OLUYIMBA 66
Buulira Amawulire Amalungi
Printed Edition
1. ’Mazima g’Obwakabaka kyali kyama.
Galangirirwa kaakano eri bonna.
Yakuwa olw’okwagala kwe okungi
Yalowooza ku mbeera y’omuntu embi.
Omwana we wa kufuga ensi eno;
Obwakabaka bwe bujja
mu bbanga ttono.
Afunidde Omwana we omugole;
’B’ekisibo ekitono y’abalonze.
2. Obubaka buno bwategekebwa dda.
Tububunyise; Yakuwa ky’ayagala.
Basanyufu nnyo ddala bamalayika
Nga batuyamb’o kumanyisa ’mazima.
Nga twesiimye nnyo ’kuyitibw’e linnya lye.
N’okulimanyisa
’wamu n’ekitiibwa kye!
Era tuweereddwa enkizo ya maanyi
Okubuulira ’mawulire ’malungi.
(Laba ne Mak. 4:11; Bik. 5:31; 1 Kol. 2:1, 7.)