Ani Asaanidde Okufuga Abantu Leero?
Mu 1940, Paalimenti ya Bungereza yali ekubaganya ebirowoozo ku kizibu ekyaliwo mu bukulembeze. David Lloyd George eyali aweza emyaka 77 egy’obukulu eyaliwo nga bakubaganya ebirowoozo, yali atuusizza Bungereza ku buwanguzi mu Ssematalo I, era olw’okuba yali amaze emyaka mingi mu by’obufuzi, kyamusobozesa okwekenneenya emirimu gy’abakungu aba waggulu. Ng’ayogerera mu Lukiiko lwa Paalimenti nga Maayi 8, yagamba: “Eggwanga lyetegefu okwefiiriza ekintu kyonna kasita liba n’omukulembeze, ne Gavumenti eraga obulungi ebiruubirirwa byayo era nga limativu nti abo abafuga bakola kyonna ekisoboka.”
EBIGAMBO bya Lloyd George biraga bulungi nti abantu basuubira abakulembeze baabwe okufuga obulungi era n’okufuba okulongoosa embeera yaabwe. Omu ku bantu abakuba kampeyini z’okunoonya obululu yagamba bw’ati: “Abantu bwe bakuba obululu okulonda omufuzi w’eggwanga, baba bagenda kumukwasa obulamu bwabwe, ebiseera byabwe eby’omu maaso, n’abaana baabwe.” Okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, guba mulimu gwa maanyi nnyo. Lwaki kiri kityo?
Ensi yaffe erimu ebizibu bingi nnyo ebirabika ng’ebitayinza kugonjoolwa. Ng’ekyokulabirako, mufuzi ki omugezi ennyo alaze nti asobola okuggyawo obumenyi bw’amateeka n’entalo? Ani ku bakulembeze abaliwo leero alina obusobozi bw’okuwa buli muntu emmere, amazzi amalungi, n’obujjanjabi? Ani alina amagezi era omumalirivu okukuuma obutonde bw’ensi n’okubuzzaawo? Ani alina obusobozi era n’amaanyi okukakasa nti abantu bonna bawangaala era ne baba basanyufu?
Ebyo Abantu Tebasobola Kubikola
Kyo kituufu nti abakulembeze abamu balina ebintu ebirungi bye bakoze. Kyokka, basobola kufuga kumala myaka mitono ate oluvannyuma ne kyebuuzibwa nti, mufuzi ki annaddako? Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda, omu ku bakulembeze abasingayo obulungi abaali babaddewo, yalowooza ku kibuuzo ekyo. Yawunzika bw’ati: “Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w’enjuba: kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra. Era ani amanyi oba ng’aliba mugezigezi oba musirusiru? [N] aye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, er [a] kwe nnayolesezaamu amagezi wansi w’enjuba. Era n’ekyo butaliimu.”—Omubuulizi 2:18, 19.
Sulemaani yali tamanyi obanga oyo eyandimuddidde mu bigere yandyongedde mu maaso omulimu gwe omulungi oba yandigwonoonye. Eky’okukyusa abafuzi Sulemaani yakiraba ‘ng’obutaliimu.’
Ebiseera ebimu, eryanyi likozesebwa okukyusa abafuzi. Abafuzi abalungi batemuddwa nga bakyali mu bukulembeze. Abraham Lincoln eyali omukulembeze w’Amerika assibwamu ennyo ekitiibwa, lumu yagamba abantu abaali bamuwuliriza: “Nnondeddwa mu kifo eky’obuvunaanyizibwa era mangu nnyo obuvunaanyizibwa obwo bujja kuggwaawo.” Mazima ddala yafugira ekiseera kitono. Wadde nga yakolera abantu ebintu bingi era nga waaliwo ebirala bingi bye yali ayagala okubakolera, Pulezidenti Lincoln yakulembera ensi okumala emyaka ena gyokka. Nga yakatandika ekisanja kye eky’okubiri, yatemulwa omusajja eyali ayagala enkyukakyuka mu bukulembeze.
Wadde n’abakulembeze abalungi ennyo tebasobola kumanya ebiyinza okubatuukako mu biseera eby’omu maaso. Kati olwo, wandibadde obeesiga ku bikwata ku biseera byo eby’omu maaso? Baibuli egamba: “Temwesiganga balangira, newakubadde omwana w’omuntu, omutali buyambi bwonna. Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”—Zabbuli 146:3, 4.
Kiyinza okubeera ekizibu okugoberera amagezi gano ag’obuteesiga bakulembeze. Kyokka, Baibuli tegamba nti, abantu tebasobola kufuna bakulembeze balungi era abayinza okubeerawo ekiseera kyonna. “Laba, kabaka alifuga n’obutuukirivu,” bwe lutyo Isaaya 32:1 bwe lugamba. Yakuwa Katonda eyatonda omuntu, ataddewo “kabaka,” Omukulembeze, anaatera okufuga ensi yonna. Y’ani oyo? Obunnabbi bwa Baibuli bumwogerako.
