Ekifo eky’Enjawulo Yesu ky’Alina mu Kigendererwa kya Katonda
“Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.”—YOK. 14:6.
1, 2. Lwaki twetaaga okwetegereza ekifo eky’enjawulo Yesu ky’alina mu kigendererwa kya Katonda?
OKUVA edda n’edda, abantu bangi babadde bafuba okuba ab’enjawulo ku balala, naye batono abakisobodde. Mu butuufu, abo abasobodde okulaga nti ddala ba njawulo babale bubazi. Kyokka, ye Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, wa njawulo mu ngeri nnyingi.
2 Lwaki okumanya ekifo kya Yesu eky’enjawulo kikulu nnyo gye tuli? Kikulu nnyo kubanga kizingiramu enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa! Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.” (Yok 14:6; 17:3) Ka twetegereze engeri Yesu gy’ali ow’enjawulo. Ekyo kijja kutuyamba okutegeerera ddala ekifo ky’alina mu kigendererwa kya Katonda.
‘Omwana Eyazaalibwa Omu Yekka’
3, 4. (a) Okuba nti Yesu ye Mwana eyazaalibwa omu yekka kimufuula kitya ow’enjawulo? (b) Yesu yalina kifo ki eky’enjawulo mu kutonda ebintu ebirala byonna?
3 Yesu takoma ku kuba nti ‘mwana wa Katonda,’ nga Setaani bwe yamuyita ng’agezaako okumukema. (Mat. 4:3, 6) Yesu ayitibwa ‘Omwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.’ (Yok. 3:16, 18) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa “eyazaalibwa omu yekka” kitegeeza “ekintu ekyefaanana kyokka,” “ekiri kyokka mu luse lwakyo,” oba “ekyawufu ennyo ku birala.” Yakuwa alina obukadde n’obukadde bw’abaana ab’omwoyo. Kati olwo mu ngeri ki Yesu gy’ali omu yekka ‘mu luse lwe’ oba “omwawufu ku balala” bonna?
4 Yesu wa njawulo mu ngeri nti kye kitonde Kitaawe kye yeetondera kennyini. Ye Mwana we omubereberye. Mu butuufu, ye ‘mubereberye w’ebitonde byonna.’ (Bak. 1:15) Yesu lwe ‘lubereberye lw’okutonda kwa Katonda.’ (Kub. 3:14) Omwana oyo eyazaalibwa omu yekka era alina ekifo eky’enjawulo mu kutondebwa kw’ebintu. Si ye Mutonzi w’ebintu. Naye Yakuwa gwe yakozesa ng’atonda ebintu ebirala byonna. (Soma Yokaana 1:3.) Omutume Pawulo yagamba: “Naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw’oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo.”—1 Kol. 8:6.
5. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Yesu wa njawulo?
5 Kyokka, Yesu wa njawulo ne mu ngeri endala. Okusinziira ku Byawandiikibwa, alina ebitiibwa bingi ebiraga ekifo eky’enjawulo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Ka twetegerezeyo ebitiibwa bye ebirala bitaano ebisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.
“Kigambo”
6. Lwaki Yesu asaanidde okuyitibwa “Kigambo”?
6 Soma Yokaana 1:14. Lwaki Yesu ayitibwa “Kigambo”? Ekitiibwa kino kiraga omulimu gw’abadde akola okuva ebitonde ebirala ebitegeera lwe byatondebwa. Yakuwa yakozesanga Omwana we okutuusa obubaka n’ebiragiro ku baana be abalala ab’omwoyo, era yamutumanga okuleeta obubaka Bwe eri abantu ku nsi. Eky’okuba nti Yesu ye Kigambo, oba ye Mwogezi wa Katonda, kyeyolekera mu bigambo bino Kristo bye yagamba Abayudaaya abaali bamuwuliriza: “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw’oli eyantuma. Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange.” (Yok. 7:16, 17) Ne bwe yali ng’azzeeyo mu ggulu, Yesu yeeyongera okuyitibwa “Kigambo kya Katonda.”—Kub. 19:11, 13, 16.
7. Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze Yesu bw’alaga mu kitiibwa kye nga “Kigambo”?
7 Lowooza ku makulu agali mu kitiibwa ekyo. Wadde nga Yesu kye kitonde kya Yakuwa ekisingayo amagezi, teyeesigama ku magezi ge. Ayogera nga Kitaawe bw’aba amulagidde. Era akiraga nti by’ayogera si bibye wabula biva eri Yakuwa. (Yok. 12:50) Ng’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Naffe tulina enkizo ey’ekitalo ‘okulangirira amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi.’ (Bar. 10:15, NW) Okutegeera obulungi obwetoowaze bwa Yesu kitukubiriza okwewala okwogera ebyaffe ku bwaffe. Naffe bwe tuba tubuulira obubaka bw’omu Byawandiikibwa obuwonyaawo obulamu, tetulina ‘kusukka ku bintu ebyawandiikibwa.’—1 Kol. 4:6.
