LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 6/1 lup. 13-17
  • Kkiririza mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kkiririza mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okunoonya Ezzadde
  • Masiya Alabika!
  • Tendereza Kabaka Masiya!
  • Sigala ng’Okkiririza mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi
  • Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Olulyo lw’Omuntu Byalagulwa mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi
  • Yakuwa Asuubiza Danyeri Empeera ey’Ekitalo
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi Ekikwata ku Kiseera Kyaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Okwawulawo Abasinza ab’Amazima mu Kiseera eky’Enkomerero
    Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Danyeri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 6/1 lup. 13-17

Kkiririza mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi!

“Tweyongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi.”​—2 PEETERO 1:19, NW.

1, 2. Bunnabbi ki obwasooka okuwandiikibwa, era bwaleetewo kibuuzo ki?

YAKUWA ye yali Ensibuko y’obunnabbi obwasooka okuwandiikibwa. Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona, Katonda yagamba omusota: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:1-7, 14, 15) Wandiyiseewo ebyasa n’ebyasa by’emyaka ng’ebigambo ebyo eby’obunnabbi tebinnategeerwa mu bujjuvu.

2 Obunnabbi obwo obwasooka bwawa olulyo lw’omuntu olulwadde essuubi erya nnamaddala. Oluvannyuma, Ebyawandiikibwa byalaga nti Setaani Omulyolyomi ye ‘musota ogw’edda.’ (Okubikkulirwa 12:9) Naye ani eyandibadde Ezzadde lya Katonda eryasuubizibwa?

Okunoonya Ezzadde

3. Abeeri yayoleka atya okukkiriza mu bunnabbi obwasooka?

3 Okwawukana ku kitaawe, Abeeri eyali atya Katonda yakkiririza mu bunnabbi obwasooka. Kirabika nga Abeeri yakitegeera nti kyali kyetaagisa okuyiwa omusaayi okusobola okusonyiyibwa ebibi. Bwe kityo, okukkiriza kwamuleetera okuwaayo ssaddaaka y’ensolo eyasiimibwa Katonda. (Olubereberye 4:2-4) Kyokka Ezzadde eryasuubizibwa lyasigala terimanyiddwa.

4. Katonda yawa Ibulayimu kisuubizo ki, era kyalaga ki ku bikwata ku Zzadde eryasuubizibwa?

4 Nga wayiseewo emyaka nga 2,000 oluvannyuma lw’ekiseera kya Abeeri, Yakuwa yawa jjajja w’okukkiriza Ibulayimu ekisuubizo kino eky’obunnabbi: “Okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n’okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, . . . Era mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.” (Olubereberye 22:17, 18) Ebigambo ebyo byakwataganya Ibulayimu n’okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwasooka. Byalaga nti Ezzadde eryandimazeewo emirimu gya Setaani lyandiyitidde mu lunyiriri lwa Ibulayimu. (1 Yokaana 3:8) “Mu kusuubiza kwa Katonda [Ibulayimu] teyabuusabuusa mu butakkiriza” era bwe kyali eri abajulirwa ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo era ‘abataalaba kutuukirizibwa kwa kisuubizo.’ (Abaruumi 4:20, 21; Abaebbulaniya 11:39) Mu kifo ky’ekyo, baasigala bakkiririza mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi.

