Okubudaabuda Abalwadde Abayi
“Kyampitirirako bwe nnakimanya nti Maama yali tagenda kuwona. Nnali siyinza kukikkiriza nti mmange gwe nnali njagala ennyo bwe ntyo yali agenda kufa.”—Grace ow’omu Canada.
OKUKIMANYA nti obulwadde omuntu bw’alina bugenda kumutta kinakuwaza nnyo ab’eŋŋanda ze n’ab’emikwano era bayinza n’okubulwa eky’okukola. Abamu bayinza okwebuuza obanga kya magezi okubuulira omuntu obulwadde bwe nnyini obumuluma. Abalala bayinza okuwulira nti tebajja kusobola kugumira kulaba mwagalwa waabwe ng’abonaabona era nga yenna takyesobola. Bangi beeraliikirira nti mu ssaawa y’omulwadde envannyuma, bajja kuba tebamanyi kya kwogera oba kya kukola.
Oyinza kukola ki ng’oyolekaganye n’embeera ng’eyo? Mu kiseera kino ekizibu era eky’ennaku, oyinza otya okubudaabuda omulwadde n’okumulaga ‘omukwano’ ogwa nnamaddala?—Engero 17:17.
Kya mu Butonde Okunakuwala
Kya mu butonde okunakuwala ng’omwagalwa wo akwatiddwa obulwadde obw’amaanyi. N’abasawo abatera okulaba abantu nga bafa, bakwatibwa ennaku bwe baba bajjanjaba abalwadde abayi.
Naawe ojja kukisanga nga kizibu obutanakuwala ng’omwagalwa wo ali mu bulumi. Hosa ow’omu Brazil eyalina muganda we omulwadde ennyo agamba nti: “Kinakuwaza nnyo okulaba omuntu gw’oyagala ng’ali mu bulumi buli kiseera.” Musa, eyali omusajja omwesigwa, bwe yalaba mwannyina ng’akwatiddwa ebigenge, yalaajjana nti: “Muwonye, ai Katonda, nkwegayiridde.”—Okubala 12:12, 13.
Abaagalwa baffe bwe baba abalwadde ennyo kituleetera ennaku kubanga twakolebwa mu kifaananyi kya Yakuwa, Katonda omusaasizi. (Olubereberye 1:27; Isaaya 63:9) Yakuwa awulira atya bw’alaba abantu nga babonaabona? Tulina kye tuyigira ku Yesu kubanga yakoppera ddala engeri za Kitaawe. (Yokaana 14:9) Yesu bwe yalabanga abantu abalwadde, ‘yabakwatirwanga ekisa.’ (Matayo 20:29-34; Makko 1:40, 41) Nga bwe kiragiddwa mu kitundu ekivuddeko mu magazini eno, Yesu yanakuwala ‘n’akaaba amaziga’ bwe yalaba engeri ab’eŋŋanda ne mikwano gya Lazaalo gye baali bayisiddwamu ng’afudde. (Yokaana 11:32-35) Mu butuufu, Baibuli eraga nti okufa mulabe era essuubiza nti mangu ddala obulwadde n’okufa bijja kumalibwawo.—1 Abakkolinso 15:26; Okubikkulirwa 21:3, 4.
Kya bulijjo okwagala okubaako gw’onenya ng’omwagalwa wo alwadde. Naye, Dr. Marta Ortiz eyanoonyereza era n’awandiika ekitabo ekikwata ku kulabirira abantu abalwadde ennyo awa amagezi gano: “Weewale okunenya abalala—bannansi, abasawo, oba gwe kennyini—olw’embeera y’omulwadde wo. Okunenya abalala kyonoona enkolagana yo nabo era kiviirako omulwadde obutalabirirwa nga bwe kisaanira.” Omwagalwa wo bw’alwala era nga kirabika nti agenda kufa, oyinza kukola ki okumugumya?
