Yakuwa “Ye Mugabi w’Empeera eri Abo Abamunoonya”
“Ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.”—ABAEBBULANIYA 11:6.
1, 2. Biki ebiviirako abaweereza ba Yakuwa abamu okunakuwala?
“MBADDE Mujulirwa wa Yakuwa okumala emyaka nga 30, naye siwulirangako nti ŋŋwanira okuyitibwa Omujulirwa. Wadde nga mbadde nkola nga payoniya era nga nnina enkizo endala ez’enjawulo, tekikyusizza nneewulira yange eyo,” bw’atyo Barbara bw’agamba.a Keith naye alina enneewulira efaananako ng’eyo. Agamba: “Olw’okuba abaweereza ba Katonda basanyufu, emirundi egimu nnawuliranga nti sigwanira kuyitibwa Mujulirwa wa Yakuwa kubanga nze siri musanyufu. Ekyo kyanviirako okulumirizibwa omuntu wange ow’omunda, era embeera yange yeeyongera okuzibuwala.”
2 Abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa ab’omu biseera bino n’ab’omu biseera eby’edda babaddenga bafuna enneewulira ng’ezo. Naawe otera okuzifuna? Kyandiba ng’olina ebizibu bingi ebikumazeeko essanyu, kyokka nga bakkiriza banno balabika nga basanyufu. N’ekivaamu, oyinza okulowooza nti Yakuwa takusiima era nti takufaako. Naye, toyanguyiriza kulowooza bw’otyo. Baibuli etukakasa nti: ‘Yakuwa tanyooma so takyawa nnaku z’oyo anakuwala; era tamukisa maaso ge.’ (Zabbuli 22:24) Ebigambo ebyo eby’obunnabbi ebikwata ku Masiya biraga nti Yakuwa takoma ku kuwulira kusaba kw’abaweereza be abeesigwa kyokka naye era abawa empeera.
3. Lwaki naffe tutuukibwako ebizibu by’ensi eno?
3 Mu nsi y’akakyo kano, abantu bonna nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Yakuwa bafuna ebizibu. Tuli mu nsi efugibwa omulabe wa Yakuwa lukulwe, Setaani Omulyolyomi. (2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 5:19) Olw’okuba tebakuumibwa mu ngeri ya kyamagero, abaweereza ba Yakuwa Setaani b’asinga okwagala okulumba. (Yobu 1:7-12; Okubikkulirwa 2:10) N’olwekyo, tulina ‘okugumiikiriza okubonaabona’ era ‘n’okunyiikira okusaba,’ okutuusa ng’ekiseera kya Katonda ekigere kituuse, nga tuli bakakafu nti Yakuwa atufaako. (Abaruumi 12:12) Tetwandikkirizza bizibu bya nsi kutuleetera kulowooza nti Yakuwa Katonda tatwagala!
Ebyokulabirako by’Abantu ab’Edda Abaagumiikiriza
4. Waayo ebyokulabirako eby’abaweereza ba Yakuwa abaagumiikiriza embeera enzibu.
4 Abaweereza ba Yakuwa ab’edda bangi baalina okugumiikiriza embeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, Kaana yali ‘munakuwavu nnyo’ olw’okuba yali mugumba—ekintu ekyamuleetera okulowooza nti Katonda tamufaako. (1 Samwiri 1:9-11) Kwiini Yezeberi bwe yali anoonya Eriya okumutta, Eriya yatya nnyo era n’asaba Yakuwa nti: “Kinaamala; kaakano, ai Mukama, [nzigyako] obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.” (1 Bassekabaka 19:4) N’omutume Pawulo yalemererwanga okukola ebintu ebimu olw’obutali butuukirivu. Yagamba: “Bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi.” Era yagattako: “Nze nga ndi muntu munaku!”—Abaruumi 7:21-24.
5. (a) Kaana, Eriya ne Pawulo baweebwa batya empeera? (b) Kubudaabuda ki kwe tufuna mu Kigambo kya Katonda nga tufunye ebizibu?
5 Amazima gali nti Kaana, Eriya, ne Pawulo tebaddirira mu kuweereza Yakuwa, era yabawa empeera. (1 Samwiri 1:20; 2:21; 1 Bassekabaka 19:5-18; 2 Timoseewo 4:8) Kyokka, nabo baayolekagana n’ebizibu ebitali bimu, gamba ng’ennaku, n’okutya. N’olwekyo, tekyanditwewuunyisiza singa ebiseera ebimu tunakuwala olw’embeera ezitali zimu. Kati olwo, kiki kye wandikoze singa ebizibu bikuleetera okuwulira nti Yakuwa takwagala? Osobola okubudaabudibwa ng’osoma Ekigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu kitundu ekyayita twalaba ebigambo bya Yesu nti Yakuwa amanyi ‘omuwendo gw’enviiri eziri ku mutwe gwo.’ (Matayo 10:30) Ebigambo ebyo ebizzaamu amaanyi biraga nti Yakuwa afaayo ku buli muweereza we. Ate jjukira ekyokulabirako kya Yesu eky’enkazaluggya. Bwe kiba nti tewali na kamu ku bunyonyi obwo akagwa wansi nga Yakuwa tategedde, lwaki ate teyandifuddeyo ku mbeera yo?
