Mweyongere Okuweereza n’Omwoyo Gumu
“Ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabirire erinnya lya [Yakuwa], okumuweereza n’omwoyo gumu.”—ZEFFANIYA 3:9.
1. Kiki ekikolebwa mu kutuukiriza Zeffaniya 3:9?
KUMPI ennimi nga 6,000 ze zoogerwa mu nsi yonna. Ng’oggyeko ezo, waliwo endala ezizeefaananyiriza ezoogerebwa mu bifo ebimu. Abantu ka babe nga boogera ennimi nnyingi kwenkana wa, Katonda alina ekintu ky’akoze ekyewuunyisa. Asobozesezza abantu yonna gye bali okuyiga okwogera olulimu lumu olulongoofu. Kino kituukiriza ekisuubizo ekyaweebwa okuyitira mu nnabbi Zeffaniya: “Ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabirire erinnya lya [Yakuwa], okumuweereza n’omwoyo gumu.”—Zeffaniya 3:9.
2. “Olulimi olulongoofu” kye ki, era lusobozesezza kukola ki?
2 “Olulimi olulongoofu” ge mazima agakwata ku Katonda agasangibwa mu Kigambo kye Baibuli. Okusingira ddala ge mazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, obujja okutukuza erinnya lye, okugulumiza obufuzi bwe era obujja okuleetera abantu emikisa. (Matayo 6:9, 10) Olw’okuba lwe lulimi lwokka olw’eby’omwoyo olulongoofu oluli mu nsi, lwogerwa abantu aba buli ggwanga na buli kika. Lubasobozesa okuweereza Yakuwa “n’omwoyo gumu.” Mu ngeri eyo, bamuweereza nga bali bumu.
Obusosoze Tebusaanidde Kubeera mu Bantu ba Katonda
3. Kiki ekitusobozesa okuweereza Yakuwa mu bumu?
3 Ng’Abakristaayo, tusiima nnyo obumu obuliwo mu nnimi ennyingi ze twogera. Wadde nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nnimi nnyingi, tuweereza Katonda mu bumu. (Zabbuli 133:1) Kino kisoboka kubanga yonna gye tuli mu nsi, twogera olulimi lumu olulongoofu nga tutendereza Yakuwa.
4. Lwaki obusosoze tebusaanidde kubeera mu bantu ba Katonda?
4 Obusosoze tebusaanidde kubeera mu bantu ba Katonda. Ekyo omutume Peetero yakiraga bulungi bwe yali ng’abuulira mu maka ga Koluneeriyo eyali omukungu mu magye mu mwaka 36 C.E., bwe yagamba: “Ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Okusinziira ku ekyo, ekibiina Ekikristaayo tekisaanidde kubeeramu busosoze oba okuteekawo obubiinabiina.
5. Lwaki kikyamu okutandikawo obubiinabiina mu kibiina?
5 Omuyizi omu ow’omu ttendekero erya waggulu eyakyalako mu Kizimbe ky’Obwakabaka, yagamba: “Amakanisa gatera okusikiriza abantu ab’ekika ekimu oba eggwanga erimu. . . . Naye Abajulirwa ba Yakuwa bonna babadde batudde wamu era tewaliiwo bubiinabiina.” Wadde kiri kityo, abantu abamu ab’omu kibiina ky’e Kkolinso eky’edda, baali batandise okussaawo obubiinabiina. Mu kukola ekyo, baaleetawo enjawukana, baali baziyiza okukola kw’omwoyo omutukuvu kubanga gwe gusobozesa emirembe n’obumu okubaawo. (Abaggalatiya 5:22) Singa tukubiriza obubiinabiina ng’obwo okubaawo mu kibiina, tujja kuba tukugira okukola kw’omwoyo omutukuvu. N’olwekyo, ka tujjukire okubuulirira kw’omutume Pawulo eri ab’omu kibiina ky’e Kkolinso: “Mbeegayirira ab’oluganda, olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mwenna okwogeranga obumu, so okwawukana kulemenga okuba mu mmwe, naye mugattirwenga ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu.” (1 Abakkolinso 1:10) Pawulo era yaggumiza okubeera obumu mu bbaluwa gye yawandiikira Abaefeso.—Abaefeso 4:1-6, 16.
