LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 8/1/07 lup. 3-6
  • Enkolagana Ennungi ne Katonda Oyinza Kugifuna Otya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enkolagana Ennungi ne Katonda Oyinza Kugifuna Otya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Endowooza ya Kristo”
  • Engeri y’Okutegeera “Endowooza ya Kristo”
  • Enkolagana ne Katonda ‘n’Ebibala by’Omwoyo’
  • Enkolagana ne Katonda n’Okusaba
  • Enkolagana ne Katonda n’Okubuulira Amawulire Amalungi
  • Enkolagana Yo ne Katonda Eri Etya?
  • Kitegeeza Ki Okuba Omuntu ow’Eby’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Weeyongere Okukula mu by’Omwoyo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Oli Muntu ow’Omubiri oba ow’eby’Omwoyo?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Fuba Okuba n’Endowooza ng’Eya Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 8/1/07 lup. 3-6

Enkolagana Ennungi ne Katonda Oyinza Kugifuna Otya?

OMUTUME Pawulo yawandiika nti “okulowooza kw’omubiri kwe kufa; naye okulowooza kw’omwoyo bwe bulamu n’emirembe.” (Abaruumi 8:6) Ng’akozesa ebigambo ebyo omutume yakiraga nti enkolagana ne Katonda si kye kintu omuntu ky’amala gasalawo nga bw’ayagala. Obulamu bw’omuntu bukwatibwako. Naye omuntu alina enkolagana ne Katonda afuna atya “obulamu n’emirembe”? Okusinziira ku Baibuli, omuntu ng’oyo afuna emirembe kati​—ye kennyini ate ne wakati we ne Katonda​—era ajja kuweebwa ekirabo eky’obulamu obutaggwawo mu biseera eby’omu maaso. (Abaruumi 6:23; Abafiripi 4:7) Tekyewuunyisa nti Yesu yagamba: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’ebyomwoyo”!​—Matayo 5:3, NW.

Okuba nti osoma magazini eno kiraga nti oyagala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda​—era kino kya magezi. Naye olw’okuba buli omu alina endowooza ye ku nsonga eno, oyinza okwebuuza: ‘Enkolagana ennungi ne Katonda ebeera etya? Era omuntu ayinza atya okugifuna?’

“Endowooza ya Kristo”

Ng’oggyeko okulaga obukulu n’emiganyulo egiri mu kuba n’enkolagana ne Katonda, omutume Pawulo alina bingi bye yayogera ku nsonga eyo. Ng’annyonnyola Abakristaayo b’omu kibuga ky’e Kkolinso eky’edda, Pawulo yalaga enjawulo eri wakati w’omuntu atambulira mu kwegomba kw’omubiri, n’oyo atwala ebintu eby’omwoyo nga bya muwendo. Yawandiika: ‘Omuntu ayagala eby’omubiri takkiriza bya mwoyo gwa Katonda kubanga biba bya busirusiru gy’ali.’ Ku luuyi olulala, Pawulo yagamba nti omuntu ayagala eby’omwoyo abeera “n’endowooza ya Kristo.”​—1 Abakkolinso 2:14-16, NW.

Okubeera ‘n’endowooza ya Kristo’ kitegeeza okuba ‘n’okulowooza ng’okwali mu Kristo Yesu.’ (Abaruumi 15:5; Abafiripi 2:5) Mu ngeri endala, omuntu ayagala eby’omwoyo y’oyo alowooza nga Yesu era agoberera ekyokulabirako kye yateekawo. (1 Peetero 2:21; 4:1) Omuntu gy’akoma okuba n’endowooza ng’eya Kristo, gy’akoma okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era n’emikisa gye egy’okufuna “obulamu n’emirembe” gye gikoma okuba emingi.​—Abaruumi 13:14.

Engeri y’Okutegeera “Endowooza ya Kristo”

Kyokka, okusobola okubeera n’endowooza ya Kristo, omuntu alina okusooka okutegeera endowooza eyo. N’olwekyo, omuntu ayagala okufuna enkolagana ne Katonda ky’asookerako kwe kutegeera endowooza ya Kristo. Naye oyinza atya okutegeera endowooza y’omuntu eyali ku nsi emyaka 2,000 egiyise? Mpozzi oyinza okwebuuza nti wajja otya okumanya abantu abaaliwo mu byafaayo by’eggwanga lyo? Oteekwa okuba nga wamala kubasomako. Mu ngeri y’emu, bw’osoma ebyafaayo bya Yesu kikuyamba okutegeera endowooza ye.​—Yokaana 17:3.

Waliwo ebitabo bina biramba omuli ebyafaayo bya Yesu​— Matayo, Makko, Lukka ne Yokaana. Bw’osoma ebitabo bino n’obwegendereza kijja kukuyamba okutegeera endowooza ya Yesu, enneewulira ye, n’ekyamuleetera okukola ebintu bye tumusomako. Singa ofuna akaseera okufumiitiriza ku by’osomye ku Yesu, ojja kumutegeera bulungi awamu n’engeri ze. Wadde nga wafuuka dda omugoberezi wa Kristo, okusoma ebimukwatako n’okubifumiitirizaako kijja kukuyamba ‘okweyongera okukula mu kisa ne mu kumanya Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo.’​—2 Peetero 3:18, NW.