Oyo Asobola Okufuga Obulungi
Emyaka nga 2,000 egiyise, malayika yagamba omuwala Omuyudaaya ayitibwa Malyamu nti: “Oliba olubuto, olizaala omwana ow’obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe: era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n’emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Lukka 1:31-33) Yee, Yesu ow’e Nazaaleesi ye Kabaka eyayogerwako mu bunnabbi bwa Baibuli.
Ebifaananyi by’eddiini bitera okulaga Yesu ng’omwana omuto, ng’omuntu omunafu oba ayinza okuyisibwa mu ngeri yonna. Ebifaananyi ebyo tebimulaga ng’omuntu agwanidde okuteekebwamu obwesige ng’Omufuzi. Kyokka, Yesu Kristo ayogerwako mu Baibuli, yakula n’afuuka omuntu ow’amaanyi, omunyiikivu era abaako ky’akolawo bwe kiba nga kyetaagisa. Era yalina n’engeri endala ezaamusobozesa okubeera omukulembeze omulungi. (Lukka 2:52) Zino wammanga ze zimu ku ngeri ze ennungi ennyo.
Yesu yakuuma obugolokofu mu ngeri etuukiridde. Olw’okuba yali mwesigwa era nga yeeyisa bulungi, yagamba abalabe be bawe obukakafu obulaga nti mukyamu. Ekyo tebaasobola kukikola. (Yokaana 8:46) Okuyigiriza kwe okulungi ennyo kwaleetera abantu bangi okufuuka abagoberezi be.—Yokaana 7:46; 8:28-30; 12:19.
Yesu yeeweerayo ddala eri Katonda. Yali mumalirivu okumaliriza omulimu Katonda gwe yali amuwadde ne kiba nti tewaaliwo mulabe yenna, k’abe muntu oba dayimooni eyali asobola okumulemesa. Ebikolwa eby’obukambwe tebyamutiisa. (Lukka 4:28-30) Teyaggwaamu maanyi olw’okulumwa enjala oba olw’okukoowa. (Yokaana 4:5-16, 31-34) Wadde nga mikwano gye gyamwabulira, teyava ku kiruubirirwa kye.—Matayo 26:55, 56; Yokaana 18:3-9.
Yesu yali afaayo nnyo ku bantu. Yawa emmere abaali balumwa enjala. (Yokaana 6:10, 11) Yabudaabuda abennyamivu. (Lukka 7:11-15) Yazibula ba muzibe, n’aggula amatu ga bakiggala era n’awonya bonna endwadde. (Matayo 12:22; Lukka 8:43-48; Yokaana 9:1-6) Yazzaamu amaanyi abatume be abaali bakola ennyo. (Yokaana, essuula 13–17) Yali “omusumba omulungi” eyafaangayo ku ndiga ze.—Yokaana 10:11-14.
Yesu yali ayagala nnyo okukola. Yanaaza ebigere by’abatume be okusobola okubayigiriza ekintu ekikulu ennyo. (Yokaana 13:4-15) Ebigere bye byaddugalanga ng’abuulira amawulire amalungi ku makubo g’omu Isiraeri agaali gajjudde enfuufu. (Lukka 8:1) Ne bwe yali ng’ateeseteese okugenda okuwummulako mu kifo ‘eteri bantu,’ yasalawo okuyigiriza abantu abaagenda gy’ali nga bamunoonya. (Makko 6:30-34) Mu ngeri eyo, yateerawo Abakristaayo bonna ekyokulabirako ekirungi.—1 Yokaana 2:6.
Yesu yamaliriza omulimu gwe ku nsi era n’addayo mu ggulu. Olw’obwesigwa bwe, Yakuwa Katonda yamufuula kabaka era n’amuwa obulamu obutayinza kuzikirizibwa. Baibuli eyogera bw’eti ku Yesu eyazuukizibwa: ‘Kristo nga bwe yamala okuzuukizibwa mu bafu takyaddamu kufa; okufa tekukyamufuga.’ (Abaruumi 6:9) Osobola okuba omukakafu nti ye Mukulembeze w’abantu asingayo obulungi. Kristo Yesu bw’anaatandika okufuga ensi yonna mu bujjuvu, kijja kuba tekikyetaagisa kuwa muntu mulala buyinza oba okukyusa obukulembeze. Tajja kuttibwa ng’ali mu buyinza, era by’aliba akoze tebiryonoonebwa muntu mulala. Naye kiki ky’ajja okukola ekinaaganyula abantu?