5. Ekisuubizo kya Katonda eky’Ezzadde kyatuukirizibwa mu ani, era lwaki oddamu bw’otyo?

5 Omutume Pawulo yamanyisa Ezzadde lya Katonda eryasuubizibwa bwe yawandiika: “Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n’omuzzukulu we. Tayogera nti N’eri abazzukulu, nga bangi, naye ng’omu nti N’eri omuzzukulu wo ye Kristo.” (Abaggalatiya 3:16) Ezzadde amawanga mwe gandiweereddwa omukisa teryatwaliramu zzadde lya Ibulayimu lyonna. Bazzukulu ba mutabani we Isimaeri era ne batabani be abaazaalibwa Ketula tebaayitirwamu kuwa lulyo lw’omuntu mukisa. Ezzadde omwandiyitidde omukisa lyayitira mu mutabani we Isaaka ne muzzukulu we Yakobo. (Olubereberye 21:12; 25:23, 31-34; 27:18-29, 37; 28:14) Yakobo yalaga nti “abantu” bandigondedde Siiro ow’omu kika kya Yuda, naye oluvannyuma Ezzadde lyali lya kuyitira mu lunyiriri lwa Dawudi lwokka. (Olubereberye 49:10; 2 Samwiri 7:12-16) Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baasuubira omuntu omu okujja nga Masiya, oba Kristo. (Yokaana 7:41, 42) Era obunnabbi bwa Katonda obukwata ku Zzadde bwatuukirizibwa mu Mwana we, Yesu Kristo.

Masiya Alabika!

6. (a) Tulina kutegeera tutya obunnabbi bwa ssabbiiti 70? (b) Mu ngeri ki era ddi Yesu bwe ‘yamalawo okusobya’?

6 Nnabbi Danyeri yawandiika obunnabbi obukulu obukwata ku Masiya. Mu mwaka ogusooka ogwa Daliyo Omumeedi, yakitegeera nti ekiseera eky’emyaka 70 ekya Yerusaalemi okubeera amatongo kyali kiri kumpi okuggwaako. (Yeremiya 29:10; Danyeri 9:1-4) Danyeri bwe yali ng’asaba, malayika Gabulyeri yajja n’amutegeeza nti ‘ssabbiiti nsanvu zaali ziragiddwa okumalawo okusobya.’ Masiya yandizikiriziddwa mu makkati ga ssabbiiti eya 70. “Ssabbiiti ensanvu ez’emyaka” zaatandika mu 455 B.C.E., Kabaka wa Buperusi , Alutagizerugizi I, ‘bwe yawa ekiragiro okuddamu okuzimba Yerusaalemi.’ (Danyeri 9:20-27; Moffatt; Nekkemiya 2:1-8) Masiya yandirabise oluvannyuma lwa ssabbiiti 7 era ne ssabbiiti 62. Emyaka gino 483 gyatandika mu 455 B.C.E. ne gikoma mu 29 C.E., Yesu bwe yabatizibwa era Katonda n’amufukako amafuta nga Masiya oba Kristo. (Lukka 3:21, 22) Yesu ‘yamalawo okusobya’ ng’awaayo obulamu bwe ng’ekinunulo mu 33 C.E. (Makko 10:45) Nga nsonga nnungi nnyo ezituleetera okukkiririza mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi!a

7. Nga weeyambisa Ebyawandiikibwa, laga engeri Yesu gye yatuukirizaamu obunnabbi bwa Masiya.

7 Okukkiririza mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi kitusobozesa okutegeera Masiya. Ku bunnabbi obungi obukwata ku Masiya obuli mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, obuwerako abawandiisi b’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani eby’Ekikristaayo baabukwataganya ne Yesu. Okuwaayo ebyokulabirako: Yesu yazaalibwa omukazi embeerera mu Besirekemu. (Isaaya 7:14; Mikka 5:2; Matayo 1:18-23; Lukka 2:4-11) Yayitibwa okuva mu Misiri, era abaana abawere battibwa oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe. (Yeremiya 31:15; Koseya 11:1; Matayo 2:13-18) Yesu yettika obulwadde bwaffe. (Isaaya 53:4; Matayo 8:16, 17) Nga bwe kyalagulwa, yayingira mu Yerusaalemi nga yeebagadde omwana gw’endogoyi. (Zekkaliya 9:9; Yokaana 12:12-15) Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli byatuukirizibwa oluvannyuma lwa Yesu okukomererwa, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye era ne bakuba obululu ku lugoye lwe olw’omunda. (Zabbuli 22:18; Yokaana 19:23, 24) Amagumba ga Yesu obutamenyebwa era n’okuba nti yafumitibwa nakyo kyatuukiriza obunnabbi. (Zabbuli 34:20; Zekkaliya 12:10; Yokaana 19:33-37) Bino byakulabirako bitono eby’obunnabbi obukwata ku Masiya abawandiisi ba Baibuli abaaluŋŋamizibwa Katonda bwe baakwataganya ku Yesu.b

Tendereza Kabaka Masiya!

