LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/1 lup. 14-15
  • ‘Okuwonya mu Ngeri ey’Ekyamagero’ Leero Kuva eri Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Okuwonya mu Ngeri ey’Ekyamagero’ Leero Kuva eri Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri Yesu Gye Yawonyangamu Abantu
  • Amaanyi ‘Agawonya’ Gava Wa?
  • Ensonga Lwaki Yesu n’Abatume Baawonyanga Abantu
  • “Kristo Maanyi ga Katonda”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/1 lup. 14-15

‘Okuwonya mu Ngeri ey’Ekyamagero’ Leero Kuva eri Katonda?

MU NSI ezimu, abantu bagenda okulamaga mu bifo ewagambibwa nti bangi bawoneddeyo endwadde “ezitawona.” Mu nsi endala eriyo abantu abagamba nti balina amaanyi agatali ga bulijjo agawonya endwadde. Ate mu bitundu ebirala enkuŋŋaana zikubibwa okusabira abalwadde era mbu abalema bawona ne bava mu bugaali oba ne basuula emiggo ne batandika okutambula.

Abantu abawonya mu ngeri eyo abasinga ba nzikiriza za njawulo era abamu batera okuyita bannaabwe abakaafiiri, oba abalimba. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, Katonda akola ebyamagero ng’ayitira mu nzikiriza nnyingi ezikontana? Ggwe ate oba Baibuli egamba nti: “Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe.” (1 Abakkolinso 14:33) Ddala, ‘okuwonya mu ngeri ey’ekyamagero’ kuva eri Katonda? Abamu bagamba nti bakozesa maanyi ga Yesu okuwonya. Ka twetegereze engeri Yesu gye yawonyangamu abantu.

Engeri Yesu Gye Yawonyangamu Abantu

Engeri Yesu gye yawonyangamu abantu ya njawulo nnyo ku eyo ay’abo abawonya abantu mu kiseera kino. Ng’ekyokulabirako, Yesu yawonyanga buli eyajjanga gy’ali okumuyamba. Teyatunulanga mu bantu abakuŋŋaanye n’alondamu b’ayagala okuwonya, abasigadde n’abaleka n’endwadde zaabwe. Abantu Yesu be yawonyanga baawoneranga ddala era emirundi egisinga baawonanga mbagirawo. Baibuli egamba nti: ‘Ekibiina kyonna ne kisala amagezi okumukwatako kubanga amaanyi gaamuvangamu ne gabawonya bonna.’​—Lukka 6:19.

Okwawukanako n’abo abawonya abantu leero abatera okugamba nti abo abatawona baba tebalina kukkiriza, Yesu ye yawonya n’abo abaali batannaba kumukkiririzaamu. Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu yagenda eri omusajja eyali muzibe n’amuwonya wadde ng’omusajja oyo yali tamusabye. Oluvannyuma Yesu yamubuuza: “Okkiriza Omwana wa Katonda?” Omusajja oyo yaddamu nti: “Mukama wange, ye ani, mmukkirize?” Yesu yamugamba nti: “Ayogera naawe ye wuuyo.”​—Yokaana 9:1-7, 35-38.

Oboolyawo oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti Yesu okuwonya omuntu kyali tekisinziira ku kuba na kukkiriza, lwaki oluusi yagambanga abo be yabanga awonyezza nti: “Okukkiriza kwo kukuwonyezza”?’ (Lukka 8:48; 17:19; 18:42) Mu kwogera atyo, Yesu yali alaga nti abo abaalaga okukkiriza ne bagenda gy’ali yabawonya, naye abo abataafaayo baafiirwa omukisa ogwo. Abo abaawona tebaawona lwa kukkiriza kwabwe wabula amaanyi ga Katonda ge gaabawonya. Baibuli eyogera bw’eti ku Yesu: ‘Katonda yamufukaako amafuta n’omwoyo omutukuvu n’amaanyi, era yatambulanga ng’akola bulungi, ng’awonya bonna abaajoogebwanga Setaani kubanga Katonda yali naye.’​—Ebikolwa 10:38.

Emirundi egisinga, abo abaagala okuwonyezebwa basabibwa okuwaayo ssente. Kimanyiddwa nti abo abawonya abantu mu ngeri ey’ekyamagero bannakinku mu kusika ssente mu bantu. Kigambibwa nti omu ku bo yasonda doola z’Amerika obukadde 89 mu mwaka gumu okuva mu bantu abalaba programu ze ku ttivi mu nsi yonna. Ebibiina by’eddiini nabyo bifuna ssente nnyingi okuva mu bantu abagenda mu bifo gye basuubira okuwonyezebwa. Okwawukanako n’ekyo, abantu Yesu be yawonya teyabaggyako ssente. Oluusi yabawanga n’emmere. (Matayo 15:30-38) Yesu bwe yalagira abayigirizwa be okugenda okubuulira yabagamba nti: “Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Matayo 10:8) Lwaki enkola y’abo abawonya leero ya njawulo nnyo ku ya Yesu?