“Amiina”
8, 9. (a) Ekigambo “amiina” kitegeeza ki, era lwaki Yesu ayitibwa “Amiina”? (b) Yesu yatuukiriza atya obuvunaanyizibwa bwe nga “Amiina”?
8 Soma Okubikkulirwa 3:14. Lwaki Yesu ayitibwa “Amiina”? Ekigambo “amiina” kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza nti “kibe bwe kityo,” oba “mazima ddala.” Ekigambo eky’Olwebbulaniya ekyo kiva mu kirala ekitegeeza “okuba omwesigwa” oba “ow’amazima.” Ekyo kye kigambo Baibuli ky’ekozesa bw’egamba nti Yakuwa mwesigwa. (Ma. 7:9; Is. 49:7) Kati olwo Yesu bw’ayitibwa “Amiina,” aba wa njawulo mu ngeri ki? Weetegereze 2 Abakkolinso 1:19, 20 (NW) bwe wagamba: “Omwana wa Katonda, Kristo Yesu, eyabuulirwa mu mmwe . . . , teyafuuka Yee ate oluvannyuma n’aba Nedda, naye mu oyo, Yee afuuse Yee. Kubanga ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse Yee okuyitira mu oyo. N’olwekyo, okuyitira mu ye, Katonda agambibwa nti ‘Amiina,’ ekimuleetera okugulumizibwa okuyitira mu ffe.”
9 Yesu ye “Amiina” bwe kituuka ku bisuubizo bya Katonda byonna. Obuweereza bwe ku nsi obwali butuukiridde, nga mw’otwalidde n’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, bwawa obukakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa Katonda byonna byali bijja kutuukirira. Yesu okukuuma obwesigwa bwe era kyalaga obukyamu bwe bigambo ebiri mu kitabo kya Yobu Setaani bye yayogera bwe yagamba nti abaweereza ba Katonda bandimweganye bwe bandigezeseddwa oba bwe bandifunye ebizibu. (Yobu 1:6-12; 2:2-7) Ku bitonde bya Katonda byonna, Omwana we omubereberye ye yali asobola okulaga mu bujjuvu nti ekyo tekyali kituufu. Ng’oggyeko ekyo, Yesu yawa obujulizi obwalagira ddala nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna.
10. Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yatuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe nga “Amiina”?
10 Tuyinza tutya okukoppa engeri Yesu gye yatuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe nga “Amiina”? Tukikola nga tukuuma obwesigwa bwaffe eri Yakuwa era nga tumuwagira ng’omufuzi w’obutonde bwonna. Bwe tukola tutyo tuba twanukula omulanga guno oguli mu Engeri 27:11: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.”
‘Omutabaganya w’Endagaano Empya’
11, 12. Mu ngeri ki ekifo kya Yesu ng’Omutabaganya gye kiri eky’enjawulo?
11 Soma 1 Timoseewo 2:5, 6. Yesu ye ‘mutabaganya wa Katonda n’abantu.’ Era ye “mutabaganya w’endagaano empya.” (Beb. 9:15; 12:24, NW) Kyokka, Musa naye ayogerwako ng’omutabaganya—omutabaganya w’endagaano y’Amateeka. (Bag. 3:19) Kati olwo, ekifo kya Yesu ng’Omutabaganya kya njawulo mu ngeri ki?
12 Mu lulimi Oluyonaani, ekigambo ekyavvuunulwa “omutabaganya” kyakozesebwanga mu by’amateeka. Kiraga nti Yesu Mutabaganya akkirizibwa mu mateeka (oba alinga looya) ow’endagaano empya eyasobozesa eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda,” okubaawo. (Bag. 6:16) Lino lye ggwanga ly’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘bakabona era bakabaka’ mu ggulu. (1 Peet. 2:9; Kuv. 19:6) Endagaano y’Amateeka, nga Musa ye yali omutabaganya waayo, teyasobola kutandikawo ggwanga ng’eryo.
13. Ekifo kya Yesu ng’Omutabaganya kizingiramu ki?
13 Ekifo kya Yesu ng’Omutabaganya kizingiramu ki? Yakuwa akozesa omusaayi gwa Yesu okuganyula abo abayingizibwa mu ndagaano empya. Mu ngeri eyo, Yakuwa abawa obutuukirivu. (Bar. 3:24; Beb. 9:15) Olwo Katonda aba asobola okubayingiza mu ndagaano empya n’abawa essuubi ery’okufuuka bakabona era bakabaka mu ggulu! Ng’Omutabaganya waabwe, Yesu abayamba okusigala nga bayonjo mu maaso ga Katonda.—Beb. 2:16.