8. Omukadde Eyaakamala Ennaku Ennyingi y’ani, era obunnabbi obuli mu Danyeri 7:9-14 bwatuukirizibwa butya?

8 Mu mwaka ogwasooka ogwa Kabaka wa Babulooni Berusazza, Yakuwa yawa nnabbi we Danyeri ekirooto n’okwolesebwa okw’enkukunala. Nnabbi yasooka n’alaba ensolo nnya ennene. Malayika wa Katonda yazoogerako nga “bakabaka abana,” bwe kityo n’alaga nti zaali zikiikirira obufuzi kirimaanyi obw’ensi yonna obw’omuddiŋŋanwa. (Danyeri 7:1-8, 17) Danyeri yaddako n’alaba Yakuwa, “Omukadde Eyaakamala Ennaku Ennyingi,” ng’atudde ku ntebe y’obwakabaka ey’ekitiibwa. Yasalira ensolo ezo omusango, n’aziggyako obufuzi era n’azikiriza ensolo ey’okuna. Obufuzi obw’emirembe gyonna obw’okufuga “abantu bonna, amawanga n’ennimi” bwaweebwa ‘eyafaanana ng’omwana w’omuntu.’ (Danyeri 7:9-14) Nga obwo bunnabbi bwa kitalo nnyo obukwata ku kutuuzibwa ku ntebe okwa “omwana w’omuntu” Yesu Kristo, mu ggulu mu mwaka 1914!​—Matayo 16:13.

9, 10. (a) Ebitundu eby’enjawulo eby’ekifaananyi eky’omu kirooto byasonga ku ki? (b) Oyinza otya okunnyonnyola okutuukirizibwa kwa Danyeri 2:44?

9 Danyeri yali akimanyi nti Katonda “aggyawo bakabaka, era [n’]assaawo bakabaka.” (Danyeri 2:21) Ng’akkiririza mu Yakuwa, oyo “Abikkula ebyama,” nnabbi yannyonnyola amakulu g’ekirooto ky’ekifaananyi ekinene ekya Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni. Ebitundu byakyo eby’enjawulo byasonga ku kuyimuka n’okugwa kw’obufuzi kirimaanyi obw’ensi yonna nga Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, Buyonaani, ne Rooma. Era Katonda yakozesa Danyeri okutegeeza ebyandibaddewo mu nsi okutuukira ddala mu kiseera kyaffe n’okweyongerayo.​—Danyeri 2:24-30.

10 “Mu mirembe gya bakabaka abo,” obunnabbi bwe butyo bwe bwagamba, “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) ‘Ekiseera ekigereke eky’amawanga’ bwe kyaggwaako mu 1914, Katonda yassaawo Obwakabaka obw’omu ggulu wansi wa Kristo. (Lukka 21:24; Okubikkulirwa 12:1-5) Olw’amaanyi ga Katonda, “ejjinja” ly’Obwakabaka bwa Masiya lyatemebwa okuva mu “lusozi” lw’obufuzi bwa Katonda obw’ensi yonna. Ku Kalumagedoni ejjinja eryo lijja kukuba ekifaananyi ekyo likimemettule. Ng’olusozi olutegeeza gavumenti ey’okufga “ensi zonna,” Obwakabaka bwa Masiya bujja kubaawo emirembe gyonna.​—Danyeri 2:35, 45; Okubikkulirwa 16:14, 16.c

