OLUYIMBA 120
Koppa Obuwombeefu bwa Kristo
Printed Edition
1. Wadde Kristo wa kitiibwa nnyo ddala,
Tabeerangako na malala gonna.
Yaweebwa omulimu omukulu
Naye yasigala nga muwombeefu.
2. Abazitoowereddwa abayita,
Mujje mwetikke ekikoligo kye
Mulyoke mufune ekiwummulo.
Kristo muteefu era wa kisa nnyo.
3. Yagamba: ‘Muli ba luganda mmwenna.’
Tonoonyanga bukulu; ggwe weereza.
Abawombeefu Katonda b’asiima;
Ensi eno bajja kugisikira.
(Laba ne Nge. 3:34; Mat. 5:5; 23:8; Bar. 12:16.)