Ebirowoozo Bisse ku Muntu, so si ku Bulwadde
Ky’olina okusooka okukola kwe kulaba nti olowooza ku mulwadde so si ku ngeri obulwadde gye bumulabisaamu. Kino oyinza kukikola otya? Nnansi omu ayitibwa Sarah agamba nti: “Ntunuulira ebifaananyi omulwadde bye yeekubisa ng’akyali mulamu bulungi. Nteekayo omwoyo ng’ambulira ku bintu by’abaddenga akola mu bulamu. Kino kinnyamba okulowooza ku kiseera kye ng’akyali mulamu so si ku mbeera gy’alimu kati.”
Nnansi omulala ayitibwa Anne-Catherine annyonnyola ekimuyamba obutatunuulira nnyo ngeri mulwadde gy’alabikamu. Agamba nti “Omulwadde mmutunula mu liiso n’endowooza ku kiki kye nnyinza okukola okumuyamba.” Ekitabo ekiyitibwa The Needs of the Dying—A Guide for Bringing Hope, Comfort, and Love to Life’s Final Chapter kigamba nti: “Kyangu okuwulira obubi ennyo ng’omwagalwa wo agudde ku kabenje n’afuna ebisago eby’amaanyi oba ng’alabika bubi nnyo olw’obulwadde. Ekisinga obulungi mu mbeera ng’eyo kwe kumutunula mu liiso ofune ekifaananyi ky’omuntu wo kyennyini wadde nga kati olumbe lumusensebudde.”
Kya lwatu nti omuntu okusobola okukola bw’atyo yeetaaga okuguma. Georges, omukadde Omukristaayo atera okulambula abalwadde abali obubi ennyo agamba nti: “Embeera y’omulwadde k’ebe ng’etiisa etya, ekyo tekirina kutulemesa kumulaga kwagala.” Okulowooza ku muntu okusinga okulowooza ku mbeera gy’alimu kibaganyula mwembi, ggwe n’omwagalwa wo. Yvonne alabirira abaana abalina kookolo agamba nti: “Okukimanya nti osobola okuyamba omulwadde okuwulira nti naye akyali muntu kikuyamba okugumira okumulaba ng’olumbe lumusensebudde.”
Bawulirize
Abantu abamu batya okwogera n’omuntu anaatera okufa ka babe nga bamwagala nnyo. Lwaki? Batya nti bajja kuba tebamanyi kya kwogera. Kyokka, Anne-Catherine eyaakamala okulabirira mukwano gwe omuyi annyonnyola nti kiba kirungi okubeerawo wadde nga tolina ky’oyogedde. Agamba nti: “Ebigambo byokka si bye byetaagisa okubudaabuda omulwadde. Okumutuula okumpi, okumukwata ku mukono, obutasiba maziga—bino byonna biraga nti tufaayo.”
Omwagalwa wo ayinza okuba nga yandyagadde okwogera ekimuli ku mutima. Naye emirundi mingi omulwadde yeewala okwogera ku bintu ng’ebyo bw’akiraba nti abaagalwa be tebaagala kubyogerako. Ab’eŋŋanda n’ab’emikwano nabo bayinza okulowooza nti si kya magezi kwogera ku bikwata ku mulwadde, oboolyawo ne bamukweka n’ebintu ebikwata ku bulwadde bwe. Kabi ki akali mu kukola kino? Omusawo omu ajjanjaba abalwadde abayi agamba nti okukweka omulwadde amazima “kimufiiriza omukisa okwogera ku bulwadde obumuluma, era kiremesa mikwano gye okukola kyonna ekisoboka okumuyamba okugumira obulwadde bwe.” N’olwekyo omulwadde bw’aba ng’ayagadde okwogera ku mbeera gy’alimu ne ku ky’okuba nti ayinza okufa, tekiba kirungi kumulemesa.
