LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ll ekitundu 9 lup. 20-21
  • Ensi Erifuulibwa Ddi Olusuku lwa Katonda?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ensi Erifuulibwa Ddi Olusuku lwa Katonda?
  • Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
  • Laba Ebirala
  • Olusuku lwa Katonda Luli Kumpi!
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Ekitundu 9
    Wuliriza Katonda
  • Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkomerero Eri Kumpi?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Laba Ebirara
Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna
ll ekitundu 9 lup. 20-21

EKITUNDU 9

Ensi Erifuulibwa Ddi Olusuku lwa Katonda?

Ebizibu ebiriwo mu nsi biraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okubaako kye bukolawo. Lukka 21:10, 11; 2 Timoseewo 3:1-5

Ebizibu ebiriwo mu nnaku ez’enkomerero—okukuba zzaala, entalo, endwadde, ebbula ly’emmere, abaana obutagondera bazadde baabwe, n’obutabanguko mu maka

Ebintu bingi ebiriwo kati Bayibuli yali yabyogerako dda. Yagamba nti abantu bandibadde baagala nnyo ssente, nga tebagondera bazadde baabwe, nga bakambwe, era nga baagala nnyo eby’amasanyu.

Wandibaddewo musisi ow’amaanyi, entalo, ebbula ly’emmere, n’endwadde nnyingi. Ebintu bino weebiri kati.

Omujulirwa wa Yakuwa abuulira omusajja amawulire amalungi ag’Obwakabaka

Ate era Yesu yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gandibuuliddwa mu nsi yonna.​—Matayo 24:14.

Obwakabaka bujja kuggyawo ebintu byonna ebibi. 2 Peetero 3:13

Abantu ababi nga bazikirizibwa ku Amagedoni, era ne Sitaani ne badayimoni be nga babonerezebwa

Yakuwa anaatera okuzikiriza abantu ababi bonna.

Sitaani ne badayimooni bajja kubonerezebwa.

Yesu atudde ku ntebe ye ey’Obwakabaka mu ggulu era n’abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo nga basanyufu

Abo abawuliriza Katonda bajja kusigalawo babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu, omutaabeere kutya kwonna, era omunaabeera abantu abeesigaŋŋana era abaagalana.

  • Biki Yesu bye yayogera ebyandibaddewo mu kiseera kye tulimu?​—Matayo 24:3-14.

  • Abantu ababi bajja kuzikirizibwa.​—2 Peetero 3:7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza