Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Abajulirwa ba Yakuwa Bakkiriza Okujjanjabibwa n’Ebintu Byonna Ebiggiddwa mu Musaayi?
Eky’okuddamu kiri nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza musaayi. Tukkiririza ddala nti etteeka lya Katonda ku musaayi teriteekwa kukyusibwa okusobola okutuukana n’endowooza ezikyukakyuka. Kyokka, wabaawo ebibuuzo ebippya ebijjawo kubanga omusaayi kati guyinza okwawulibwamu ebitundu bina ebikulu n’obutundutundu okuva mu bitundu ebyo. Mu kusalawo obanga yandibikkiriza, Omukristaayo teyanditunuulidde miganyulo gy’enzijanjaba eyo n’akabi akayinza okubaawo byokka. Yandibadde asinga kufaayo ku ekyo Baibuli ky’egamba n’ekiyinza okutuuka ku nkolagana ye ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.
Ensonga enkulu nnyangu okutegeera. Okusobola okulaba lwaki kiri bwe kityo, weetegereze ebintu ebimu mu Baibuli, ebyafaayo, n’ensonga z’ekisawo.
Yakuwa Katonda yagamba jjajjaffe Nuuwa nti omusaayi guteekwa okutwalibwa ng’ekintu eky’enjawulo. (Olubereberye 9:3, 4) Oluvannyuma, amateeka ga Katonda eri Isiraeri gaayoleka obutukuvu bw’omusaayi: “Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi . . . anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna, [nnaa]teekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya omusaayi.” Bwe yandigaanye okukwata etteeka lya Katonda, Omuisiraeri yandyonoonye abalala; bwe kityo, Katonda yagattako: “[Nna]mmuzikiriza mu bantu be.” (Eby’Abaleevi 17:10) Oluvannyuma, mu lukuŋŋaana mu Yerusaalemi, abatume n’abakadde baalagira nti tuteekwa ‘okwewalanga omusaayi.’ Okukola ekyo kikulu nnyo ng’okwewala obwenzi n’okusinza ebifaananyi.—Ebikolwa 15:28, 29.
“Okwewalanga” kyanditegeezezza ki mu kiseera ekyo? Abakristaayo tebaalyanga musaayi gwa ngeri yonna; era tebaalyanga nnyama ya nsolo etaggiddwamu musaayi. N’ebirala ebitaliibwanga mwe mwali emmere eteekeddwamu omusaayi, nga kaffecce. Okulya omusaayi mu ngeri ezo kyandimenye amateeka ga Katonda.—1 Samwiri 14:32, 33.
Abantu abasinga obungi mu biseera eby’edda tebaafangayo ku ky’okulya omusaayi, nga bwe tuyinza okulaba mu biwandiiko bya Tertullian (eyaliwo mu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu C.E.) Ng’ayanukula eby’obulimba ebyayogerwa nti Abakristaayo baalyanga omusaayi, Tertullian yayogera ku mawanga agattanga omukago nga gakomba ku musaayi. Era yagamba nti “emizannyo bwe gyabangawo mu bisaawe by’emizannyo, [abamu] bakozesanga omusaayi gw’abaalina emisango . . . okubawonya ensimbu.”
Ebikolwa ebyo (wadde Abaruumi abamu baabikolanga olw’obujjanjabi) byali bikyamu eri Abakristaayo: “Tetulya wadde omusaayi gw’ensolo,” bw’atyo Tertullian bwe yawandiika. Abaruumi baakozesanga emmere omuli omusaayi okugezesa obugolokofu bw’Abakristaayo. Tertullian yagattako: “Kati mbabuuza, bwe muba nga muli bakakafu [nti Abakristaayo] bennyinyala omusaayi gw’ensolo, muyinza mutya okulowooza nti bayinza okulya omusaayi gw’abantu?”
Leero, abantu batono nnyo abalowooza nti amateeka ga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna gakwatibwako singa omusawo asemba bateekebwemu omusaayi. Wadde nga Abajulirwa ba Yakuwa twagala okubeera abalamu, tumaliridde okugondera etteeka lya Yakuwa ku musaayi. Kino kitegeeza ki okusinziira ku nzijanjaba y’ekisawo eriwo leero?
Okuteekebwamu omusaayi mu bulambirira bwe kweyongera ennyo oluvannyuma lwa Ssematalo II, Abajulirwa ba Yakuwa baalaba nti ekyo kyali kikontana n’etteeka lya Katonda—era tukyalina endowooza eyo. Naye, obujjanjabi bukyuse nnyo ekiseera bwe kizze kiyitawo. Leero, omusaayi ogusinga obungi teguteekebwa mu bantu mu bulambirira naye bateekebwamu ekimu ku bitundu ebikulu eby’omusaayi: (1) obutofaali obumyufu; (2) obutofaali obweru; (3) platelets; (4) plasma (serum), ekitundu eky’amazzi. Okusinziira ku mbeera y’omulwadde, abasawo bayinza okusalawo okumuwa obutofaali obumyufu, obutofaali obweru, platelets, oba plasma. Okuteeka mu bantu ekimu ku bitundu bino ebikulu kisobozesa omusaayi okugabanyizibwamu gusobole okuweebwa abalwadde bangi. Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti okukkiriza omusaayi mu bulambirira oba ekimu ku bitundu ebyo ebina ebikulu eby’omusaayi kimenya etteeka lya Katonda. Mu butuufu, okunywerera ku nnyimirira eno eyeesigamiziddwa ku Baibuli kibakuumye okuva ku kabi, nga mw’otwalidde n’endwadde gamba ng’ezo ez’ekibumba ne AIDS eziyinza okufunibwa mu musaayi.