6. Baibuli ebudaabuda etya abo abalowooza nti Katonda tabaagala?
6 Naye, kisoboka ffe abantu abatatuukiridde okusiimibwa Yakuwa Katonda, Omutonzi ow’amaanyi ennyo? Yee kisoboka! Mu butuufu, waliwo ebyawandiikibwa bingi ebitukakasa ensonga eyo. Bwe tubisoma, tusobola okwogera ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba: “Bwe mbeera mu buyinike obungi onkubagiza ne nsanyuka.” (Zabbuli 94:19, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Ka twekenneenye ebimu ku byawandiikibwa ebyo ebibudaabuda ebinaatuyamba okutegeera obulungi nti tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda era nti ajja kutuwa empeera bwe tweyongera okukola by’ayagala.
‘Abantu ba Yakuwa ab’Envuma’
7. Bunnabbi ki obuzzaamu amaanyi Yakuwa bwe yawa eggwanga eryali lyonoonese ng’ayitira mu Malaki?
7 Mu kyasa eky’okutaano B.C.E., Abayudaaya baali boonoonese nnyo mu by’omwoyo. Bakabona baali bawaayo ensolo ezitasaana ku kyoto kya Yakuwa. Abalamuzi baali basala emisango mu ngeri etali ya bwenkanya. Eby’obusamize, okulimba, okukumpanya n’obwenzi byali bicaase nnyo. (Malaki 1:8; 2:9; 3:5) Malaki yawa obunnabbi obuzzaamu amaanyi eri eggwanga lino eryali lyonoonese. Yalaga nti oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yandibalongoosezza era ne bafuuka abantu b’asiima. Tusoma: “Baliba bange, bw’ayogera Mukama w’eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng’omusajja bw’asonyiwa mutabani we ye amuweereza.”—Malaki 3:17.
8. Lwaki Malaki 3:17 lukwata ne ku b’ekibiina ekinene?
8 Mu kiseera kyaffe, obunnabbi bwa Malaki butuukirizibwa ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000, abali mu ggwanga ery’omwoyo. Mazima ddala eggwanga eryo ‘bantu ba Yakuwa ab’envuma.’ (1 Peetero 2:9) Obunnabbi bwa Malaki buzzaamu ‘n’ab’ekibiina ekinene amaanyi abayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru.’ (Okubikkulirwa 7:4, 9) Ab’endiga endala n’ab’ekisibo ekitono, bali ekisibo kimu, wansi w’Omusumba omu, Yesu Kristo.—Yokaana 10:16.
9. Lwaki Yakuwa atwala abantu be ‘ng’ekintu eky’envuma’?
9 Yakuwa atwala atya abo abalondawo okumuweereza? Nga bwe twalabye mu Malaki 3:17, abatwala nga taata omwagazi bw’atwala omwana we. Weetegereze engeri gy’atwalamu abantu be—abayita ‘bantu ba nvuma.’ Enzivuunula ezimu zikozesa ebigambo nga ‘bange,’ ‘ekintu kyange ekiganzi,’ oba ‘ekintu kyange eky’omuwendo.’ Naye, lwaki Yakuwa atwala abamuweereza nga ba muwendo nnyo? Ensonga eri nti, kubanga ye Katonda alaga okusiima. (Abaebbulaniya 6:10) Aba kumpi n’abo abamuweereza n’omutima gwabwe gwonna, era abatwala nga ba muwendo nnyo.
10. Yakuwa akuuma atya abantu be?
10 Olina ekintu ky’otwala nga kya muwendo nnyo? Tofuba okulaba nti kibeera mu mbeera nnungi? Ne Yakuwa bw’atyo bw’akola bwe kituuka ku ‘bantu be ab’envuma.’ Kyo kituufu nti, takugira bantu be kutuukibwako bizibu na butyabaga. (Omubuulizi 9:11) Wadde kiri kityo, Yakuwa ajja kukuuma abaweereza be abeesigwa baleme kutuukibwako kabi mu by’omwoyo. Abawa amaanyi ge beetaaga okusobola okugumiikiriza buli kigezo. (1 Abakkolinso 10:13) N’olw’ensonga eyo, Musa yagamba Abaisiraeri, abaweereza ba Katonda ab’edda nti: ‘Mubeera n’amaanyi, mugume omwoyo, Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe; taabalekenga so taabaabulirenga.’ (Ekyamateeka 31:6) Mazima ddala Yakuwa afaayo ku bantu be. Abatwala nga ‘ba nvuma.’
