Olwomukaaga
“Mufube nnyo okusangibwa nga temuliiko bbala wadde akamogo era nga muli mu mirembe”—2 Peetero 3:14
Ku Makya
3:20 Vidiyo ey’Ennyimba
3:30 Oluyimba 58 n’Okusaba
3:40 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Beera Mwetegefu Okubuulira “Amawulire Amalungi ag’Emirembe”
• Beera Munyiikivu (Abaruumi 1:14, 15)
• Weeteeketeeke Bulungi (2 Timoseewo 2:15)
• Tolonzalonza Kubuulira (Yokaana 4:6, 7, 9, 25, 26)
• Ddayo eri Abo Abaalaga Okusiima (1 Abakkolinso 3:6)
• Yamba Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana (Abebbulaniya 6:1)
4:40 Abavubuka—Mutambulire mu Kkubo Erinaabayamba Okufuna Emirembe! (Matayo 6:33; Lukka 7:35; Yakobo 1:4)
5:00 Oluyimba 135 n’Ebirango
5:10 VIDIYO: Ebiyambye Baganda Baffe Okuba n’Emirembe Wadde nga . . .
• Bayigganyizibwa
• Balwadde
• Tebali Bulungi mu bya Nfuna
• Bakoseddwa Obutyabaga
5:45 OKUBATIZIBWA: Weeyongere Okutambulira “mu Kkubo ery’Emirembe” (Lukka 1:79; 2 Abakkolinso 4:16-18; 13:11)
6:15 Oluyimba 54 n’Okuwummulamu
Olweggulo
7:35 Vidiyo ey’Ennyimba
7:45 Oluyimba 29
7:50 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: Weewale Ebintu Ebimalawo Emirembe
• Okwewaana (Abeefeso 4:22; 1 Abakkolinso 4:7)
• Obuggya (Abafiripi 2:3, 4)
• Obutali Bwesigwa (Abeefeso 4:25)
• Olugambo (Engero 15:28)
• Obutafuga Busungu (Yakobo 1:19)
8:45 OMUZANNYO: Yakuwa Atukulembera mu Kkubo ery’Emirembe—Ekitundu 1 (Isaaya 48:17, 18)
9:15 Oluyimba 130 n’Ebirango
9:25 OKWOGERA OKWAWUZIDDWAMU: “Noonyanga Emirembe era Ogigoberere” . . .
• Nga Tonyiiga Mangu (Engero 19:11; Omubuulizi 7:9; 1 Peetero 3:11)
• Nga Weetonda (Matayo 5:23, 24; Ebikolwa 23:3-5)
• Ng’Osonyiwa Abalala (Abakkolosaayi 3:13)
• Ng’Okozesa Bulungi Ekirabo eky’Okwogera (Engero 12:18; 18:21)
10:15 Kuuma ‘Emirembe Egitugatta’! (Abeefeso 4:1-6)
10:50 Oluyimba 113 n’Okusaba Okufundikira