11. Okufuusibwa kwa Yesu kwali kusonga ku ki, era okwolesebwa okwo kwakola ki ku Peetero?

11 Ng’ayogera ku bufuzi bwe obw’Obwakabaka, Yesu yagamba abayigirizwa be: “Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n’akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w’omuntu ng’ajja mu bwakabaka bwe.” (Matayo 16:28) Nga wayiseewo ennaku mukaaga, Yesu yatwala Peetero, Yakobo, ne Yokaana ku lusozi olugulumivu gye yafuusibwa mu maaso gaabwe. Ekire ekimasamasa bwe kyabikka abatume, Katonda yagamba: “Ono ye mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.” (Matayo 17:1-9; Makko 9:1-9) Nga kwali kwolesebwa kwa kitalo okw’ekitiibwa ky’Obwakabaka bwa Kristo! Tekyewuunyisa nti Peetero yayogera ku kwolesebwa okwo n’agamba: “N’olwekyo tweyongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi.”​—2 Peetero 1:16-19.d

12. Lwaki kino kye kiseera okwoleka okukkiriza kwaffe mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi?

12 Kya lwatu nga “ekigambo ky’obunnabbi” tekikwata ku bunnabbi bw’omu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya obukwata ku Masiya bwokka naye era kizingiramu n’ebigambo bya Yesu nti alijja “n’amaanyi n’ekitiibwa ekinene.” (Matayo 24:30) Okufuusibwa okwo kwakakasa ekigambo ky’obunnabbi ekikwata ku kujja kwa Kristo okw’ekitiibwa mu buyinza bw’Obwakabaka. Mangu ddala, okubikkulibwa kwe mu kitiibwa kujja kutegeeza okuzikirizibwa kw’abo abatalina kukkiriza n’emikisa eri abo abooleka okukkiriza. (2 Abasessaloniika 1:6-10) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kulaga nti zino ze “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Timoseewo 3:1-5, 16, 17; Matayo 24:3-14) Ng’Omumbowa wa Yakuwa Omukulu, Mikaeri, ng’ono ye Yesu Kristo, mwetegefu okuzikiriza embeera z’ebintu zino mu ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Matayo 24:21; Danyeri 12:1) N’olwekyo, kino kye kiseera okulaga nti tukkiririza mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi.

Sigala ng’Okkiririza mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okukuuma okwagala kwaffe eri Katonda era n’okusigala nga tukyakkiririza mu kigambo kye?

13 Mazima ddala, twasanyuka nnyo lwe twasooka okuyiga ku kutuukirizibwa kw’ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi. Naye okuva ku olwo okukkiriza kwaffe kuddiridde era n’okwagala kwaffe kukendedde? Tetufuukanga ng’Abakristaayo ab’omu Efeso ‘abaaleka okwagala kwe baalina mu kusooka.’ (Okubikkulirwa 2:1-4) Ka tubeere nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, ekyo kiyinza okututuukako singa ‘tetusooka kunoonya Bwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe’ tusobole okutereka eby’obugagga mu ggulu. (Matayo 6:19-21, 31-33) Okunyiikira okwesomesa Baibuli, okwenyigira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa, era n’okunyiikirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka kijja kutuyamba okukuuma okwagala kwaffe eri Yakuwa, Omwana we, era n’eri Ebyawandiikibwa. (Zabbuli 119:105; Makko 13:10; Abaebbulaniya 10:24, 25) Kino nakyo kijja kutusobozesa okusigala nga tukkiririza mu kigambo kya Katonda.​—Zabbuli 106:12.