Bwe baabanga boolekedde okufa, abaweereza ba Katonda ab’omu biseera eby’edda tebaalonzalonzanga kutegeeza Yakuwa Katonda bibeeraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, bwe yakimanya nti agenda kufa, Kabaka Keezeekiya ow’emyaka 39 yayogera ekyali kimweraliikiriza. (Isaaya 38:9-12, 18-20) Mu ngeri y’emu, abantu abayi tebalina kulemesebwa kwogera ku nnaku gye bawulira olw’okuba banaatera okufa. Bayinza okunakuwala olw’okuba tebakyasobola kutuuka ku bye baagala, gamba ng’okutambulako mu bifo ebitali bimu, okutandika amaka, okulaba bazzukulu baabwe nga bakula, oba okwongera ku biseera bye bamala nga baweereza Katonda. Oba, bayinza okulowooza nti mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda bajja kubeewala nga batya nti tebamanyi kya kukola. (Yobu 19:16-18) Era bayinza okweraliikirira nti bajja kubonaabona, nti ekiseera kijja kutuuka nga tewali kye basobola kwekolera, oba nti bajja kufa nga tewali abafaako.
Anne-Catherine agamba nti: “Kikulu okuleka omulwadde okwogera ekimuli ku mutima awatali kumusala kirimi wadde okumugamba nti tasaanidde kutya. Eyo ye ngeri gy’osobola okumanya ky’alowooza, by’ayagala era n’ebimweraliikiriza.”
Manya Bye Beetaaga
Embeera y’omwagalwa wo embi, oboolyawo nga yeeyongedde okwonooneka olw’eddagala ery’amaanyi erikozesebwa okumujjanjaba, eyinza okukuleetera okwerabira ekintu ekikulu ennyo gy’ali. Omulwadde alina okubaako ebintu ebimu bye yeesalirawo.
Mu nsi ezimu, ab’eŋŋanda bayinza okugezaako okukweka omulwadde ekituufu, ne batuuka n’okusalawo engeri gy’ajja okujjanjabibwa nga ye tamanyi. Ate mu nsi endala, wayinza okubaawo ekizibu ekirala. Ng’ekyokulabirako, nnansi omusajja ayitibwa Jerry agamba nti: “Abagenyi oluusi bayimirira awo kumpi n’omulwadde ne boogera ebimukwatako nga gy’obeera nti taliiwo.” Bino byombi bireetera omulwadde okuwulira nti takyatwalibwa nga muntu.
Okuba n’essuubi kye kintu ekirala kye beetaaga. Mu nsi awali obujjanjabi obulungi, essuubi eryo lyesigama nnyo ku kufuna obujjanjabi obwetaagisa. Michelle, alina nnyina eyaakakwatibwa kookolo emirundi essatu, agamba nti: “Maama bw’aba ayagala okukyusa ku bujjanjabi oba okulaba omusawo omulala, muyambako okunoonyereza. Nkimanyi nti obulwadde bwa maama si bwa kuwona, naye ate saagala kwogera bintu bimumalamu maanyi.”
Watya nga tewali ssuubi nti obulwadde obwo bujja kuwona? Jjukira nti omuntu bw’aba ayolekedde okufa, aba yeetaaga okukyogerako. Georges, omukadde Omukristaayo eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Kikulu omulwadde okukimanya nti ali kumpi kufa. Kino kimuyamba okwetegekera okufa kwe era n’okukola enteekateeka ezeetaagisa.” Okukola bino byonna kiyamba omulwadde okuwulira nti amalirizza by’abadde ayagala okukola era kimumalamu okweraliikirira nti ajja kukaluubiriza abalala.
Kya lwatu nti ebintu nga bino si byangu bya kwogerako. Naye okubyogerako kikuwa akakisa okwogera ku bintu by’olowooza nti bikulu. Omuntu agenda okufa ayinza okwagala okugonjoola enjawukana ezaaliwo emabega, oba okubaako gwe yeetondera. Okwogeraganya okw’engeri eno kuyinza okunyweza omukwano gw’olina n’oyo agenda okufa.
Okubabudaabuda mu Nnaku Zaabwe Ezisembayo
Osobola otya okubudaabuda omuntu anaatera okufa? Dr. Ortiz, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Leka omulwadde asabe by’ayagala. Wuliriza n’obwegendereza. Bwe kiba kisoboka, mukolere ky’ayagala. Ky’asabye bwe kiba tekisoboka, mubuulire amazima.”