Yakuwa ‘Omugabi w’Empeera’
11, 12. Okutegeera nti Yakuwa ye Mugabi w’Empeera kituyamba kitya okulekera awo okubuusabuusa oba ng’atufaako?
11 Ekintu ekirala ekiraga nti Yakuwa atwala abaweereza be nga ba muwendo kwe kuba nti abawa empeera. Yagamba bw’ati Abaisiraeri: “Munkeme nakyo, bw’ayogera Mukama w’eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.” (Malaki 3:10) Yakuwa ajja kuwa abaweereza be obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 5:24; Okubikkulirwa 21:4) Ekirabo ekyo ekitenkanika kyoleka nti Yakuwa wa kwagala kungi era nti mugabi. Ate era kyoleka nti abo abalondawo okumuweereza abatwala nga ba muwendo. Bwe tutwala Yakuwa ng’Omugabi w’Empeera, kituyamba okweggyamu okubuusabuusa kwonna obanga ddala tusiimibwa mu maaso ge. Mu butuufu, Yakuwa atukubiriza okumutwala ng’Omugabi w’empeera! Pawulo yawandiika: “Ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.”—Abaebbulaniya 11:6.
12 Kya lwatu, tetuweereza Yakuwa lwa kuba atusuubiza okutuwa empeera, naye tumuweereza lwa kuba tumwagala. Wadde kiri kityo, si kikyamu okukuumira essuubi lyaffe mu birowoozo era tekuba kwerowoozaako. (Abakkolosaayi 3:23, 24) Olw’okuba abaagala era abatwala nga ba muwendo nnyo, Yakuwa awa empeera abo abafuba okumunoonya.
13. Lwaki ekinunulo kye kintu ekisingirayo ddala okulaga nti Yakuwa atwagala?
13 Ekintu ekisingirayo ddala okulaga nti Yakuwa atwala abantu nga ba muwendo kwe kuba nti yabawa ekinunulo. Omutume Yokaana yawandiika: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Olw’okuba Yakuwa yatuwa ekinunulo kya Yesu kiggyawo endowooza egamba nti tetuli ba muwendo mu maaso ge oba nti tatwagala. Okuva Yakuwa bwe yawaayo ekintu eky’omuwendo omungi okutununula, kwe kugamba, Omwana we eyazaalibwa omu yekka, kiraga nti atwagala nnyo.
14. Pawulo yatwala atya ekinunulo?
14 N’olwekyo, bw’owulira nti tolina mugaso fumiitiriza ku kinunulo. Yee, kitwale ng’ekirabo Yakuwa ky’akuwadde. Ekyo omutume Pawulo naye kye yakola. Jjukira bwe yagamba nti: “Nze nga ndi muntu munaku!” Naye ate oluvannyuma yeeyongera n’agamba nti: “Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe,” oyo “eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.” (Abaruumi 7:24, 25; Abaggalatiya 2:20) Mu kwogera bw’atyo, Pawulo yali teyeewaana. Wabula, yali mukakafu nti Yakuwa amutwala nga wa muwendo. Nga Pawulo, naawe wanditutte ekinunulo ng’ekirabo Katonda ky’akuwadde. Yakuwa takoma ku kuba Mulokozi kyokka naye era ye Mugabi w’Empeera.
Weegendereze ‘Akatego’ ka Setaani
15-17. (a) Kiki Omulyolyomi ky’akozesa okumalamu abantu amaanyi? (b) Ebyo ebyatuuka ku Yobu bituzzaamu bitya amaanyi?
15 Kyokka okyayinza okuba ng’ozibuwalirwa okukkiriza nti okubudaabuda okuli mu Kigambo kya Katonda kukukwatako. Oyinza okuba olowooza nti ekirabo ky’obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya balala be bajja okukifuna, era nti ggwe tekikusaanira. Kiki kye wandikoze singa oba n’endowooza ng’eyo?
16 Awatali kubuusabuusa omanyi bulungi okubuulirira kwa Pawulo eri Abaefeso: “Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.” (Abaefeso 6:11) Bwe tulowooza ku butego bwa Setaani, ekintu ekisooka okutujjira mu birowoozo kwe kwagala ebintu n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Ebintu ng’ebyo bitwalirizza abantu ba Katonda bangi mu kiseera kino era nga bwe kyali ne mu biseera eby’edda. Kyokka, tetusaanidde kubuusa maaso katego kalala Setaani k’akozesa—okuleetera abantu okulowooza nti Yakuwa tabaagala.
