ebimu eby’ekiseera eky’emabega biba birina okulongoosebwamu. N’olwekyo, olina okukasizza ddala nti by’oyogera bituufu. Era weegendereze nnyo bw’oba ng’oyagala okukozesa ebyo ebiba mu mpapula z’amawulire, ku ttivi, ku rediyo, oba ku Internet. Engero 14:15 wagamba: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna, naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.” Weebuuze: ‘Emikutu egyo egy’eby’empuliziganya gimanyiddwa nti gyogera ebintu ebituufu? Ebifulumira mu mikutu egyo biyinza okukakasibwa okuva mu nsonda endala?’ Bw’oba ng’obuusabuusa obutuufu bw’ekintu, tokikozesa.

Ng’oggyeko okukakasa obutuufu bw’ebyo by’ogenda okwogerako, lowooza nnyo ku ngeri gy’oteekateeka okubikozesaamu. Kakasa nti emiwendo n’ebijuliziddwa okuva mu bitabo bikwatagana n’ebyo byonna by’ogenda okwogerako. Bw’oba ng’onnyonnyola ensonga yo, weegendereze nti ekintu ekikwata ku “bantu abamu,” togamba nti kikwata ku “bantu abasinga obungi,” oba ekyo ekikwata ku “bantu bangi” togamba nti kikwata ku “bantu bonna,” era n’ekyo ekibaawo “emirundi egimu” togamba nti kibaawo “buli kiseera.” Okwogera ebintu ebitali bituufu oba okusavuwaza ebikwata ku miwendo, oba ku bukulu bw’ekintu, bireetera abantu okubuusabuusa by’oyogera.

Bw’oyogera ebintu ebituufu bulijjo, ojja kumanyibwa ng’omuntu anywerera ku mazima. Kino kiwa ekifaananyi ekirungi ku Bajulirwa ba Yakuwa bonna ng’ekibiina. N’ekisinga obukulu, kiweesa ekitiibwa “Yakuwa Katonda ow’amazima.”​—Zab. 31:5.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Toyogera kintu nga tokyekakasa.

  • By’oyogera byesigamye ku ‘bigambo eby’obulamu’ ebiri mu Baibuli.

  • Noonyereza ku by’ogenda okwogerako.

  • Noonyereza ku butuufu bw’emiwendo, bw’ebyo ebijuliziddwa okuva mu bitabo ebirala, n’ebyo ebituuse ku bantu era obikozese awatali kusavuwaza. Weewale okuteebereza ebintu by’otajjukira bulungi.

EKY’OKUKOLA: Saba Omujulirwa omukulu mu by’Omwoyo awulirize bulungi obanga by’oyogera ku nsonga zino eziddirira bituufu: (1) Yakuwa muntu wa ngeri ki, era osobola otya okukimanya? (2) Lwaki Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, era kino kituganyula kitya? (3) Okuva lwe yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka, Yesu Kristo abadde akola ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share