14. Lwaki Abakristaayo bonna basaanidde okuwa Yesu ekitiibwa ng’Omutabaganya w’endagaano empya?
14 Ate kiri kitya ku abo abatali mu ndagaano eyo empya, abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna? Wadde nga bo tebali mu ndagaano eyo mpya, bagiganyulwamu. Basonyiyibwa ebibi byabwe era nga mikwano gya Katonda, babalibwa ng’abatuukirivu. (Yak. 2:23; 1 Yok. 2:1, 2) Ka kibe nti essuubi lyaffe lya kugenda mu ggulu oba kubeera ku nsi, ffenna tusaanidde okuwa Yesu ekitiibwa ng’Omutabaganya w’endagaano empya.
“Kabona Asinga Obukulu”
15. Ekifo kya Yesu nga Kabona Asinga Obukulu kyawukana kitya ku ky’abalala bonna abaaweereza nga bakabona abasinga obukulu?
15 Kituufu nti mu biseera by’edda abasajja bangi baaweereza nga bakabona abasinga obukulu, naye ekifo kya Yesu nga Kabona Asinga Obukulu kyo kya njawulo. Mu ngeri ki? Pawulo annyonnyola nti: “Obutafaananako bakabona abo, ye tekimwetaagisa kuwaayo ssaddaaka buli lunaku, okusooka olw’ebibi bye n’oluvannyuma eby’abantu: (kubanga kino yakikola omulundi gumu bwe yeewaayo;) Kubanga Amateeka galonda bakabona abasinga obukulu abalina obunafu, naye ekigambo eky’ekirayiro ekyajjawo oluvannyuma lw’Amateeka kironda Omwana wa Katonda eyatuukirira emirembe gyonna.”—Beb. 7:27, 28, NW.a
16. Ssaddaaka ya Yesu ya njawulo mu ngeri ki?
16 Yesu yali muntu atuukiridde era nga yenkanankanira ddala ne Adamu—nga Adamu tannayonoona. (1 Kol. 15:45) Bwe kityo, Yesu ye muntu yekka eyali asobola okuwaayo ssaddaaka etuukiridde, eteriiko kigibulako, era nga terina kuweebwayo mulundi mulala nate. Wansi w’Amateeka ga Musa, ssaddaaka zaaweebwangayo buli lunaku. Naye ssaddaaka ezo zonna awamu n’obuweereza bwa bakabona byali kisiikirize ky’ebyo Yesu bye yandikoze. (Beb. 8:5; 10:1) N’olwekyo, obuweereza bwa Yesu nga Kabona Asinga Obukulu bwa njawulo mu ngeri nti obwa Yesu bwa mirembe gyonna, era ne by’akola bisingira wala eby’abalala bonna abaaweereza nga bakabona abasinga obukulu.
17. Lwaki kikulu okutegeera obulungi ekifo kya Yesu nga Kabona Asinga Obukulu, era tuyinza tutya okulaga nti tukitegeera?
17 Twetaaga obuyambi bwa Yesu nga Kabona Asinga Obukulu okusobola okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda. Mu butuufu Yesu Kabona mulungi nnyo! Pawulo yagamba: “Tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga ye talina kibi.” (Beb. 4:15) Ekyo okukitegeera obulungi kyandituleetedde okufuba ‘obutaba balamu ku bwaffe ffekka, wabula ku bw’oyo eyatufiirira.’—2 Kol. 5:14, 15; Luk. 9:23.
“Ezzadde” Eryasuubizibwa
18. Bunnabbi ki obwayogerwa nga Adamu amaze okwonoona, era obunnabbi obwo bwagenda butangazibwa butya?
18 Oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo mu Adeni, nga kirabika nti abantu baali bafiiriddwa buli kimu—enkolagana ne Katonda, obulamu obutaggwawo, essanyu, n’Olusuku lwa Katonda—Yakuwa yasuubiza okuweereza Omununuzi. Omununuzi oyo lye ‘zzadde’ eryayogerwako. (Lub. 3:15) Okumala ebbanga ddene nnyo, Ezzadde eryo lyayogerwangako nnyo mu bunnabbi bw’omu Baibuli naye nga terimanyiddwa. Yali wa kuba muzzukulu wa Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Era yali wa kuva mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi.—Lub. 21:12; 22:16-18; 28:14; 2 Sam. 7:12-16.
19, 20. (a) Ezzadde eryasuubizibwa y’ani? (b) Kiki ekiraga nti ezzadde eryasuubizibwa lizingiramu abalala ng’oggyeko Yesu?