6, 7. Kubuulirira ki Yakobo kwe yawa okukwata ku busosoze, era ebigambo bye bitukwatako bitya?
6 Okuva edda n’edda, kibadde kyetaagisa Abakristaayo obutaba basosoze. (Abaruumi 2:11) Olw’okuba abamu abaali mu kibiina mu kyasa ekyasooka baali balaga nti basinga kwagala bagagga, omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Baganda bange, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ow’ekitiibwa, ate ne muba n’okusosolanga mu bantu. Kubanga bw’ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby’obuyonjo, era n’omwavu ayambadde enziina n’ayingira, nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby’obuyonjo, ne mwogera nti Ggwe tuula wano awalungi, era ne mugamba omwavu nti Ggwe yimirira eri, oba tuula wansi awali akatebe k’ebigere byange; nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abasazi b’ensonga ab’ebirowoozo ebibi?”—Yakobo 2:1-4.
7 Abantu abagagga abataali bakkiriza bwe baagendanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo nga bambadde empeta eza zaabu n’engoye ennungi, n’abaavu nabo ne bagendayo nga bambadde enziina, abagagga baayisibwanga mu ngeri ey’enjawulo. Baaweebwanga entebe mu ‘bifo ebirungi,’ ate bo abaavu baagambibwanga okuyimirira oba okutuula wansi awali ebigere by’omuntu omulala. Naye, Katonda yawaayo Yesu okuba ekinunulo eri abagagga n’abaavu awatali kusosola. (Yobu 34:19; 2 Abakkolinso 5:14) N’olwekyo, bwe tuba twagala okusanyusa Yakuwa era n’okumuweereza n’omwoyo gumu, tetusaanidde kusosola oba ‘okwegomba abantu abamu nga twagala okufuna emiganyulo egyaffe ku bwaffe.’—Yuda 4, 16.
Mwewale Okwemulugunya
8. Kiki ekyaliwo olw’okuba Abaisiraeri beemulugunya?
8 Okusobola okukuuma obumu bwaffe era n’okusiimibwa Katonda, tuteekwa okugoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga.” (Abafiripi 2:14, 15) Abaisiraeri abataalina kukkiriza abaggyibwa mu buddu e Misiri, beemulugunyiza Musa, Alooni, ne Yakuwa Katonda kennyini. Olw’okuba beemulugunya, abasajja bonna okuva ku myaka 20 okugenda waggulu ng’oggyeko Yoswa ne Kalebu awamu n’Abaleevi, tebaayingira mu Nsi Ensuubize, naye baafiira mu ddungu nga batambula olugendo olwo olwamala emyaka 40. (Okubala 14:2, 3, 26-30; 1 Abakkolinso 10:10) Nga kyali kibonerezo kya maanyi nnyo kye baafuna olw’okwemulugunya!
9. Kiki ekyatuuka ku Miryamu olw’okwemulugunya?
9 Kino kiraga ekiyinza okutuuka ku ggwanga lyonna kasita lyemulugunya. Naye ate abantu kinnoomu abeemulugunya? Mwannyina Musa Miryamu ne Alooni beemulugunya: “Mukama yayogera ne Musa yekka? Era teyayogera naffe?” Era ebyawandiikibwa byongerako nti: “Mukama n’abiwulira.” (Okubala 12:1, 2) Kiki ekyavaamu? Kirabika, Miryamu ye yawoma omutwe mu kwemulugunya okwo, era Katonda yamuswaza. Mu ngeri ki? Yakubibwa ebigenge era n’awalirizibwa okubeera ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu okutuusa lwe yalongooka.—Okubala 12:9-15.
10, 11. Okwemulugunya bwe kutaziyizibwa kuyinza kuvaamu ki? Nnyonnyola.
