LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • rj ekitundu 5 lup. 12-15
  • Komawo eri ‘Omusumba era Omulabirizi w’Obulamu Bwo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Komawo eri ‘Omusumba era Omulabirizi w’Obulamu Bwo’
  • Komawo eri Yakuwa
  • Similar Material
  • “Mudde Gye Ndi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ajja Kukuwa Amaanyi
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Ajja Kukuwa Amaanyi
    Muyimbire Yakuwa
  • Yakuwa Akutwala ng’Oli wa Muwendo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Komawo eri Yakuwa
rj ekitundu 5 lup. 12-15

EKITUNDU 5

Komawo eri ‘Omusumba era Omulabirizi w’Obulamu Bwo’

Waliwo okusoomoozebwa kwonna okwogeddwako mu katabo kano kw’oyolekagana nakwo? Bwe kiba bwe kityo, si ggwe wekka ali mu mbeera eyo. Abaweereza ba Katonda abaaliwo edda n’abo abaliwo leero, babadde n’okusoomoozebwa ng’okwo. Yakuwa yabayamba okuvvuunuka embeera gye baalimu, era naawe ajja kukuyamba.

Yakuwa ajja kukwaniriza bw’onookomawo gy’ali

BEERA mukakafu nti Yakuwa ajja kukwaniriza bw’onookomawo gy’ali. Ajja kukuyamba okuvvuunuka ebikweraliikiriza, okugonjoola ebyakunyiiza, n’okufuna emirembe mu birowoozo ne mu mutima olw’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. Oluvannyuma ojja kuwulira ng’oyagala nnyo okuweereza Yakuwa ng’oli wamu ne bakkiriza banno. Naawe ojja kuba ng’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, omutume Peetero be yawandiikira nti: “Mwali ng’endiga ezibula; naye kaakano mukomyewo eri omusumba era omulabirizi w’obulamu bwammwe.”​—1 Peetero 2:25.

Okukomawo eri Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi ky’oyinza okukola. Lwaki? Kubanga ojja kusanyusa nnyo Yakuwa. (Engero 27:11) Nga bw’okimanyi, Yakuwa alina enneewulira era ebintu bye tukola bimukwatako nnyo. Wadde kiri kityo, Yakuwa tatukaka kumwagala oba kumusinza. (Ekyamateeka 30:19 , 20) Omukugu omu anoonyereza ku ebyo ebiri mu Bayibuli yagamba nti: “Oluggi oluyingira mu mutima gwo teruggulira bweru. Luggulira munda.” Bwe tusinza Yakuwa n’omutima ogujjudde okwagala, tuba tugguddewo omutima gwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tuwadde Yakuwa ekirabo eky’omuwendo​—obugolokofu bwaffe​—era ekyo kimuleetera essanyu lingi. Mu butuufu, tewali kintu kye tuyinza kugeraageranya na ssanyu lye tufuna bwe tusinza Yakuwa mu ngeri gy’agwanidde okusinzibwa.​—Ebikolwa 20:35; Okubikkulirwa 4:11.

Mwannyinaffe eyali addiridde mu by’omwoyo akomyewo mu kibiina era bakkiriza banne bamwaniriza n’essanyu

Ate era bw’onooddamu okusinza Yakuwa, obwetaavu bwo obw’eby’omwoyo bujja kukolebwako. (Matayo 5:3) Mu ngeri ki? Abantu abatasinza Yakuwa beebuuza nti, ‘Obulamu bulina kigendererwa ki?’ Baagala okuddibwamu ebibuuzo bye beebuuza ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu. Abantu tulina obwetaavu obwo kubanga Yakuwa yabututonderamu. Yatutonda ng’ayagala tufune essanyu eriva mu kumuweereza. Okusinza Yakuwa olw’okuba tumwagala kye kintu ekisinga okutuleetera essanyu.​—Zabbuli 63:1-5.

