Ssande
“Ba muvumu era ba n’omutima omugumu. Essuubi lyo lisse mu Yakuwa”—ZABBULI 27:14
KU MAKYA
3:20 Vidiyo ey’Ennyimba
3:30 Oluyimba 73 n’Okusaba
3:40 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Ebinaabaawo mu Maaso Ebijja Okutwetaagisa Okuba Abavumu
Okulangirira ‘Emirembe n’Obutebenkevu!’ (1 Abassessalonika 5:2, 3)
Okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene (Okubikkulirwa 17:16, 17)
Okulangirira Obubaka Obulinga Omuzira (Okubikkulirwa 16:21)
Obulumbaganyi bwa Googi ow’e Magoogi (Ezeekyeri 38:10-12, 14-16)
Amagedoni (Okubikkulirwa 16:14, 16)
Okuddamu Okulongoosa Ensi (Isaaya 65:21)
Okugezesebwa Okusembayo (Okubikkulirwa 20:3, 7, 8)
5:10 Oluyimba 8 n’Ebirango
5:20 OKWOGERA KWA BONNA: Essuubi ly’Okuzuukira Lituyamba Litya Okuba Abavumu? (Makko 5:35-42; Lukka 12:4, 5; Yokaana 5:28, 29; 11:11-14)
5:50 Okuwumbawumbako Omunaala gw’Omukuumi
6:20 Oluyimba 151 n’Okuwummulamu
OLWEGGULO
7:35 Vidiyo ey’Ennyimba
7:45 Oluyimba 5
7:50 OMUZANNYO: Ebikwata ku Yona—Bituyigiriza Okuba Abavumu era ab’Ekisa (Yona 1-4)
8:40 Oluyimba 71 n’Ebirango
8:50 Abali Naffe Bangi Okusinga Abalabe Baffe! (Ekyamateeka 7:17, 21; 28:2; 2 Bassekabaka 6:16; 2 Ebyomumirembe 14:9-11; 32:7, 8, 21; Isaaya 41:10-13)
9:50 Oluyimba n’Okusaba Okufundikira