Obulombolombo Obukyamu Bufuga Obulamu Bwo?
OBULOMBOLOMBO obukyamu busangibwa mu nsi yonna. Oluusi bukwataganyizibwa n’eby’obuwangwa, ate awalala abamu babutwala ng’ekintu ekinyumisa obulamu. Mu nsi z’Abazungu, obulombolombo obukyamu abantu tebabugenderako nnyo. Naye mu bitundu ebirala, gamba nga mu Afirika, abantu babugenderako nnyo.
Eby’obuwangwa ebisinga mu Afirika byesigamye ku bulombolombo obukyamu. Firimu, programu za rediyo, n’ebitabo bitera okubaamu ebyekuusa ku bintu ng’obufuusa, okusinza emyoyo gya bajjajja, n’okukozesa yirizi. Lwaki abantu bagendera nnyo ku bulombolombo obukyamu, era busibuka wa?
Obulombolombo Obukyamu Busibuka Wa?
Obulombolombo obukyamu obusinga busibuka mu kutya myoyo gy’abafu oba emyoyo egy’ekika ekirala kyonna. Abagendera ku ndowooza zino, batwala buli kintu ekibaawo ng’akabonero akava eri emyoyo egyo, nga gigezaako okutiisatiisa, okulabula, oba okuwa abantu emikisa.
Obulombolombo obukyamu era bukwataganyizibwa nnyo n’eby’obujjanjabi. Eri abasinga obungi mu nsi ezikyakula, eddagala ezzungu ligula buwanana era emirundi mingi tebasobola kulifuna. N’olwekyo, bangi banoonya okuwonyezebwa wamu n’obukuumi okuyitira mu busamize era n’okukola emikolo gy’obuwangwa. Era bawulira bulungi okukolwako omusawo ow’ekinnansi amanyi eby’obuwangwa bwabwe era ayogera olulimi lwabwe, okusinga omusawo akozesa eddagala ezzungu. Mu ngeri eyo obulombolombo obukyamu busigala nga busimbye amakanda.
Abantu abagendera ku ndowooza enkyamu tebakkiriza nti obulwadde n’obubenje biyinza okujjawo byokka, wabula nti bireetebwawo ebitonde ebiri mu ttwale ery’emyoyo. Abasawo ab’ekinnansi bayinza okugamba nti waliwo ekinyiizizza bajjajja abaafa. Oba abalaguzi bayinza okugamba nti waliwo eyaloze omuntu oyo era nti eyo y’ensonga lwaki obulwadde oba akabenje byabaddewo.
Obulombolombo obukyamu tebufaanagana mu nsi yonna, era busaasaanyizibwa mu ngeri za njawulo, gamba ng’okuyitira mu nfumo ez’edda ne mu mbeera eziba ziriwo. Naye bonna ababugenderako bakkiriza nti wabeerawo omuntu oba ekintu okuva mu twale ery’emyoyo ekiba kyetaaga okuwooyawooya.
Obulombolombo Obukyamu bwa Kabi oba Nedda?
Eri amaka mangi, okuzaala abalongo kuleeta essanyu lya nsusso. Kyokka, abagendera ku ndowooza enkyamu, ekyo bayinza okukitwala ng’akabonero akalina kye kalanga. Mu bitundu ebimu mu Afirika ow’Ebugwanjuba, bangi batwala okuzaalibwa kw’abalongo ng’okuzaalibwa kwa bakatonda, era abalongo basinzibwa. Bakola ebibumbe by’abalongo era ab’omu maka bateekwa okubiwa emmere, ka kibe nga omu ku balongo aba afudde. Mu bitundu ebirala, abantu batwala okuzaalibwa kw’abalongo ng’ekikolimo, abazadde abamu ne batuuka n’okutta omu ku balongo abo. Lwaki? Bakkiriza nti singa abalongo bombi bakula, lumu bajja kutta bazadde baabwe.
Ebyokulabirako nga bino biraga nti wadde obulombolombo obumu buyinza okulabika ng’obutali bwa mutawaana, obulala buyinza okuba obwa kabi ennyo. Ekintu ekitali kya mutawaana kiyinza okutwalibwa ng’eky’akabi ennyo.