Kimanye nti Yakuwa ayagala okomewo gy’ali. Lwaki tugamba bwe tutyo? Lowooza ku kino: Akatabo kano kaategekebwa oluvannyuma lw’okusaba obulagirizi bwa Yakuwa. Oboolyawo omukadde mu kibiina oba ow’oluganda omulala ye yakakuleetera. Oluvannyuma watandika okukasoma n’okukolera ku ebyo ebikalimu. Buno bwonna bukakafu obulaga nti Yakuwa takwerabiranga. Mu butuufu, akusika mu ngeri ey’ekisa okomewo gy’ali.​—Yokaana 6:44.

Kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa teyeerabira baweereza be abaddiridde mu by’omwoyo. Ekyo mwannyinaffe Donna yakitegeera bulungi. Yagamba nti: “Nnawaba mpolampola ne nva mu mazima, naye nnateranga okufumiitiriza ku Zabbuli 139:23, 24, awagamba nti: ‘Nkebera, Ai Katonda, omanye omutima gwange. Ngezesa omanye ebinneeraliikiriza. Laba obanga mu nze mulimu ekkubo ery’omutawaana, onnuŋŋamye mu kkubo ery’emirembe n’emirembe.’ Nnali nkimanyi nti sirina kuba wa nsi​—mu butuufu nnali sigyayo​—era nnali nkimanyi nti nnina kubeera mu kibiina kya Yakuwa. Nnatandika okukiraba nti Yakuwa tanjabuliranga era nti kye nneetaaga okukola kwe kukomawo gy’ali. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnakomawo gy’ali!”

“Nnatandika okukiraba nti Yakuwa tanjabuliranga era nti kye nneetaaga okukola kwe kukomawo gy’ali”

Tukusabira, naawe osobole okuddamu okufuna “essanyu lya Yakuwa.” (Nekkemiya 8:10) Bw’onookomawo eri Yakuwa, tojja kwejjusa.

Eby’Okuddamu mu Bibuuzo Ebikwata ku Kukomawo eri Yakuwa

NTANDIKIRE WA?

Mwannyinaffe eyaddirira mu by’omwoyo ng’asoma Bayibuli

Omuntu abadde omulwadde bw’aba ayagala okuddamu okukola ebintu nga bwe yali abikola, atandika mpolampola. Mu ngeri y’emu, naawe osobola okuddamu amaanyi mu by’omwoyo ng’olya emmere ey’eby’omwoyo ntonotono buli lunaku. Tokitwala nti olina okukola ebintu byonna omulundi gumu. Oboolyawo oyinza okumala eddakiika ntonotono ng’osoma Bayibuli oba ng’owuliriza essuula za Bayibuli eziri ku butambi bw’amaloboozi, ng’osoma ekimu ku bitabo byaffe, ng’okebera ebiri ku jw.org, oba ng’olaba programu za ttivi yaffe eziteekebwako. Ate era, fuba okugenda mu nkuŋŋaana amangu ddala nga bwe kisoboka. N’ekisinga byonna, saba Yakuwa akuyambe. Bayibuli egamba nti: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’​—1 Peetero 5:7.

“Bwe nnali ndekedde awo okubuulira, nnawulira nga nswala okusaba Yakuwa. Bwe nnafuna obuvumu ne nsaba, omukadde mu kibiina yankyalira era yannyamba okukimanya nti Yakuwa yali akyanjagala. Omukadde yankubiriza okutandika okusoma Bayibuli buli lunaku. Bwe nnakola bwe ntyo, nnafuna amaanyi ne nziramu okugenda mu nkuŋŋaana. Oluvannyuma lw’ekiseera nnaddamu okubuulira. Ndi musanyufu nnyo nti Yakuwa yali akyanjagala.”​—Eeva.

AB’OLUGANDA MU KIBIINA BANANNYANIRIZA?

Ab’oluganda mu kibiina bajja kukwaniriza n’essanyu. Mu kifo ky’okukunenya oba okukusalira omusango, bajja kukulaga okwagala era bajja kukuzzaamu amaanyi.​—Abebbulaniya 10:24, 25.