Omukulembeze Ono Omuppya ky’Alikola
Zabbuli 72, eyogera ku bunnabbi obulaga engeri Kabaka ono atuukiridde era atasobola kufa gy’ajja okufugamu. Mu lunyiriri 7 ne 8, tusoma: “Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo. Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era okuva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z’ensi.” Mu bufuzi bwe obulungi, abantu abanaabeera ku nsi bajja kubeera n’obukuumi ennaku zonna. Ajja kuzikiriza eby’okulwanyisa byonna ebiriwo era ajja kuggya mu mitima gy’abantu okwegomba kwonna okw’okulwana kwe balina. Abantu leero abeeyisa ng’ensolo enkambwe eri baliraanwa baabwe, bajja kuba baakyusa dda engeri zaabwe. (Isaaya 11:1-9) Emirembe gijja kubaawo.
Ate era, Zabbuli 72, olunyiriri 12 okutuuka 14 wagamba bwe wati: “Anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga: n’omwavu atalina mubeezi. Anaasaasiranga omwavu n’omunafu, n’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga. Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n’ettima: n’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.” Omunafu, omwavu n’oyo atalina mubeezi bajja kuba bumu mu ssanyu wansi w’obukulembeze bwa Kabaka Yesu Kristo. Bajja kuba basanyufu obulamu bwabwe bwonna era tebajja kulumizibwa.—Isaaya 35:10.
Olunyiriri 16 lusuubiza: “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” Abantu bukadde na bukadde balumwa enjala mu nsi leero. Eby’obufuzi n’omulugube tebisobozesa mmere kugabanyizibwa mu ngeri ey’obwenkanya leero, era ekyo kiviirako enkuyanja y’abantu, okusingira ddala abaana, okufa enjala. Naye, mu bufuzi bwa Yesu Kristo, ekizibu ekyo tekijja kubaawo. Ensi ejja kubaamu emmere nnyingi ennungi. Abantu bonna bajja kuba nga balya bulungi.
Wandyagadde okubeera mu bukulembeze obwo obulungi? Bwe kiba bwe kityo, tukukubiriza okuyiga ebikwata ku Mukulembeze ali okumpi okufuga ensi yonna. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukuyamba. Ojja kuganyulwa nnyo, kubanga Yakuwa Katonda kennyini ayogera bw’ati ku Mwana we: “N[n]aateeka kabaka wange ku lusozi lwange olutuukuvu Sayuuni.”—Zabbuli 2:6.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
BAVA MANGU MU BUYINZA
Singa omufuzi aleetera abantu b’afuga emirembe n’obutebenkevu, aba mukakafu nti bajja kumussaamu ekitiibwa era bamuwagire. Kyokka, singa wabaawo ensonga ebaleetera okumuggyamu obwesige, omuntu omulala asobola okutwala ekifo kye. Eziddirira ze zimu ku mbeera ezaaviirako abafuzi ab’amaanyi okuggibwa mu buyinza.
Embeera embi ez’obulamu. Ku nkomerero y’ekyasa 18, abatuuze bangi ab’omu Bufalansa baabasasuzanga emisolo mingi kyokka ng’emmere ntono. Embeera eyo yaleetawo Akeegugungo mu Bufalansa mu 1793, era ekyo kyaviirako Kabaka ayitibwa Louis XVI okuttibwa.
Entalo. Ssematalo I yaviirako bakabaka bangi abaali ab’amaanyi okuva mu buyinza. Ng’ekyokulabirako, mu Febwali 1917 ebbula ly’emmere mu kibuga St. Petersburg, eky’omu Russia lyaviirako Akeegugungo okutandika. Okwegugunga okwo kwaviirako Kabaka Nicholas II okumaamulwa mu buyinza era oluvannyuma ne waddawo obufuzi bw’Abakomunisiti. Mu Noovemba 1918, Bugirimaani yali eyagala emirembe, naye ab’Omukago baali tebasobola kulekera awo kulwana okutuusa ng’obukulembeze mu Bigirimaani bumaze okukyusibwa. N’ekyavaamu, Kabaka wa Bugirimaani ayitibwa Wilhelm II, yawalirizibwa okugenda mu buwaŋŋanguse mu Netherlands.
Okwagala enkola endala ey’obufuzi. Mu 1989 amawanga agaali gakola ensi eyali eyitibwa Soviet Union geetongola. Obufuzi obwali bulabika ng’obw’amaanyi bwasasika abatuuze b’omu nsi ezo bwe beesamba enfuga ey’Ekikomunisiti ne bassaawo engeri ez’obufuzi ezitali zimu.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Yesu yaliisa abaali balumwa enjala, yawonya abalwadde, era yateerawo Abakristaayo bonna ekyokulabirako ekirungi
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Lloyd George: Photo by Kurt Hutton/Picture Post/Getty Images