Yee, obulombolombo obukyamu ku bwabwo kika kya ddiini. Okusinziira ku kabi akali mu bulombolombo obukyamu, kituufu okwebuuza nti: Ddala ani aganyulwa mu bulombolombo obwo n’ebikolwa ebibwesigamiziddwako?
Ensibuko y’Obulombolombo Obukyamu
Wadde nga waliwo obukakafu bungi, abantu abamu leero tebakkiriza nti Setaani oba emyoyo emibi ddala gye biri. Kyokka, mu biseera by’olutalo, kiba kya kabi nnyo okugaana okukkiriza nti waliwo omulabe gw’oyolekaganye naye, era kino kiyinza okukutuusa mu katyabaga. Kiba kye kimu ne kubikwata ku lutalo olw’eby’omwoyo, kubanga omutume Pawulo yawandiika: ‘Tumeggana n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.’—Abaefeso 6:12.
Wadde nga tetusobola kugiraba, emyoyo emibi gye giri. Baibuli egamba nti omuntu ow’omwoyo atalabika yakozesa omusota okwogera n’omukazi eyasooka, Kaawa, era n’amuleetera okujeemera Katonda, ng’omukugu mu kukyusa amaloboozi bwayinza okulabisa obugologoosi ng’obwogera. (Olubereberye 3:1-5) Baibuli eyita omuntu w’omwoyo oyo “ogusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna.” (Okubikkulirwa 12:9) Setaani oyo, yasobola okusendasenda bamalayika abalala okujeemera Katonda. (Yuda 6) Bamalayika bano ababi baafuukamu balubaale, abalabe ba Katonda.
Yesu n’abatume be baagoba badayimooni okuva ku bantu. (Makko 1:34; Ebikolwa 16:18) Emyoyo gino si be bajjajja abaafa, kubanga abafu “tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Wabula, be bamalayika abajeemu abaabuzaabuzibwa Setaani. Tetulina kukitwala ng’eky’olubalaato okwebuuza oba okugondera emyoyo gino, kubanga okufaananako mukulu waagyo, Setaani Omulyolyomi, ginoonya okutuzikiriza. (1 Peetero 5:8) Ekiruubirirwa kyagyo kwe kuggya abantu bangi nga bwe kisoboka ku Bwakabaka bwa Katonda.
Baibuli eraga obukodyo Setaani ne ba lubaale be bwe bakozesa: “Setaani yeefaananya nga malayika ow’omusana.” (2 Abakkolinso 11:14) Setaani ayagala okutuguumaaza tukkirize nti asobola okutuwa obulamu obusingawo obulungi. N’olwekyo, kiyinza okulabika nti waliwo emiganyulo egireetebwa emyoyo gino emibi. Naye tegiyinza kumalirawo ddala bizibu. (2 Peetero 2:4) Tegiyinza kuwa muntu yenna bulamu butaggwaawo era giri kumpi okuzikirizibwa. (Abaruumi 16:20) Omutonzi waffe ye nsibuko y’obulamu obutaggwaawo n’essanyu erya nnamaddala era ye yekka y’asobola okutukuuma okuva ku myoyo gino emibi.—Yakobo 4:7.
Katonda avumirira okunoonya obuyambi okuyitira mu by’obusamize. (Ekyamateeka 18:10-12; 2 Bassekabaka 21:6) Okwo kuba kwekobaana era kutta mukago n’abalabe ba Katonda! Okulaguza emmunyeenye, okwebuuza ku musawo ow’enkinnansi, oba okwenyigira mu bikolwa ebikubirizibwa obulombolombo obukyamu, kitegeeza nti okkirizza emyoyo emibi okufuga ebyo by’osalawo mu bulamu. Kyenkanankana n’okwegatta ku myoyo emibi mu kujeemera Katonda.
Kisoboka Okufuna Obukuumi Okuva mu Bubi?
Omusajja ayitibwa Ade,a abeera mu nsi eyitibwa Niger, yali asoma Baibuli n’Omujulirwa wa Yakuwa abuulira ekiseera kyonna. Ade yamunnyonnyola lwaki yali alina yirizi mu dduuka lye ng’agamba nti: “Waliwo abalabe bangi.” Eyali amuyigiriza Baibuli yamutegeeza nti Yakuwa ye yekka ayinza okwesigika okuwa omuntu obukuumi obwa nnamaddala. Yamusomera Zabbuli 34:7, awagamba nti: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.” Oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo ebyo Ade yagamba: “Bwe kiba nti ddala Yakuwa asobola okumpa obukuumi, nja kuggyawo yirizi eyo.” Kati, oluvannyuma lw’emyaka, aweereza ng’omukadde era ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Tewali mulabe we n’omu yamukolako kabi.