“Nnali nswala okuddamu okugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Nneebuuzanga engeri ab’oluganda gye bandimpisizzaamu. Omu ku bannyinaffe eyaliwo emyaka 30 emabega yaŋŋamba nti, ‘Mutabani, weebale kukomawo awaka!’ Ekyo kyankwatako nnyo. Nnawulira nga ddala ndi waka.”​—Javier.

“Nnagenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka ne ntuula ku ntebe esembayo emabega waleme kubaawo n’omu antegeera. Kyokka, bangi bantegeera kubanga nnakuŋŋaananga nabo nga nkyali muto. Bannyaniriza era ne bangwa mu kifuba ne mpulira emirembe mingi. Nnawulira ng’akomyewo awaka.”​—Marco.

ABAKADDE BANANNYAMBA BATYA?

Abakadde bajja kukuyisa mu ngeri ey’ekisa. Bajja kukusiima olw’okwagala okuddamu okukulaakulanya “okwagala kwe walina olubereberye.” (Okubikkulirwa 2:4) Mu ngeri ey’ekisa bajja kukuyamba okutereeza ensobi ze wakola, era ekyo bajja kukikola “mu mwoyo omukkakkamu.” (Abaggalatiya 6:1; Engero 28:13) Abakadde bayinza okufunayo omubuulizi n’akuyigiriza Bayibuli ng’akozesa akatabo gamba nga Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! oba Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa. Beera mukakafu nti abakadde bajja kukubudaabuda era bajja kukuyamba mu buli ngeri.​—Isaaya 32:1, 2.

“Mu myaka omunaana gye nnamala nga sikyabuulira, abakadde bankyaliranga ne bafuba okunnyamba. Lumu, omukadde yandaga ebifaananyi bye yali yatukuba mu biseera eby’emabega. Byanzijukiza ebiseera ebyo ebirungi ne ntandika okuwulira nga njagala okuddamu okufuna essanyu lye nnalina nga nkyaweereza Yakuwa. Mu ngeri ey’okwagala, abakadde bannyamba okuddamu okuba omunyiikivu mu by’omwoyo.”​—Victor.

“Ajja Kukuwa Amaanyi”

Bannyinaffe babiri bakozesa akatabo kamu okuyimba nga bali mu nkuŋŋaana

Akatabo kaffe ak’ennyimba, Muyimbire Yakuwa n’Essanyu, kalimu ennyimba nnyingi ezisobola okukubudaabuda n’okukuzzaamu amaanyi ng’ofuba okuddamu okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo ebiri mu Luyimba 38. Byesigamiziddwa ku 1 Peetero 5:​10, era oluyimba olwo lulina omutwe ogugamba nti “Ajja Kukuwa Amaanyi.”

  1. Katonda ye yaleeta ’mazima gy’oli

    Era n’akuggyayo mu nzikiza.

    Yalaba mu mutima gwo ng’oyagala

    Okukola ebyo by’ayagala.

    Wamusuubiza nty’o ’libikola;

    Yakuyamba era ’kyakuyamba.

  2. Katonda yawaayo ’Mwana we ku lulwo;

    Akwagaliza birungi byokka.

    Bw’aba teyalemwa kuwaayo ’Mwana we,

    Ajja ’kkuwa ’maanyi ge weetaaga.

    Teyeerabiranga kwagala kwo.

    Alabirira ’babe bulijjo.

    (CHORUS)

    Wagulwa na musaayi gw’omuwendo ’mungi.

    Ajja kukunyweza obeere wa maanyi.

    Ajja kukuluŋŋamya era ’jja kkukuuma.

    Ajja kukunyweza, obeere wa maanyi.

Ennyimba ezitendereza Yakuwa eziriko amaloboozi

Okuwuliriza amaloboozi g’oluyimba luno n’ag’ennyimba z’Obwakabaka endala, genda ku jw.org.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share