10 Okwemulugunya si kwe kwogera obwogezi ku nsobi eba ekoleddwa. Abo abeemulugunya olutatadde baba bafaayo nnyo ku nneewulira zaabwe oba ku bifo byabwe okusinga okufaayo ku Katonda. Bwe kutaziyizibwa, kuyinza okuleetawo enjawukana mu b’oluganda ab’eby’omwoyo era kuyinza okubalemesa okuweereza Yakuwa n’omwoyo gumu. Kiri kityo kubanga abantu ng’abo batera okwemulugunya nga basuubira abalala okubasaasira.
11 Ng’ekyokulabirako, omuntu omu ayinza okwogera obubi ku ngeri omukadde gy’akubirizaamu ebitundu bye mu kibiina oba engeri gy’akolamu ebintu. Singa tuwuliriza omuntu oyo eyeemulugunya, tuyinza okutandika okulowooza nga bw’alowooza. Tuyinza okuba nga tubadde tetulaba kikyamu kyonna ku ngeri omukadde oyo gy’akolamu ebintu bye okutuusa ng’ensigo eyo embi emaze okutusigibwamu. Ku nkomerero, buli kimu omukadde oyo ky’akola tekijja kutubeerera kirungi, era naffe tuyinza okutandika okwemulugunya. Empisa ng’eno teba nnungi mu kibiina ky’abantu ba Yakuwa.
12. Okwemulugunya kuyinza kukola ki ku nkolagana yaffe ne Katonda?
12 Okwemulugunya abantu abalina omulimu gw’okulunda ekisibo kya Katonda kuyinza okuvaamu okubavuma. Okwemulugunya okw’ekika ekyo oba okuboogerako obubi, kuyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Okuva 22:28) Abavumi abateenenya tebajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda. (1 Abakkolinso 5:11; 6:10) Omuyigirizwa Yuda yayogera ku bantu abaali beemulugunya nga ‘bagaana obukulu era nga bavuma ab’ebitiibwa,’ oba abasajja abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina. (Yuda 8) Abo abeemulugunya tebaasiimibwa Katonda era kiba kirungi ne twewala okwemulugunya.
13. Lwaki okwemulugunya kwonna si kubi?
13 Kyokka, okwemulugunya kwonna si kubi eri Katonda. Teyabuusa maaso “okukaaba” okw’e Sodomu ne Gomola naye yazikiriza ababi abaali mu bibuga ebyo. (Olubereberye 18:20, 21; 19:24, 25) Waaliwo okwemulugunya mu Yerusaalemi amangu ddala oluvannyuma lwa Pentekoote 33 C.E., “okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Bebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo.” Ekyavaamu, “Ekkumi n’ababiri” baatereeza ensonga eyo era ne balonda “abantu musanvu mu bo abasiimibwa” ne babakwasa omulimu gw’okugaba emmere. (Ebikolwa 6:1-6) Abakadde ab’omu kiseera kino tebalina ‘kuggala matu gaabwe’ singa wabeerawo okwemulugunya okulimu ensa. (Engero 21:13) Ate mu kifo ky’okwogera obubi ku bakkiriza bannaabwe, abakadde balina okubazzaamu amaanyi era n’okubanyweza mu by’omwoyo.—1 Abakkolinso 8:1.
14. Ngeri ki eyeetaagisa okusobola okwewala omwoyo gw’okwemulugunya?
14 Ffenna tulina okwewala okwemulugunya, kubanga omwoyo gw’okwemulugunya gwa kabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo era guyinza okwonoona obumu bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, ka tulekenga omwoyo omutukuvu gubale ebibala eby’okwagala mu ffe. (Abaggalatiya 5:22) Bwe tunaagondera ‘etteeka ery’okwagala’ kijja kutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’omwoyo gumu.—Yakobo 2:8; 1 Abakkolinso 13:4-8; 1 Peetero 4:8.
