Oluyimba 146
Mwabikolera Nze
Wanula:
Abo abayamba baganda ba Kristo
nabo ndiga mu kisibo kya Yesu.
Alibawa ’mpeera
kubanga bayamba
era bawagira nnyo baganda be.
(CHORUS)
“Bye mwabakolera, mwakolera nze.
Mwababudaabuda, mwabayambanga.
Ebintu ebyo mwabikolera nze.
Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.
Bye mwabakolera, mwakolera nze.”
“Bwe nnalumwa ’njala, mwampa eky’okulya;
era mwanfaako nnyo mu buli kimu.”
“Twakukolera ddi
’bintu ebyo byonna?”
Kabaka alibaanukula bw’ati:
(CHORUS)
“Bye mwabakolera, mwakolera nze.
Mwababudaabuda, mwabayambanga.
Ebintu ebyo mwabikolera nze.
Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.
Bye mwabakolera, mwakolera nze.”
“Mubadde beesigwa, era banyiikivu
nga mubayambako okubuulira.”
Empeera Kabaka
gy’alibawa y’eno:
Obulamu obutaggwaawo ku nsi.
(CHORUS)
“Bye mwabakolera, mwakolera nze.
Mwababudaabuda, mwabayambanga.
Ebintu ebyo mwabikolera nze.
Bwe mwabayamba, mwayambanga nze.
Bye mwabakolera, mwakolera nze.”
(Era laba Nge. 19:17; Mat. 10:40-42; 2 Tim. 1:16, 17.)