LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 11/15 lup. 32
  • “Oluyimba lw’Ennyanja” Ekiwandiiko Ekiziba Omuwaatwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Oluyimba lw’Ennyanja” Ekiwandiiko Ekiziba Omuwaatwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • Ekintu eky’Omuwendo Ekyazuulibwa mu Kasasiro
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • A3 Engeri Bayibuli Gye Yatutuukako
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 11/15 lup. 32

“Oluyimba lw’Ennyanja” Ekiwandiiko Ekiziba Omuwaatwa

NGA Maayi 22, 2007, ekitundutundu ky’omuzingo gw’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ogwawandiikibwa mu kyasa ky’omusanvu oba eky’omunaana Embala Eno (E.E.), kyayolesezebwa mu Myuziyamu y’omu Isiraeri mu Yerusaalemi. Ekiwandiiko ekyo kiriko ennyiriri eziri mu Okuva 13:19–16:1. Mu nnyiriri ezo mwe muli n’ezo eziyitibwa “Oluyimba lw’Ennyanja,” nga luno lwe luyimba Abaisiraeri lwe baayimba nga bayise mu Nnyanja Emmyufu mu ngeri ey’ekyamagero. Lwaki okwolesebwa kw’ekiwandiiko ekyo kwali kwa makulu?

Kwali kwa makulu olw’ekiseera ekiwandiiko ekyo mwe kyawandiikirwa. Emizingo gy’Ennyanja Enfu (Dead Sea Scrolls) gyawandiikibwa wakati w’ekyasa ky’okusatu ng’Embala Eno Tennatandika (E.E.T.) n’ekyasooka E.E. Emyaka nga 60 emabega, emizingo egyo bwe gyali teginnazuulibwa, ekiwandiiko ky’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ekiyitibwa Aleppo Codex ekyawandiikibwa mu 930 E.E., kye kyali kisingayo obukadde. Ng’oggyeko ebitundutundu ebitonotono, waali tewannazuulibwayo biwandiiko birala bya Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyawandiikibwa wakati w’ekyasa eky’okubiri n’eky’omwenda.

James S. Snyder, dayirekita wa Myuziyamu y’omu Isiraeri agamba nti: “Ekiwandiiko ky’Oluyimba lw’Ennyanja kiziba omuwaatwa ogubadde wakati w’Emizingo gy’Ennyanja Enfu . . . n’ekiwandiiko ekiyitibwa Aleppo Codex.” Era agamba nti ekiwandiiko ekyo awamu n’ebirala eby’edda “biraga bulungi nti Ebyawandiikibwa bikyali nga bwe byali mu kusooka.”

Kirowoozebwa nti ekitundutundu ky’omuzingo ekyo kye kimu ku biwandiiko ebingi ebyazuulibwa mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya ery’omu Cairo mu Misiri, ku nkomerero y’ekyasa 19. Kyokka, omukuŋŋaanya w’ebiwandiiko by’Olwebbulaniya eyakirina yali tamanyi bukulu bwakyo okutuusa lwe yeebuuza ku muntu abirinako obumanyirivu ng’emyaka gya 1970 ginaatera okuggwako. Mu kiseera ekyo, abakugu beekebejja ekiwandiiko ekyo ne basobola okuteebereza ekiseera mwe kyawandiikirwa, era oluvannyuma ne kiterekebwa okutuusa lwe kyayolesebwa mu Myuziyamu y’omu Isiraeri.

Ng’ayogera ku mugaso gw’ekitundutundu ky’omuzingo kino, Adolfo Roitman alabirira Emizingo gy’Ennyanja Enfu era akulira Myuziyamu y’omu Isiraeri eyitibwa Shrine of the Book agamba nti: “Ekiwandiiko ky’Oluyimba lw’Ennyanja kiraga nti enzivuunula ya Baibuli ey’Abamasoleti yakuumibwa n’obwesimbu okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka. Kyewuunyisa okuba nti Oluyimba lw’Ennyanja lukyali ddala nga bwe lwali mu kyasa eky’omusanvu n’eky’omunaana.”

Baibuli Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, era Yakuwa y’agikuumye n’etakyusibwakyusibwa. N’abo abaakoppololanga Ebyawandiikibwa baabikoppololanga n’obwegendereza. N’olwekyo, tewali kubuusabuusa nti Ebyawandiikibwa bye tulina leero byesigika.

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula  32]

Courtesy of Israel Museum, Jerusalem

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share