17 Omulyolyomi mukugu nnyo mu kukozesa engeri eyo ng’agezaako okuggya abantu ku Katonda. Jjukira ebyo Birudaadi bye yagamba Yobu: “Omuntu ayinza atya okuba n’obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi? Laba, n’omwezi tegulina kumasamasa, n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge: Okusinga ennyo omuntu envunyu! N’omwana w’omuntu, olusiriŋŋanyi!” (Yobu 25:4-6; Yokaana 8:44) Osobola okuteebereza engeri ebigambo ebyo gye byamalamu Yobu amaanyi? Tokkiriza Setaani kukumalamu maanyi. Weekuume enkwe ze osobole okufuna amaanyi aganaakuyamba okukola ekituufu. (2 Abakkolinso 2:11) Wadde Yakuwa yanenya Yobu, yamuwa empeera olw’obugumiikiriza bwe ng’amuddizzaawo ebintu byonna bye yafiirwa, emirundi ebiri.—Yobu 42:10.
Yakuwa ‘Asinga Emitima Gyaffe Obukulu’
18, 19. Mu ngeri ki Katonda gy’ali ‘omukulu okusinga emitima gyaffe,’ era lwaki kiyinza okugambibwa nti ‘amanyi byonna’?
18 Kyo kituufu nti, kiyinza okuba ekizibu okweggyamu endowooza enkyamu. Kyokka, omwoyo gwa Yakuwa guyinza okukuyamba okumenya ‘ebigo ebigulumivu ebiziyiza Katonda okumanyibwa.’ (2 Abakkolinso 10:4, 5) Singa otandika okulowooza nti tolina mugaso, fumiitiriza ku bigambo by’omutume Yokaana bino: “Ku kino kwe tunaategeereranga nga tuli ba mazima ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge, mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga [emitima gyaffe obukulu] era ategeera byonna.”—1 Yokaana 3:19, 20.
19 Ebigambo ‘Katonda asinga emitima gyaffe obukulu’ bitegeeza ki? Ebiseera ebimu omutima gwaffe guyinza okutulumiriza naddala bwe tulowooza ku butali butuukirivu bwaffe, oba ensobi zaffe. Oba kiyinza okuba nti embeera gye twakuliramu y’etuleetera okulowooza nti tetusobola kusiimibwa Yakuwa. Omutume Yokaana atukakasa nti Yakuwa asinga emitima gyaffe obukulu. Tatunuulira nsobi zaffe era amanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Ate era, amanyi bulungi ebiruubirirwa byaffe. Dawudi yawandiika bw’ati: “Amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:14) Yee, Yakuwa atumanyi bulungi n’okusinga bwe twemanyi!
‘Engule ey’Obulungi n’Enkuufiira ey’Obwakabaka’
20. Obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku Baisiraeri okuzzibwayo ku butaka bulaga butya engeri Yakuwa gy’atwalamu abaweereza be?
20 Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yawa abantu be essuubi ery’okuddayo ku butaka. Nga bali mu buwambe e Babulooni, abantu bano baali beetaaga okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi! Ng’ayogera ku kiseera lwe bandizzeeyo ku butaka, Yakuwa yagamba: “Oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n’enkuufiira ey’obwakabaka mu mukono gwa Katonda.” (Isaaya 62:3) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yakuwa yawa abantu be ekitiibwa, era n’abalongoosa. Ne mu kiseera kino Yakuwa akoze kye kimu eri Isiraeri ow’omwoyo. Alinga abatadde awagulumivu buli muntu w’asobolera okubalaba n’okubeegomba.
21. Oyinza otya okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa empeera olw’obugumiikiriza bwo?
21 Wadde ng’obunnabbi buno businga kukwata ku baafukibwako amafuta, bulaga nti Yakuwa awa abaweereza be bonna ekitiibwa. N’olw’ekyo, bw’otandika okulowooza nti tosiimibwa Katonda, kijjukire nti, Yakuwa asobola okukufuula omuntu ow’omugaso ‘ng’engule ey’obulungi n’enkuufiira y’obwakabaka,’ wadde nga totuukiridde. N’olwekyo, weeyongere okumusanyusa ng’okola by’ayagala. (Engero 27:11) Bw’onokola bw’otyo, ojja kuba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa empeera olw’obugumiikiriza bwo!
[Obugambo obuli wansi]
a Amanya gakyusiddwa.
Ojjukira?
• Mu ngeri ki gye tuli ‘abantu ba Yakuwa ab’envuma’?
• Lwaki kikulu nnyo okutwala Yakuwa ng’Omugabi w’empeera?
• ‘Katego’ ki Setaani k’akozesa ke tusaanidde okwekuuma?
• Mu ngeri ki Katonda gy’ali ‘omukulu okusinga emitima gyaffe’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Pawulo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Eriya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Kaana
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Ekigambo kya Katonda kirimu ebyawandiikibwa bingi ebibudaabuda