Weewale Okuwaayiriza
15. Olugambo n’okuwaayiriza osobola kubyawulawo otya?
15 Okuva okwemulugunya bwe kuyinza okuvaamu olugambo olw’akabi, tuteekwa okwegendereza bye twogera. Olugambo kwe kumala googera ku nsonga ezikwata ku bantu abalala. Ate okuwaayiriza kwe kwogera ebitali bituufu ku muntu ng’oyagala okwonoona erinnya lye. Okwogera ng’okwo tekuba kulungi era tekusiimibwa Katonda. N’olwekyo, Katonda yagamba Abaisiraeri: “Tobanga wa nnimi ng’otambulatambula mu bantu bo.”—Eby’Abaleevi 19:16.
16. Kiki Pawulo kye yayogera ku bantu abamu abaali ab’olugambo, era okubuulira kwe kwanditukutteko kutya?
16 Okuva olugambo bwe luyinza okuvaamu okuwaayiriza, Pawulo yavumirira abantu abamu abaali balina olugambo. Oluvannyuma lw’okwogera ku bannamwandu abaali batuukiriza ebisaanyizo by’okuweebwa obuyambi mu kibiina, era yayogera ne ku bannamwandu abaali “abagayaavu, nga batambula okubuna amayumba; naye [nga] tebagayaala bugayaazi, [wabula nga] balina olugambo n’akajanja, nga boogera ebitasaana.” (1 Timoseewo 5:11-15) Singa omukyala Omukristaayo amanya nti alina ekizibu eky’okwogera ebigambo ebiyinza okuvaamu okuwaayiriza, kiba kirungi agoberere okubuulirira kwa Pawulo okukwata ku ‘kubeera omuntu alina ekitiibwa, atawaayiriza.’ (1 Timoseewo 3:11) Era n’abasajja Abakristaayo balina okwewala eŋŋambo embi.—Engero 10:19.
Lekera Awo Okusala Emisango!
17, 18. (a) Kiki Yesu kye yagamba ekikwata ku kusalira baganda baffe emisango? (b) Tusobola tutya okussa mu nkola okubuulirira kwa Yesu okukwata ku kusala emisango?
17 Ne bwe tuba nga tetulina gwe twogeddeko bubi, tusaanidde okufuba ennyo okwewala okusalira abalala emisango. Yesu yavumirira omwoyo ng’ogwo bwe yagamba: “Temusalanga musango, muleme okusalirwa. Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe. Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe? Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo.”—Matayo 7:1-5.
18 Tetulina kugezaako kuggya ‘kantu’ akali mu liiso lya muganda waffe ng’ate ffe bennyini tetuyinza kusala bulungi misango olw’okuba tulina “enjaliiro” ey’akabonero mu liiso lyaffe. Mazima ddala, singa tumanya engeri Katonda bw’ali ow’ekisa, tetujja kugezaako kusalira misango baganda baffe ne bannyinaffe mu by’omwoyo. Tusobola tutya okubategeera nga Kitaffe ow’omu ggulu bw’abategeera? Tekyewuunyisa lwaki Yesu yatulabula ‘okulekera awo okusalira abalala emisango naffe tuleme okusalirwa’! Bwe tumanya nti naffe ffennyini tetutuukiridde, kijja kutukugira okusala emisango Katonda gy’ayinza okutwala ng’egitali gya butuukirivu.
Kinafu Naye kya Kitiibwa
19. Twanditunuulidde tutya bakkiriza bannaffe?
19 Bwe tuba nga tuli bamalirivu okuweereza Katonda n’omwoyo gumu awamu ne bakkiriza bannaffe, tetujja kwewala bwewazi kubasalira misango, naye era tujja kukulembera mu kubawa ekitiibwa. (Abaruumi 12:10) Mu butuufu, tujja kukola ebyo bye baagala so si bye twagala, era tujja kubakolera ebirungi. (Yokaana 13:12-17; 1 Abakkolinso 10:24) Tusobola tutya okubeera n’omwoyo ogwo omulungi? Nga tujjukira nti buli mukkiriza wa mugaso mu maaso ga Yakuwa era nti buli omu ku ffe yeetaaga munne, nga buli kitundu ky’omubiri bwe kyetaaga ekirala.—1 Abakkolinso 12:14-27.
20, 21. Ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 2:20, 21 birina makulu ki gye tuli?