Baibuli eraga nti bonna ebiseera n’ebitasuubirwa bibagwira bugwizi, ka tube nga tugendera ku ndowooza enkyamu oba nedda. (Omubuulizi 9:11) Naye Yakuwa tatugezesa ng’akozesa ebintu ebibi. (Yakobo 1:13) Okufa n’obutali butuukirivu byava ku kibi kye twasikira ku Adamu. (Abaruumi 5:12) N’olw’ensonga eyo, buli omu ku ffe alwalalwala era n’akola ensobi eziyinza okumutuusa mu kabi. N’olwekyo, kiba kikyamu okugamba nti buli bulwadde oba ebizibu byonna ebijjawo mu bulamu bireetebwawo myoyo emibi. Endowooza eyo ejja kutuleetera buleetezi kwagala kuwooyawooya myoyo egyo mu ngeri emu oba endala.b Bwe tubeera abalwadde, tulina okunoonya obujjanjabi obutuufu, so si kwebuuza ku “mulimba era kitaawe w’obulimba,” Setaani Omulyolyomi. (Yokaana 8:44) Okunoonyereza tekulaga nti abantu ababeera mu nsi ezifuŋŋamyemu obulombolombo obukyamu bawangaala nnyo okusinga abo ababeera mu nsi endala. N’olwekyo, kyeraga bulungi nti okugendera ku ndowooza enkyamu tekiwa muntu mbeera ya bulamu esingawo obulungi.
Katonda wa maanyi okusinga dayimooni yonna, era afaayo ku mbeera y’obulamu bwaffe. “Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.” (1 Peetero 3:12) Musabe akuwe obukuumi n’amagezi. (Engero 15:29; 18:10) Fuba okutegeera Ekigambo kye, Baibuli. Okumanya okutuufu okwa Baibuli bwe bukuumi obusingayo bwe tuyinza okufuna. Kujja kutuyamba okutegeera lwaki ebintu ebibi bibaawo era n’engeri y’okusiimibwamu Katonda Omuyinza w’ebintu byonna.
Emiganyulo Egiva mu Kumanya Katonda
Okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye kwe kutusobozesa okufuna obukuumi obwa nnamaddala. Kyokka, si bwe kiri eri obutamanya n’obulombolombo obukyamu. Era kino kyeyoleka bulungi mu kyokulabirako ky’omusajja ayitibwa Jean, abeera mu Benin. Obulombolombo obukyamu bwali busimbye amakanda mu maka ge. Okusinziira ku bulombolombo bw’eggwanga lye, omukazi bw’azaala omwana ow’obulenzi, alina okubeera mu kasiisira akazimbiddwa mu ngeri ey’enjawulo okumalira ddala ennaku mwenda. Ate bw’azaala ow’obuwala, alina okubeera mu kasiisira ako okumala ennaku musanvu.
Mu 1975, mukyala wa Jean yazaala omwana ow’obulenzi alabika obulungi ennyo, era ne bamutuuma Marc. Okusinziira ku bye baali bayize okuva mu Baibuli, Jean ne mukyala we baali tebaagala kwenyigira mu kintu kyonna ekyekuusa ku myoyo emibi. Naye banditidde, maama w’omwana n’asula mu kasiisira, olw’okupikirizibwa kw’abantu abagendera ku bulombolombo obukyamu? N’akatono! Baagaanira ddala endowooza eyo enkyamu.—Abaruumi 6:16; 2 Abakkolinso 6:14, 15.
Waliwo akabi konna akaatuuka ku maka ga Jean? Emyaka mingi kati giyiseewo, era nga we twogerera bino Marc muweereza mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kye. Ab’omu maka bonna basanyufu nti tebakkiriza kugendera ku ndowooza nkyamu na kwonoona mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo.—1 Abakkolinso 10:21, 22.