Nga bwe tulowooza ku ekyo, ka twetegereze mu Njiri ebimu ebikwata ku Yesu tulabe lwaki yalina enkolagana ennungi ne Katonda. Oluvannyuma, lowooza ku ngeri gy’oyinza okukoppa ekyokulabirako kye yateekawo.​—Yokaana 13:15.

Enkolagana ne Katonda ‘n’Ebibala by’Omwoyo’

Omuwandiisi w’Enjiri Lukka yagamba nti omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku Yesu ng’abatizibwa era nti Yesu yali ‘ajjudde omwoyo omutukuvu.’ (Lukka 3:21, 22; 4:1) Ne Yesu bw’atyo bwe yali n’abagoberezi be yabalaga obukulu bw’okukulemberwa “omwoyo gwa Katonda.” (Olubereberye 1:2; Lukka 11:9-13) Lwaki ekyo kikulu nnyo? Kubanga omwoyo gwa Katonda gusobola okukyusa endowooza y’omuntu n’efaanana ng’eya Kristo. (Abaruumi 12:1, 2) Omwoyo omutukuvu guyamba omuntu okubala ebibala ‘ng’okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, n’okwegendereza.’ Omuntu okuba n’engeri zino​—Baibuli z’eyita “ebibala by’[o]mwoyo”​—kye kiraga nti alina enkolagana ennungi ne Katonda. (Abaggalatiya 5:22, 23) Mu bimpimpi, omuntu alina enkolagana ennungi ne Katonda y’oyo akulemberwa omwoyo gwa Katonda.

Yesu yayoleka ebibala bino eby’omwoyo mu buweereza bwe bwonna. Naddala yalaga okwagala, ekisa, n’obulungi eri abantu abaatwalibwanga okuba aba wansi. (Matayo 9:36) Ng’ekyokulabirako, omutume Yokaana atubuulira ekyaliwo olumu ng’agamba nti: “[Yesu] bwe yali ng’ayita, n’alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.” Abayigirizwa ba Yesu nabo omusajja oyo baamulaba naye ne bamutwala ng’omwonoonyi. Baabuuza Yesu nti: “Ani eyayonoona, ono oba abazadde be?” Ne baliraanwa b’omusajja oyo baamulabanga naye nga bamumanyi ng’omuntu asabiriza. Baagamba: “Si ye wuuno eyatuulanga ng’asabiriza?” Kyokka, Yesu ye yalaba omusajja oyo nga yeetaaga okuyambibwa. Yayogera n’omusajja oyo omuzibe w’amaaso era n’amuwonya.​—Yokaana 9:1-8.

Ekikolwa kino kikuyigiriza ki ku ndowooza ya Kristo? Ekisooka, Yesu yafaangayo ku bantu aba wansi era ng’abalaga ekisa. Eky’okubiri, yatuukiriranga abalala asobole okubayamba. Ogoberera ekyokulabirako kino Yesu kye yateekawo? Abantu obayisa nga Yesu bwe yabayisa, ng’obayamba okubeera n’obulamu obulungi n’okufuna essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso? Oba otera kuyamba abo aba waggulu bokka aba wansi n’otobafaako? Bw’oba oyamba abantu awatali kusosola, awo oba ogoberera bulungi ekyokulabirako kya Yesu.​—Zabbuli 72:12-14.

Enkolagana ne Katonda n’Okusaba

Ebitabo by’enjiri biraga nti Yesu yateranga nnyo okusaba. (Makko 1:35; Lukka 5:16; 22:41) Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yafunanga ekiseera n’asaba. Omuyigirizwa Matayo yawandiika nti: “Bwe yamala okusiibula ekibiina, n’alinnya ku lusozi yekka okusaba.” (Matayo 14:23) Ebiseera ng’ebyo Yesu bye yamalanga ng’ayogera ne Kitaawe ow’omu ggulu byamuzzangamu nnyo amaanyi. (Matayo 26:36-44) Ne leero abantu abaagala ennyo eby’omwoyo bafuna ekiseera ne boogera ne Katonda olw’okuba bakimanyi nti kino kinyweza enkolagana yaabwe n’Omutonzi era kibayamba okufuna endowooza ng’eya Kristo.

Emirundi mingi Yesu yamalanga ekiseera kiwanvu ng’asaba. (Yokaana 17:1-26) Ng’ekyokulabirako, bwe yali agenda okulonda abatume be 12, Yesu ‘yagenda ku lusozi okusaba: n’akeesa obudde ng’asaba Katonda.’ (Lukka 6:12) Wadde nga tebakeesa budde nga basaba, abo abaagala ennyo eby’omwoyo bakoppa ekyokulabirako kya Yesu. Bwe baba n’ensonga enkulu ze balina okusalawo, basooka kusaba Katonda abawe omwoyo gwe gubayambe okusalawo mu ngeri eneebaganyula mu by’omwoyo.