14. Abakristaayo abaafukibwako amafuta basasulwa batya olw’okukkiririza mu kigambo kya Yakuwa eky’obunnabbi?

14 Ng’ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi bwe kyatuukirizibwa mu biseera ebyayita, tuyinza okukkiririza mu ekyo kye kiragula ku biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, okubeerawo kwa Kristo mu kitiibwa eky’Obwakabaka weekuli kati, era Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali abeesigwa okutuuka okufa balabye okutuukirizibwa kw’ekisuubizo ky’obunnabbi kino: “Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.” (Okubikkulirwa 2:7, 10; 1 Abasessaloniika 4:14-17) Yakuwa awa abatuuka ku buwanguzi bano enkizo ‘ey’okulya ku muti gw’obulamu’ mu “lusuku lwa Katonda” olw’omu ggulu. Mu kuzuukira kwabwe era okuyitira mu Yesu Kristo, bafuna obutafa n’obutavunda obuweebwa Yakuwa, “Kabaka ow’emirembe n’emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu.” (1 Timoseewo 1:17; 1 Abakkolinso 15:50-54; 2 Timoseewo 1:10) Nga kusasulwa kwa maanyi nnyo olw’okwagala okungi kwe baalina eri Katonda era n’okukkiriza okunywevu kwe baalina mu kigambo kye eky’obunnabbi!

15. Baani abaali omusingi gwa “ensi empya,” ogwasimibwa era bannaabwe be baani?

15 Ekiseera kitono oluvannyuma lw’okuzuukizibwa kw’abaafukibwako amafuta abaafa nga beesigwa okubatwala mu ‘lusuku lwa Katonda’ olw’omu ggulu, ensigalira ya Isiraeri ey’eby’omwoyo ku nsi baanunulwa okuva mu “Babulooni Ekinene,” obwakabaka bw’ensi yonna obw’eddini ez’obulimba. (Okubikkulirwa 14:8; Abaggalatiya 6:16) Abo be baafuuka omusingi gwa “ensi empya.” (Okubikkulirwa 21:1) Mu ngeri eyo “ensi” yazaalibwa, era n’ezimbibwamu olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo olugaziye okubuna mu nsi yonna leero. (Isaaya 66:8) Mu lwo, nnamungi w’abantu abalinga endiga, banne ba Isiraeri ey’eby’omwoyo gye beekuluumulira kati, “mu nnaku ez’oluvannyuma.”​—Isaaya 2:2-4; Zekkaliya 8:23; Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 7:9.

Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Olulyo lw’Omuntu Byalagulwa mu Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi

16. Abantu abeesigwa abawagira abaafukibwako amafuta balina ssuubi ki?

16 Abantu abeesigwa abawagira abaafukibwako amafuta balina ssuubi ki? Nabo bakkiririza mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi, era balina essuubi ery’okuyingira mu Lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. (Lukka 23:39-43) Nga bali eyo bajja kunywa okuva mu ‘mugga gw’amazzi g’obulamu’ ogubeesaawo obulamu, era bajja kuwonyezebwa ‘amalagala g’emiti’ egisimbiddwa ku mabbali gaagwo. (Okubikkulirwa 22:1, 2) Bw’oba olina essuubi ng’eryo ery’ekitalo, ka weeyongere okwoleka okwagala okw’amaanyi eri Yakuwa era n’okukkiriza mu kigambo kye eky’obunnabbi. K’obeere mu abo abafuna essanyu ery’ensusso ery’obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.

17. Obulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi bulibaamu mikisa ki?

17 Abantu abatatuukiridde tebasobola kunnyonnyola mu bujjuvu bulamu mu Lusuku lwa Katonda olujja olw’oku nsi, naye ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kituyamba okutegeera emikisa egirindiridde abantu abawulize. Obwakabaka bwa Katonda bwe buliba bufuga awatali kuvuganyizibwa kwonna era nga ne by’ayagala bikolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu, tewali muntu mukambwe​—wadde ensolo​—‘ebirikola akabi oba okuzikiriza.’ (Isaaya 11:9; Matayo 6:9, 10) Abawombeefu balibeera ku nsi, era “banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:11) Abantu abafa enjala tebalibeerawo, kubanga “wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi; ebibala byayo binaayuuganga.” (Zabbuli 72:16) Tewalibaawo kukaaba maziga ga nnaku. Obulwadde buliba tebukyaliwo, era n’okufa tekulibeerawo nate. (Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 21:4) Oyinza okukiteebereza​—nga tewali basawo, ddagala, malwaliro, ebifo awalabirirwa abalwadde b’emitwe, n’okuziika abafu. Nga ssuubi lya kitalo nnyo!