Abakristaayo ab’amazima bateekwa okwewala ebikolwa eby’ekizikiza ebyesigamiziddwa ku ndowooza enkyamu ne bakkiriza ekitangaala ky’eby’omwoyo ekiva ewa Omutonzi Yakuwa, n’omwana we Yesu Kristo. Mu ngeri eyo, bayinza okufuna emirembe olw’okumanya nti bakola ekituufu mu maaso ga Katonda.—Yokaana 8:32.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya gakyusiddwa.
b Laba ekitundu ekirina omutwe Does the Devil Make Us Sick? (Omulyolyomi Atulwaza?) mu Watchtower aka Ssebutemba 1, 1999.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Obumu ku Bulombolombo Obukyamu Okwetooloola Ensi
•Okuteeka obusimba mu bbakuli obuti obukozesebwa okulya omuceere kabonero akooleka okufa
•Okulaba ekiwuugulu emisana kireeta ebisiraani
•Omusubbaawa bwe guzikira ku mukolo kitegeeza nti okumpi awo waliwo emyoyo emibi
•Manvuuli okukugwaako ku ttaka kitegeeza nti wajja kubaawo attibwa mu nju
•Okuteeka enkuufiira ku buliri kireeta ebisiraani
•Ebide bwe bivuga kigoba emizimu
•Okufuuwa emisubbaawa egiba ku keeke y’amazaalibwa ne gizikira omulundi gumu kiviirako omuntu oyo by’ayagala okutuukirira
•Olweyo bwe lwesigama ku kitanda kisobozesa emyoyo emibi egirubaamu okuleeta ekisiraani ku kitanda
•Kapa bw’ekusala mu maaso, kitegeeza kisiraani
•Wuuma bw’ekuva mu ngalo n’egwa, kitegeeza nti ojja kufuna omugenyi omusajja
•Ekifaananyi ky’enjovu kireeta emikisa emirungi bwe kiba kitunudde mu luggi
•Bw’oteeka engatto y’embalaasi waggulu w’omulyango, kireeta emikisa emirungi
•Omuzabbibu bwe gulandira ku nnyumba, gugikuuma obutatuukibwako kabi
•Okutambulira wansi w’eddaala kireeta ebisiraani
•Endabirwamu bw’ekwatikako, kireeta ebisiraani okumala emyaka musanvu
•Kaamulali bw’akuyiikako kitegeeza nti ojja kuyomba ne mukwano gwo nfiirabulago
•Omunnyo bwe gukuyiikako kireeta ekisiraani okuleka ng’omansidde ogumu ku kibegabega ekya kkono
•Okuleka entebe ey’olugalaamirizo nga yeesunda kisikiriza ba dayimooni okugituulamu
•Okuleka engatto nga zeevuunise kireeta ebisiraani
•Omuntu bw’afa, amadirisa galina okuggulwa emmeeme esobole okufuluma
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Yasumululwa mu Bufuge bw’Obulombolombo Obukyamu
Abajulirwa ba Yakuwa baali babuulira mu kitundu ekimu mu South Africa. Bwe baako- nkona ku luggi, omukazi eyali ayambadde ebyambalo by’ekisamize yavaayo. Baayagala okugenda, naye omukazi yabalemerako ng’ayagala bamubuulire obubaka bwe baali baleese. Omujulirwa omu ku bo yasoma ekyawandiikibwa ekiri mu Ekyamateeka 18:10-12 okumulaga kiki Baibuli kyeyogera ku busamize. Omusamize yakkiriza okuyiga Baibuli. Yagamba nti singa anaamatizibwa okuyitira mu kusoma Baibuli nti eby’obusamize byali bimenya amateeka ga Yakuwa, yali ajja kubireka.
Bwe yamala okusoma essuula 10 mu katabo Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku Lwa Katonda ku Nsi ng’ajuliza ne Baibuli, yayokya ebintu bye byonna ebyali byekuusa ku busamize era n’atandika okubeerangawo mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Yagenda mu maaso n’agattibwa mu ma- teeka n’omwami we, wadde nga baali bamaze emyaka 17 nga baawukanye. We twogerera bino, bombi Bajulirwa ba Yakuwa ababatize.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
“Omusamize” ng’asuula amagumba wansi okulagula omulwadde ekimuviiriddeko ebizibu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
Okumanya okutuufu okukwata ku Katonda kuwa obukuumi n’essanyu ebya nnamaddala