Oluyimba 67
Sabanga Yakuwa Buli Lunaku
Printed Edition
1. Saba Yakuwa, Katonda waffe.
Nkizo nnene etuweereddwa ffe.
Yogera naye nga mukwano gwo,
Gw’oba weesigamako bulijjo.
Yakuwa musabenga.
2. Saba Yakuwa, era mwebaze,
Musabenga okukusonyiwa.
Tumwatulire ebibi byaffe.
Akimanyi nga tuli nfuufu ffe.
Yakuwa musabenga.
3. Saba Yakuwa bw’oba mu nnaku.
Ye Kitaffe era atuddamu.
Saba obukuumi; mwe yunenga.
Mwesige, teweeraliikirira.
Yakuwa musabenga.
(Era laba Mat. 6:9-13; 26:41; Luk. 18:1.)