Mu kaseera kano, omuntu agenda okufa ayinza okwagala ennyo okwogerako n’abantu b’asinga okwagala. Georges agamba nti: “Yamba omulwadde okwogera nabo, ka kibe nti takyasobola kwogera bingi.” Ne bwe kiba nti boogeredde ku ssimu, kibayamba okuzziŋŋanamu amaanyi n’okusabira awamu. Omukazi ow’omu Canada ayitibwa Christina eyafiirwa abaagalwa be basatu ab’omuddiriŋŋanwa agamba nti: “Essaawa yaabwe ey’okufa gye yakoma okugenda ng’esembera n’abo gye baakoma okwetaaga essaala za Bakristaayo bannaabwe.”
Wandyewaze okukaaba ng’omwagalwa wo akulaba? Nedda. Okukaaba kiwa munno agenda okufa akakisa okukugumya. Ekitabo ekiyitibwa The Needs of the Dying kigamba nti: “Okubudaabudibwa omuntu agenda okufa kikuyamba okuguma, ate naye kimuleetera okuwulira obulungi.” Omulwadde bw’agumya abo ababadde bamulabirira, kimuyamba okuwulira nti naye akyalina ky’asobola okukolera abalala.
Kituufu nti oyinza obutasobola kubeera na mwagalwa wo mu ssaawa esembayo. Naye bw’oba osobola okuba naye mu ddwaliro oba awaka, gezaako okumukwata ku mukono okutuusa lw’assa ogw’enkomerero. Mu kaseera kano akasembayo ofuna akakisa okwogera by’oyinza okuba nga tewasobola kumugamba. Omwagalwa wo ne bw’aba nga takyategeera, beerawo omusiibule omugambe nti omwagala nnyo era nti olina essuubi ery’okuddamu okumulaba ng’azuukidde.—Yobu 14:14, 15; Ebikolwa 24:15.
Bw’okozesa obulungi akaseera kano akasembayo, tojja kuba na kye wejjusa. Mu butuufu, okufumiitiriza ku kaseera ako k’oba omaze ne munno kiyinza okukuzzaamu amaanyi mu biseera eby’omu maaso. Olwo ojja kuba olaze omukwano ogwa nnamaddala mu kiseera ‘eky’obuyinike.’—Engero 17:17.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 25]
Okulowooza ku muntu okusinga okulowooza ku mbeera gy’alimu kibaganyula mwembi, ggwe n’omwagalwa wo
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Engeri y’Okuwaamu Omulwadde Ekitiibwa
Mu nsi nnyingi, waliwo bingi ebikolebwa okulaba nti omulwadde omuyi aweebwa ekitiibwa. Ekiwandiiko ekiraga ebyo omulwadde by’ayagala kiyamba mu kukolera omulwadde ekyo ky’ayagala gamba ng’okumuleka afiire eka oba mu ddwaliro.
Ekiwandiiko ekiraga ekyo omulwadde ky’ayagala kijja kuyamba mu ngeri zino wammanga:
• Okussaawo empuliziganya wakati w’abasawo n’ab’eŋŋanda z’omulwadde
• Ab’eŋŋanda obutakaluubirirwa nga basalawo enzijanjaba omulwadde z’ayagala
• Omulwadde obutaweebwa nzijanjaba eziteetaagisa, eziyinza okumuyisa obubi ennyo, ate nga za ssente nnyingi era nga tazaagala
Ekiwandiiko ekiraga ebyo omulwadde by’ayagala kirina waakiri okubaamu bino wammanga:
• Erinnya ly’oyo gw’okwasizza obuvunaanyizibwa okulaba nti by’oyagala biteekebwa mu nkola
• Enzijanjaba z’ojja okukkiriza oba okugaana singa obulwadde bwo bulabika nga si bwa kuwona
• Bwe kiba kisoboka, wa erinnya ly’omusawo gw’oyagala okukujjanjaba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Lowooza ku muntu bwe yali nga tannalwala so si ku mbeera gy’alimu kati yokka