Kyokka, okuva omusaayi bwe guyinza okwawulibwamu okusukka ne ku bitundu bino ebikulu, ebibuuzo bijjawo ku butundutundu obwawulibwamu okuva mu bitundu ebikulu eby’omusaayi. Obutundutundu obwo bukozesebwa butya, era Omukristaayo yandirowoozezza ku ki ng’asalawo ku bikwata ku butundutundu obwo?
Omusaayi kintu kya kyewuunyo. Ne plasma—alimu amazzi ebitundu 90 ku buli kikumi—alimu hormones, inorganic salts, enzymes, n’ebiriisa, omulimu minerals ne sukaali. Mu plasma era mulimu albumin, ebiyamba omusaayi okukwata, n’ebintu ebirwanyisa endwadde. Abasawo baawulamu ebintu bino ebiri mu plasma ne babikozesa. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebiyamba omusaayi okukwata biweebwa abo abatera okuvaamu omusaayi. Oba singa kisuubirwa nti omuntu ayinza okufuna obulwadde obumu, abasawo bayinza okumuwa empiso za gamma globulin, aggibwa mu plasma w’abantu abatakwatibwa bulwadde obwo. Ebirala ebiggibwa mu plasma bikozesebwa mu bujjanjabi bw’ekisawo, naye ebyogeddwako waggulu biraga engeri ekitundu ekikulu eky’omusaayi (plasma) gye kiyinza okwawulibwamu obutundutundu.a
Nga plasma bw’ayinza okwawulibwamu obutundutundu obutali bumu, n’ebitundu ebirala ebikulu eby’omusaayi (obutofaali obumyufu, obutofaali obweru, platelets) nabyo biyinza okwawulibwamu obutundutundu obutono. Ng’ekyokulabirako, obutofaali obweru buyinza okuggibwamu ebintu ebikozesebwa okujjanjaba endwadde ezimu ne kookolo. Platelet ziyinza okuggibwamu ebintu ebiyamba okuwonya ebiwundu. Era eddagala eddala eririmu ebintu ebiggiddwa mu musaayi lyeyongera okuvumbulwa. Obujjanjabi ng’obwo tekuba kuteekebwamu bitundu bikulu bya musaayi; naye obutundutundu obuggiddwa mu bitundu ebyo. Abakristaayo bandikkirizza obutundutundu buno mu nzijanjaba y’ekisawo? Tetuyinza kuwa ndowooza yaffe. Baibuli tewa kalonda yenna, n’olwekyo Omukristaayo ateekwa okusalawo ku lulwe mu maaso ga Katonda okusinziira ku muntu we ow’omunda.
Abamu bandigaanye ekintu kyonna ekiggiddwa mu musaayi (wadde obutundutundu bwagwo obusobozesa omuntu okulwanyisa endwadde). Eyo ye ngeri gye bategeeramu ekiragiro kya Katonda ‘okwewalanga omusaayi.’ Bagamba nti etteeka lye eri Isiraeri lya lagira nti omusaayi gwonna oguggiddwa mu kisolo gulina ‘okufukibwa ku ttaka.’ (Ekyamateeka 12:22-24) Lwaki ekyo kikulu? Okusobola okuteekateeka gamma globulin, ebiyamba omusaayi okukwata, n’ebirala, kyetaagisa okukuŋŋaanya omusaayi n’okugwawulamu. N’olwekyo, Abakristaayo abamu bagaana ebintu ng’ebyo, nga bwe bagaana okuteekebwamu omusaayi mu bulambirira oba ekimu ku bitundu byagwo ebikulu. Ennyimirira yaabwe, ey’obwesimbu eyeesigamiziddwa ku muntu waabwe ow’omunda eteekwa okussibwamu ekitiibwa.
Abakristaayo abalala basalawo mu ngeri ya njawulo. Bagaana okussibwamu omusaayi mu bulambirira, obutofaali obumyufu, obutofaali obweru, platelets, oba plasma. Kyokka, bayinza okukkiriza omusawo okubajjanjaba ng’akozesa obutundutundu obuggiddwa mu bitundu ebikulu eby’omusaayi. Ne mu kino wayinza okubaawo enjawulo. Omukristaayo omu ayinza okukkiriza empiso ya gamma globulin, naye ayinza okukkiriza oba obutakkiriza empiso ey’ekintu kyonna ekiggiddwa mu butofaali obumyufu oba obutofaali obweru. Kyokka, okutwalira awamu, kiki ekiyinza okuleetera Abakristaayo abamu okusalawo okukkiriza obutundutundu bw’omusaayi?
“Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu The Watchtower aka Jjuuni 1, 1990, byagamba nti plasma (obutundutundu) buva mu musaayi gw’omukazi ali olubuto ne bugenda mu musaayi gw’omwana ali mu lubuto. Mu ngeri eyo maama alina obutundutundu bw’awa omwana we obumuyamba okulwanyisa endwadde. Obutofaali obumyufu obw’omwana ali mu lubuto bwe butuuka ku nkomerero y’obulamu bwabwo, obutundu bwabwo obutambuza omusaayi bwawulibwamu. Obumu ku butundu obwo bugenda mu maama ne bufulumizibwa mu mubiri. Abakristaayo abamu bayinza okugamba nti okuva obutundutundu bwe buva mu muntu omu okudda mu mulala mu butonde, bayinza okukkiriza obutundutundu okuva mu plasma oba mu butofaali.
Okuva endowooza n’okusalawo okusinziira ku muntu ow’omunda bwe biyinza okwawukana, ekyo kitegeeza nti ensonga si nkulu? Nedda. Nsonga nkulu nnyo. Kyokka, waliwo ekintu ekikulu ekitegeerekeka. Ebyogeddwa waggulu biraga nti Abajulirwa ba Yakuwa bagaana okussibwamu omusaayi mu bulambirira oba ebitundu ebikulu eby’omusaayi. Baibuli eragira Abakristaayo ‘okwewalanga ebiweebwa ebifaananyi n’omusaayi n’obwenzi.’ (Ebikolwa 15:29) Okusukka ku ekyo, bwe kituuka ku butundutundu obw’ebitundu ebikulu, buli Mukristaayo, oluvannyuma lw’okufumiitiriza awamu n’okusaba, ateekwa okusalawo ku lulwe, okusinziira ku muntu we ow’omunda.
Abantu bangi beetegefu okukkiriza obujjanjabi bwonna obuyinza okubaganyula, wadde ng’obujjanjabi obwo bumanyiddwa okuba obw’akabi, nga bwe kiri eri ebintu ebiggibwa mu musaayi. Omukristaayo omwesimbu afuba okubeera n’endowooza etegudde lubege, etakwata ku nsonga za mubiri zokka. Abajulirwa ba Yakuwa basiima obujjanjabi obulungi obw’ekisawo, era bafumiitiriza ku kabi n’emiganyulo egy’obujjanjabi bwonna. Kyokka, bwe kituuka ku bintu ebiggiddwa mu musaayi, bafaayo nnyo ku ekyo Katonda ky’agamba n’enkolagana yaabwe n’oyo Atuwa Obulamu.—Zabbuli 36:9.
Nga kiba kirungi nnyo Omukristaayo okubeera n’obugumu ng’obw’omuwandiisi wa Zabbuli eyawandiika: “Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n’ekitiibwa: tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza. Ai Mukama . . . , alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.”—Zabbuli 84:11, 12.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu The Watchtower aka Jjuuni 15, 1978, n’aka Okitobba 1, 1994. Kampuni z’eddagala zivumbudde ebintu ebitaggiddwa mu musaayi naye ebiyinza okuweebwa mu kifo ky’obutundutundu bw’omusaayi obumu obwakozesebwanga mu biseera ebyayita.
[Akasanduuko akali ku lupapula 31]
EBIBUUZO EBIYINZA OKUBUUZIBWA OMUSAWO
Bw’oba ow’okulongoosebwa oba okujjanjabibwa n’ekintu ekirimu omusaayi, buuza:
Abasawo bonna bamanyi nti, ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, ssikiriza kuteekebwamu musaayi (omusaayi mu bulambirira, obutofaali obumyufu, obutofaali obweru, platelets, oba blood plasma) mu mbeera yonna?
Singa eddagala lyonna erigambibwa okumpeebwa libaamu blood plasma, obutofaali obumyufu oba obweru, oba platelets, buuza:
Eddagala likoleddwa okuva mu kimu ku bitundu ebina ebikulu eby’omusaayi? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okunnyonnyola ebiri mu ddagala eryo?
Eddagala lino eriggiddwa mu musaayi linaakozesebwa kwenkana wa, era mu ngeri ki?
Singa omuntu wange ow’omunda anzikiriza okukkiriza akatundutundu konna, kabi ki ak’ekisawo akayinza okuvaamu?
Singa omuntu wange ow’omunda tanzikkiriza kukkiriza katundutundu ako, bujjanjabi ki obulala obuyinza okukozesebwa?
Nga mazze okulowooza ku nsonga eno, ddi lwe nnyinza okubategeeza kye nsazeewo?