Olwomukaaga
‘Mulwanirire nnyo okukkiriza’—Yuda 3
KU MAKYA
3:20 Vidiyo ey’Ennyimba
3:30 Oluyimba 57 n’Okusaba
3:40 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Kijjukire nti Abantu Abatalina Kukkiriza Basobola Okufuna Okukkiriza!
• Abantu b’Omu Nineeve (Yona 3:5)
• Baganda ba Yesu (1 Abakkolinso 15:7)
• Abantu Abaatiikirivu (Abafiripi 3:7, 8)
• Abantu Abatettanira bya Ddiini (Abaruumi 10:13-15; 1 Abakkolinso 9:22)
4:30 Nyweza Okukkiriza kw’Abalala ng’Okozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (Yokaana 17:3)
4:50 Oluyimba 67 n’Ebirango
5:00 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Abo Abalwanirira Okukkiriza Kwabwe
• Abalina Bannaabwe mu Bufumbo Abatali Bakkiriza (Abafiripi 3:17)
• Abakuzibwa Abazadde Abali Obwannamunigina (2 Timoseewo 1:5)
• Abakristaayo Abali Obwannamunigina (1 Abakkolinso 12:25)
5:45 OKUBATIZIBWA: Okwoleka Okukkiriza Kisobozesa Omuntu Okufuna Obulamu Obutaggwaawo! (Matayo 17:20; Yokaana 3:16; Abebbulaniya 11:6)
6:15 Oluyimba 79 n’Okuwummulamu
OLWEGGULO
7:35 Vidiyo ey’Ennyimba
7:45 Oluyimba 24
7:50 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Engeri Baganda Baffe Gye Boolekamu Okukkiriza mu . . .
• Afirika
• Amerika ow’Ebukiikakkono
• Asiya
• Oceania
• Bulaaya
• Amerika ow’Ebukiikaddyo
8:15 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Yoleka Okukkiriza Oyingire mu Luggi Olunene olw’Emirimu
• Yiga Olulimi Olulala (1 Abakkolinso 16:9)
• Genda Awali Obwetaavu Obusingako (Abebbulaniya 11:8-10)
• Jjuzaamu Foomu ey’Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka (1 Abakkolinso 4:17)
• Yambako mu Kuzimba Ebizimbe Ebikozesebwa Ekibiina kya Yakuwa (Nekkemiya 1:2, 3; 2:5)
• ‘Baako ky’Oterekawo’ Okuwagira Omulimu gwa Yakuwa (1 Abakkolinso 16:2)
9:15 Oluyimba 84 n’Ebirango
9:20 OMUZANNYO: Danyeri: Yayoleka Okukkiriza Obulamu Bwe Bwonna—Ekitundu 1 (Danyeri 1:1–2:49; 4:1-33)
10:20 ‘Mulwanirire Nnyo Okukkiriza’! (Yuda 3; Engero 14:15; Abaruumi 16:17)
10:55 Oluyimba 38 n’Okusaba