Bwe yabanga asaba, Yesu era yalaganga ekimuli ku mutima, ekintu naffe kye tusaanidde okukoppa. Ng’awandiika ku ngeri Yesu gye yasabamu ekiro ekyasembayo enkeera alyoke attibwe, Lukka agamba nti: “Bwe yalumizibwa ennyo, ne yeeyongera okusaba ennyo; entuuyo ze ne ziba ng’amatondo g’omusaayi nga gatonnya ku ttaka.” (Lukka 22:44, NW) Si gwe mulundi Yesu gwe yali asoose okusaba ennyo, naye olw’okuba ku luno yali ayolekaganye n’ekigezo ekyasingayo okuba ekya maanyi mu bulamu bwe ku nsi, ‘yeeyongera okusaba ennyo’​—era okusaba kwe kwaddibwamu. (Abaebbulaniya 5:7) Abantu abaagala ennyo eby’omwoyo bakoppa ekyokulabirako kya Yesu. Bwe boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, ‘beeyongera okusaba ennyo’ Katonda okubawa omwoyo omutukuvu gubayambe.

Nga bwe tukirabye nti Yesu yali muntu asaba ennyo, tekyewuunyisa nti n’abayigirizwa be baali baagala nnyo okusaba. N’olwekyo, baamusaba nti: “Mukama waffe, tuyigirize okusaba.” (Lukka 11:1) Mu ngeri y’emu leero, abo abatwala eby’omwoyo ng’ekintu ekikulu era abaagala obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu bakoppa ekyokulabirako kya Yesu mu ngeri gye basabamu Katonda. N’olwekyo enkolagana ne Katonda n’okusaba birina akakwate.

Enkolagana ne Katonda n’Okubuulira Amawulire Amalungi

Mu Njiri ya Makko, waliwo we tusoma ku Yesu ng’awonya abalwadde bangi okutuukira ddala mu kiro. Enkeera ku makya ennyo bwe yali yekka ng’asaba, abatume be ne bajja ne bamugamba nti abantu bangi baali bamunoonya, oboolyawo nga baagala abawonye obulwadde. Kyokka, Yesu yabagamba nti: ‘Tugende awalala mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n’eyo.’ Yayogera ensonga lwaki, ng’agamba nti: “Kubanga ekyo kye nnajjirira.” (Makko 1:32-38; Lukka 4:43) Wadde Yesu yali ayagala okuwonya abantu, okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gwe gwali omulimu gwe omukulu.​—Makko 1:14, 15.

Ne leero, okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda kakyali kabonero kw’otegeerera abo abalina endowooza ya Kristo. Abo bonna abaagala okubeera abagoberezi be, Yesu yabalagira nti: “Kale mugende mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Okugatta ku ekyo, Yesu yagamba nti: “N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Olw’okuba Ekigambo kya Katonda kiraga nti omwoyo omutukuvu gwe gusobozesa omulimu gw’okubuulira okukolebwa, omuntu bw’agukola n’obunyiikivu kiba kiraga nti atwala eby’omwoyo ng’ekintu ekikulu.​—Ebikolwa 1:8.

Okusobola okutuusa obubaka bw’Obwakabaka ku bantu okwetooloola ensi kyetaagisa abantu bangi ate nga bakolera wamu. (Yokaana 17:20, 21) Ng’oggyeko okuba nti abo abakola omulimu guno balina okuba nga batwala eby’omwoyo ng’ekikulu, balina okuba n’enteekateeka ennungi mu ensi yonna. Osobola okwawulawo abantu abagoberera Kristo era ababuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna?

Enkolagana Yo ne Katonda Eri Etya?

Awatali kubuusabuusa, waliwo ebintu ebirala kw’otegeerera omuntu alina enkolagana ennungi ne Katonda. Naye ggwe bwe weekebera okusinziira ku ebyo bye tulabye, oyimiridde otya? Okumanya ekituufu, weebuuze: ‘Nsoma Ekigambo kya Katonda Baibuli obutayosa, era ne nfumiitiriza ku bye nsoma? Njoleka ebibala by’omwoyo mu bulamu bwange? Nsaba nnyo? Njagala okukolagana n’abantu ababuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna?’

Bwe weekebera obulungi kiyinza okukuyamba okulaba enkolagana yo ne Katonda bw’eri. Tukukubiriza okulaba nti okola kyonna ekyetaagisa kati osobole okufuna “obulamu n’emirembe.”​—Abaruumi 8:6; Matayo 7:13, 14; 2 Peetero 1:5-11.

[Akasanduuko​/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]

EBIRAGA ENKOLAGANA ENNUNGI NE KATONDA

◆ Okwagala Ekigambo kya Katonda

◆ Okwoleka ebibala by’omwoyo

◆ Okusaba Katonda obutayosa era mu bwesimbu

◆ Okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share