AKASANDUUKO 2B
Ezeekyeri—Obulamu Bwe N’ekiseera We Yabeererawo
Erinnya Ezeekyeri litegeeza “Katonda Agumya.” Wadde ng’obunnabbi bwa Ezeekyeri bulimu okulabula kungi, okutwalira awamu obubaka obubulimu bukwatagana n’amakulu g’erinnya lye. Bunyweza okukkiriza kw’abo abaagala okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima.
BANNABBI ABAALIWO MU KISEERA KYA EZEEKYERI
YEREMIYA,
kitaawe yali kabona, okusingira ddala yaweerereza mu Yerusaalemi (647-580 E.E.T.)
KULUDA
yaweerereza mu kiseera ekitabo ky’Amateeka we kyazuulibwa mu yeekaalu awo nga mu 642 E.E.T.
DANYERI,
yali wa mu kika kya Yuda omwavanga bakabaka, yatwalibwa mu Babulooni mu 617 E.E.T.
KAABAKUUKU
kirabika yaweerereza mu Yuda ku ntandikwa y’obufuzi bwa Yekoyakimu
OBADIYA
yalangirira omusango Yakuwa gwe yali asalidde Edomu, oboolyawo mu kiseera Yerusaalemi we kyazikiririzibwa
BAAWEEREZA DDI NGA BANNABBI? (EMYAKA GYONNA GIRI MU E.E.T.)
EBINTU EBIKULU EBYALIWO MU KISEERA KYA EZEEKYERI (EMYAKA GYONNA GIRI MU E.E.T.)
a.643: Azaalibwa
617: Atwalibwa mu buwambe e Babulooni
613: Atandika okuweereza nga nnabbi; afuna okwolesebwa okukwata ku Yakuwa
612: Afuna okwolesebwa okukwata ku bwakyewaggula obwali mu yeekaalu
611: Atandika okulangirira omusango ogwali gusaliddwa Yerusaalemi
609: Mukyala we afa era Yerusaalemi kitandika okuzingizibwa omulundi ogwasembayo
607: Ategeezebwa nti Yerusaalemi kizikiriziddwa
593: Afuna okwolesebwa okukwata ku yeekaalu
591: Alanga obulumbaganyi Nebukadduneeza bwe yali agenda okukola ku Misiri; amaliriza okuwandiika ekitabo kye
BAKABAKA BA YUDA N’ABA BABULOONI
659-629: Yosiya atumbula okusinza okw’amazima naye afiira mu lutalo ng’alwana ne Falaawo Neeko
628: Yekoyakazi afuga bubi okumala emyezi esatu era Falaawo Neeko amuwamba
628-618: Yekoyakimu kabaka mubi era Falaawo Neeko amussa wansi w’obufuzi bwe
625: Nebukadduneeza awangula eggye lya Misiri
620: Nebukadduneeza alumba Yuda omulundi ogusooka n’assa Yekoyakimu kabaka w’omu Yerusaalemi wansi w’obufuzi bwe
618: Yekoyakimu ajeemera Nebukadduneeza era kirabika afiira mu kiseera Abababulooni we balumbira Ensi Ensuubize omulundi ogw’okubiri
617: Yekoyakini, era amanyiddwa nga Yekoniya, kabaka mubi era afugira emyezi esatu gyokka ne yeewaayo mu mikono gya Nebukadduneeza
617-607: Zeddeekiya, kabaka mubi era atya abantu, Nebukadduneeza amussa wansi w’obuyinza bwe
609: Zeddeekiya ajeemera Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’alumba Yuda omulundi ogw’okusatu
607: Nebukadduneeza azikiriza Yerusaalemi, awamba Zeddeekiya, amuggyamu amaaso, era amutwala e Babulooni