18. (a) Danyeri yakakasibwa ki? (b) Danyeri aliba na ‘mugabo’ ki?

18 N’entaana zijja kufuuka njereere ng’abafu bazuukizibwa. Omusajja omutuukirivu Yobu yalina essuubi ng’eryo. (Yobu 14:14, 15) Era bwe kyali eri nnabbi Danyeri, kubanga malayika wa Yakuwa yamukakasa bw’ati: “Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw’eribaawo: kubanga oliwummula, era oliyimirira [okufuna o]mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.” (Danyeri 12:13) Danyeri yaweereza Katonda n’obwesigwa okutuusa ku nkomerero y’obulamu bwe. Kati yeebase mu kufa, naye ajja ‘kuyimirira’ mu ‘kuzuukira kw’abatuukirivu’ mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Lukka 14:14) Danyeri aliba na ‘mugabo’ ki? Mu kutuukirizibwa kwabwo okukwata ku Lusuku lwa Katonda, obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga nti abantu ba Yakuwa bonna balibeera n’ekifo, era ettaka lirigabanyizibwamu mu ngeri ey’obwenkanya era entegeke obulungi. (Ezeekyeri 47:13–48:35) N’olwekyo, Danyeri ajja kubeera n’ekifo mu Lusuku lwa Katonda, naye omugabo gwe eyo gujja kusingawo ku kufuna obufunyi ettaka. Gujja kuzingiramu ekifo kye mu kigendererwa kya Yakuwa.

19. Kiki ekyetaagisa okufuna obulamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?

19 Ate ggwe n’omugabo gwo? Bw’oba okkiririza mu Kigambo kya Katonda, Baibuli, awatali kubuusabuusa oyaayaanira obulamu mu Lusuku lwa Katonda olw’oku nsi. Oyinza n’okukuba ekifaananyi ng’oli eyo, ng’onyumirwa emikisa emingi egiribaayo, ng’olabirira ensi, era ng’oyaniriza abazuukiziddwa mu bafu. Anti, mu Lusuku lwa Katonda abantu gye basaanidde okubeera. Katonda yatonda abantu ababiri abaasooka okubeera mu kifo ng’ekyo. (Olubereberye 2:7-9) Era ayagala abantu abawulize okubeera mu Lusuku lwe emirembe gyonna. Onneeyisa mu ngeri etuukagana n’Ebyawandiikibwa osobole okubeera mu buwumbi n’obuwumbi bw’abantu abalibeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? Osobola okubeerayo singa oba n’okwagala okwa nnamaddala eri Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, era n’okukkiriza okw’amaanyi mu kigambo kya Katonda eky’obunnabbi.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba essuula 11 eya akatabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy! era ne “Ssabbiiti Ensanvu” mu kitabo Insight on the Scriptures, ebyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

b Laba ekitabo “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial,” empapula 343-4, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

c Laba essuula 4 ne 9 ez’akatabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy!

d Laba ekitundu ekirina omutwe “Ssaayo Omwoyo ku Kigambo kya Katonda eky’Obunnabbi,” ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi aka Apuli 1, 2000.

Wandizzeemu Otya?

• Obunnabbi obwasooka bwe buluwa, era ani yali Ezzadde eryasuubizibwa?

• Obunnabbi obumu obukwata ku Masiya obwatuukirizibwa mu Yesu bwe buluwa?

• Danyeri 2:44, 45 zirituukirizibwa zitya?

• Ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kisonga ku biseera ki eby’omu maaso eby’abantu abawulize?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Osuubira okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share