20 Kyo kituufu nti Abakristaayo bibya binafu ebiweereddwa obuweereza obw’ekitiibwa. (2 Abakkolinso 4:7) Bwe tuba ab’okukola omulimu guno omutukuvu mu ngeri eweesa Yakuwa ettendo, tuteekwa okubeera n’enkolagana ennungi naye era n’Omwana we. Bwe tusigala nga tuli ba mpisa nnungi era nga tuli bulungi mu by’omwoyo, tusobola okubeera ebibya eby’ekitiibwa mu maaso ga Katonda. Ku nsonga eno, Pawulo yawandiika: “Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era n’eby’emiti n’eby’ebbumba; n’ebirala eby’ekitiibwa, n’ebirala ebitali bya kitiibwa. Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky’ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.”—2 Timoseewo 2:20, 21.
21 Abantu abateeyisa mu ngeri etuukagana n’ebyo Katonda by’abeetaaza, baba ‘bibya ebitali bya kitiibwa.’ Kyokka, bwe tunaafuba okukola ebyo Katonda by’ayagala, tujja kubeera ‘bibya ebirungi, eby’ekitiibwa oba ebyawuliddwawo olw’obuweereza bwa Yakuwa era ebitegekeddwa okukola buli mulimu omulungi.’ N’olwekyo, tuyinza okwebuuza: ‘Ndi “kibya kya kitiibwa”? Nkubiriza bakkiriza bannange okubeera n’engeri ennungi? Ndi omu ku abo abali mu kibiina abakolera awamu n’omwoyo gumu ne basinza bannange?’
Mweyongere Okuweereza n’Omwoyo Gumu
22. Ekibiina Ekikristaayo kiyinza kugeraageranyizibwa ku ki?
22 Ekibiina Ekikristaayo kiringa amaka. Amaka gayinza okubeeramu okwagala, okuyambagana n’essanyu singa abagalimu bonna basinza Yakuwa. Mu maka muyinza okubeeramu abantu bangi nga buli omu alina engeri ze, naye buli omu ayinza okuba n’ekifo eky’ekitiibwa. N’ekibiina bwe kityo bwe kiri. Wadde nga ffenna tuli ba njawulo era abatatuukiridde, Katonda atusembezezza gy’ali okuyitira mu Kristo. (Yokaana 6:44; 14:6) Yakuwa ne Yesu batwagala era okufaananako amaka agali obumu, naffe twagala okulaga bannaffe okwagala.—1 Yokaana 4:7-11.
23. Kiki kye tusaanidde okujjukira era n’okubeera abamalirivu okukola?
23 Awatali kubuusabuusa, tusuubira ebikolwa eby’obutuukirivu mu kibiina Ekikristaayo. Omutume Pawulo yawandiika: “Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka.” (1 Timoseewo 2:8) N’olwekyo, Pawulo yakwataganya obutukuvu n’okusaba mu “buli kifo” Abakristaayo gye bakuŋŋaanira. Abasajja abatukuvu bokka be basaanidde okukiikirira ekibiina mu kusaba mu lujjudde. Kya lwatu, Katonda atusuubira ffenna okubeera abatukuvu gy’ali era n’eri bannaffe. (Omubuulizi 12:13, 14) N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okukolera awamu, ng’ebitundu by’omubiri. Era ka tukolere wamu ng’ekibiina ky’abantu abasinza Yakuwa. N’ekisinga byonna, ka tujjukire nti twetaaga bannaffe era nti, tujja kusiimibwa Katonda era tujja kufuna emikisa gye singa tweyongera okumuweereza n’omwoyo gumu.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki ekisobozesa abantu ba Yakuwa okumuweereza n’omwoyo gumu?
• Lwaki Abakristaayo beewala obusosoze?
• Lwaki wandigambye nti okwemulugunya kubi?
• Lwaki twanditadde ekitiibwa mu basinza bannaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Peetero yategeera nti “Katonda tasosola”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Omanyi ensonga lwaki Katonda yaswaza Miryamu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Abakristaayo abeesigwa baweereza Yakuwa n’omwoyo gumu