Amaanyi ‘Agawonya’ Gava Wa?

Abakugu mu by’obujjanjabi bamaze ebbanga nga beekenneenya ebintu ebikolebwa bannaddiini abagamba nti bawonya abantu. Biki bye bazudde? Okusinziira lupapula lw’amawulire olw’omu London oluyitibwa Daily Telegraph, omusawo omu mu Bungereza eyanoonyereza ku nsonga eno okumala emyaka 20 yagamba nti: “Tewali bukakafu bwonna bulaga nti bannaddiini ddala bawonya abantu mu ngeri ey’ekyamagero.” Kyokka, abantu bangi bagamba nti baawonyezebwa bannaddiini, ebisigala by’abatuukirivu, oba nti baawonera mu bifo ebitukuvu. Kyandiba nti baalimbibwa?

Mu Kwogera Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti abo abeeyita bannaddiini bandimugambye nti: “Mukama waffe, Mukama waffe, . . . tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?” Naye yandibazzeemu nti: “Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby’obujeemu.” (Matayo 7:22, 23) Ng’ayogera ku maanyi abantu ng’abo ge bakozesa, omutume Pawulo yalabula nti: “Naye okujja kw’oyo kuli mu kukola kwa Setaani n’amaanyi gonna n’obubonero n’eby’amagero eby’obulimba, n’okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu.”​—2 Abasessaloniika 2:9, 10.

Ng’oggyeko ekyo, “okuwonya” okulina akakwate n’ebisigalira by’abafu era n’ebifaananyi tekusobola kuba nga kuva eri Katonda. Lwaki nedda? Kubanga Ekigambo kya Katonda kitulagira nti: “Muddukenga okusinza ebifaananyi,” era nti “Mwekuumenga ebifaananyi.” (1 Abakkolinso 10:14; 1 Yokaana 5:21) “Okuwonya” okw’engeri eyo ke kamu ku bukoddyo Omulyolyomi bw’akozesa okulemesa abantu okuyingira mu kusinza okw’amazima. Baibuli egamba nti: “Setaani yeefaananya nga malayika ow’omusana.”​—2 Abakkolinso 11:14.

Ensonga Lwaki Yesu n’Abatume Baawonyanga Abantu

Okuwonya abantu okwogerwako mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani kulaga bulungi nti Yesu n’abatume baali batumiddwa Katonda. (Yokaana 3:2; Abaebbulaniya 2:3, 4) Ebyamagero Yesu bye yakola okuwonya abantu byali biwa obukakafu ku bubaka bwe yabuulira: “Yesu n’abuna Ggaliraaya yonna, ng’abayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira enjiri ey’obwakabaka, era ng’awonya endwadde zonna.” (Matayo 4:23) Ebyamagero Yesu bye yakola​—omwali okuwonya abalwadde, okuliisa nnamungi w’abantu, okukkakkanya omuyaga, ssaako n’okuzuukiza n’abafu​—byalaga ebyo by’alikolera abantu abawulize ng’afuga nga kabaka. Ago mawulire malungi ddala!

Ebyamagero ng’ebyo, oba ebirabo by’omwoyo, byakoma nga Yesu n’abatume be, wamu n’abalala bonna abaaweebwa amaanyi ago, bafudde. Omutume Pawulo yagamba nti: “Oba bunnabbi, bulivaawo; oba nnimi [ezoogerwa mu ngeri ey’ekyamagero], zirikoma; oba [kumanya okuva eri Katonda], kulivaawo.” (1 Abakkolinso 13:8) Lwaki? Bwe byamala okutuukiriza omulimu gwabyo​—okulaga nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa, era nti Katonda yali akolagana na kibiina Ekikristaayo​—ebyamagero ng’ebyo, nga mw’otwalidde n’okuwonya abantu, byali tebikyetaagisa era ‘byavaawo.’

Wadde kiri kityo, ebyamagero Yesu bye yakola okuwonya abantu birina ekintu ekikulu kye bituyigiriza leero. Okusoma n’okukkiririza mu ebyo Yesu bye yayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda kituwa essuubi ery’okubaawo ng’obunnabbi buno butuukirizibwa: “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde”​—Isaaya 33:24; 35:5, 6; Okubikkulirwa 21:4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share