Ssande
“Bwe muba n’okukkiriza . . . , bwe kityo bwe kijja okuba”—Matayo 21:21
KU MAKYA
3:20 Vidiyo ey’Ennyimba
3:30 Oluyimba 137 n’Okusaba
3:40 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Koppa Abakazi Abaalina Okukkiriza okw’Amaanyi!
• Saala (Abebbulaniya 11:11, 12)
• Lakabu (Abebbulaniya 11:31)
• Kaana (1 Samwiri 1:10, 11)
• Omuwala Omuyisirayiri Eyali Yawambibwa (2 Bassekabaka 5:1-3)
• Maliyamu Maama wa Yesu (Lukka 1:28-33, 38)
• Omukazi Omufoyiniikiya (Matayo 15:28)
• Maliza (Yokaana 11:21-24)
• Abakazi ab’Omu Kiseera Kyaffe (Zabbuli 37:25; 119:97, 98)
5:05 Oluyimba 142 n’Ebirango
5:15 OKWOGERA KWA BONNA: ‘Kkiririza mu Mawulire Amalungi’ ( Makko 1:14, 15; Matayo 9:35; Lukka 8:1)
5:45 Oluyimba 22 n’Okuwummulamu
OLWEGGULO
7:35 Vidiyo ey’Ennyimba
7:45 Oluyimba 126
7:50 OMUZANNYO: Danyeri: Yayoleka Okukkiriza Obulamu Bwe Bwonna—Ekitundu 2 (Danyeri 5:1–6:28; 10:1–12:13)
8:40 Oluyimba 150 n’Ebirango
8:45 Okukkiriza kw’Olina ka Kukufuule wa Maanyi! (Danyeri 10:18, 19; Abaruumi 4:18-21)
9:45 Oluyimba Olupya n’Okusaba