19 Ezzadde eryasuubizibwa ye yali ani? Eky’okuddamu kisangibwa mu Abaggalatiya 3:16. (Soma.) Kyokka, mu ssuula y’emu eyo, omutume Pawulo ayongera n’agamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng’okusuubiza bwe kwali.” (Bag. 3:29) Kijja kitya nti Kristo ye Zzadde eryasuubizibwa, ate nga waliwo n’abalala abazingirwa mu Zzadde eryo?
20 Waliwo abantu bangi nnyo abeeyita bazzukulu ba Ibulayimu, nga n’abamu ku bo beefuula bannabbi. Amadiini agamu gakitwala ng’eky’omuwendo okuba ne bannabbi abagambibwa nti baava mu Ibulayimu. Naye ddala abantu abo bonna ddala Zzadde eryasuubizibwa? Nedda. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, si buli muzzukulu wa Ibulayimu nti aba Zzadde eryasuubizibwa. Abaana abaazaalibwa batabani ba Ibulayimu abalala tebaakozesebwa mu kuwa lulyo lwa muntu mikisa. Ezzadde eryasuubizibwa lyali lya kuyitira mu Isaaka yekka. (Beb. 11:18) Omuntu omu yekka, Yesu Kristo, lye zzadde ekkulu eryasuubizibwa, era Baibuli eraga olunyiriri lw’obuzaale bwe okuviira ddala ku Ibulayimu.b Abalala bonna abaagattibwa ku zzadde lya Ibulayimu, baayongerwako lwa kuba ‘ba Kristo.’ Yee, Yesu alina ekifo eky’enjawulo ennyo mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo.
21. Kiki ekisinze okukukwatako ku ngeri Yesu gy’atuukirizzaamu obuvunaanyizibwa bwe mu kifo eky’enjawulo ky’alina mu kigendererwa kya Yakuwa?
21 Kiki kye tuyize ku kifo eky’enjawulo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa? Okuviira ddala ku kutondebwa kwe, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka abadde wa njawulo, nga yeefaanana yekka. Kyokka, Omwana wa Katonda oyo ow’enjawulo eyafuuka Yesu bulijjo abadde akola Kitaawe by’ayagala, nga teyeenoonyeza kitiibwa kikye ku bubwe. (Yok. 5:41; 8:50) Ng’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo leero! Naffe ka tukifuule kiruubirirwa kyaffe ‘okukola byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.’—1 Kol. 10:31.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusinziira ku mwekenneenya wa Baibuli omu, ekigambo ekivvuunuddwa “omulundi gumu” kiraga nti “okufa kwa Kristo kwali kwemalirira, kwa njawulo, oba kwaliwo omulundi gumu.”
b Wadde ng’Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka E.E. baali bamanyi nti bo nga bazzukulu ba Ibulayimu ab’omusaayi be baali basiimibwa Katonda, baali basuubira omuntu omu okujja nga Masiya, oba Kristo.—Yok. 1:25; 7:41, 42; 8:39-41.
Ojjukira?
• Ebitiibwa bya Yesu bikuyigiriza ki ku kifo eky’enjawulo ky’alina? (Laba akasanduuko.)
• Oyinza otya okukoppa ekyokulabirako ky’Omwana wa Yakuwa ow’enjawulo?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ebimu ku Bitiibwa Ebiraga Ekifo kya Yesu eky’Enjawulo mu Kigendererwa kya Katonda
◼ Omwana Eyazaalibwa Omu Yekka. (Yok. 1:3) Yesu ye yekka Kitaawe gwe yeetondera kennyini.
◼ Kigambo. (Yok. 1:14) Yakuwa akozesa Omwana we ng’Omwogezi okutuusa obubaka n’ebiragiro ku bitonde ebirala.
◼ Amiina. (Kub. 3:14) Obuweereza bwa Yesu ku nsi obwali butuukiridde, nga mw’otwalidde n’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, bwawa obukakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa Katonda byonna byandituukiridde.
◼ Omutabaganya w’Endagaano Empya. (1 Tim. 2:5, 6) Ng’Omutabaganya akkirizibwa mu mateeka, Yesu yasobozesa eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda,” okubaawo, nga lino lye ggwanga ly’Abakristaayo abafuuka ‘bakabona era bakabaka’ mu ggulu.—Bag. 6:16; 1 Peet. 2:9.
◼ Kabona Asinga Obukulu. (Beb. 7:27, 28) Yesu ye muntu yekka eyali asobola okuwaayo ssaddaaka etuukiridde, nga teyeetaaga kuweebwayo mulundi mulala nate. Asobola okutunaazaako ebibi era n’atulokola okuva mu kufa.
◼ Ezzadde Eryasuubizibwa. (Lub. 3:15) Omuntu omu yekka, Yesu Kristo, ye zzadde ekkulu eryasuubizibwa. Abalala bonna abaagattibwa ku zzadde lya Ibulayimu ‘ba Kristo.’—Bag. 3:29.