LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/15 lup. 15-19
  • Amagezi ga Yakuwa Geeyolekera mu Butonde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amagezi ga Yakuwa Geeyolekera mu Butonde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yesu​—“Omukozi Omukugu”
  • Enkuyege Zituyigiriza Obunyiikivu
  • Okwekuuma mu by’Omwoyo
  • Okugumira Okuyigganyizibwa
  • “Munywerere ku Kirungi”
  • Bye Tuyigira ku Butonde
  • “Amagezi ga Katonda nga ga Buziba!”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Biki Bye Tuyigira ku Bitonde?
    Zuukuka!—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/15 lup. 15-19

Amagezi ga Yakuwa Geeyolekera mu Butonde

“Engeri ze ezitalabika, . . . zitegeererwa ku bintu ebyakolebwa.”​—BAR. 1:20, NW.

1. Kiki ekivudde mu kutambulira ku magezi g’abantu?

EKIGAMBO “amagezi” abantu bangi bakikozesa ngeri etesaana. Abamu bagamba nti omuntu aba mugezi bw’aba amanyi ebintu bingi. Kyokka, amagezi abo abatwalibwa okuba abagezi ge bawa tegasobola kuyamba muntu yenna kumanya makulu agali mu bulamu. Era abantu abatambulira ku magezi ago baba ‘bayuugana buyuuganyi era batwalibwa buli mpewo ey’okuyigiriza.’​—Bef. 4:14.

2, 3. (a) Lwaki Yakuwa ye ‘w’amagezi yekka’? (b) Amagezi agava eri Katonda gaawukana gatya ku g’abantu?

2 Ng’enjawulo eba ya maanyi bwe kituuka ku abo abatambulira ku magezi amatuufu agava eri Yakuwa Katonda! Baibuli egamba nti Yakuwa ye ‘w’amagezi yekka.’ (Bar. 16:27) Amanyi buli kimu ekikwata ku butonde, nga mw’otwalidde n’engeri buli kintu gye kyakolebwamu. Amateeka ag’enjawulo ebintu byonna mu butonde kwe bitambulira​—abantu ge beeyambisa nga baliko bye banoonyereza​—Yakuwa ye yagakola. N’olwekyo, tayinza kuwuniikirira olw’ebintu abantu bye bayiiya, wadde olw’endowooza z’ekifirosoofo abantu ze balaba ng’ez’amagezi ennyo. “Amagezi ag’omu nsi muno bwe busirusiru eri Katonda.”​—1 Kol. 3:19.

3 Baibuli egamba nti Yakuwa “awa amagezi” abaweereza be. (Nge. 2:6) Obutafaananako bufirosoofo, amagezi agava eri Katonda gategeerekeka bulungi. Gateeka essira ku kusalawo obulungi era geesigamizibwa ku kumanya okutuufu. (Soma Yakobo 3:17.) Nga yeewuunya amagezi ag’ekitalo Yakuwa g’alina, omutume Pawulo yawandiika nti: “Obuziba bw’obugagga obw’amagezi n’obw’okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!” (Bar. 11:33) Olw’okuba Yakuwa y’asingayo okuba ow’amagezi, tuli bakakafu nti amateeka ge gatuyamba okuba n’obulamu obusingayo obulungi. Ggwe ate oba Yakuwa atusinga okumanya bye twetaaga okusobola okuba abasanyufu.​—Nge. 3:5, 6.

Yesu​—“Omukozi Omukugu”

4. Emu ku ngeri gye tuyinza okulabamu amagezi ga Yakuwa y’eruwa?

4 Amagezi ga Yakuwa, awamu n’engeri ze endala ez’ekitalo, byeyolekera mu bintu bye yatonda. (Soma Abaruumi 1:20.) Okuviira ddala ku bisingayo obunene okutuuka ku bisembayo obutono, ebitonde bya Yakuwa byoleka engeri ze. Buli we tuzza amaaso, ka kibe mu bwengula oba wansi mu ttaka, tulaba obujulizi obulaga nti Omutonzi waffe wa magezi era wa kwagala. Bwe kityo, tuyiga bingi bwe twetegereza ebintu bye yatonda.​—Zab. 19:1; Is. 40:26.

5, 6. (a) Ng’oggyeko Yakuwa, ani omulala eyeenyigira mu kutonda? (b) Biki bye tugenda okwetegereza, era lwaki?

5 Yakuwa teyali yekka bwe yali ‘atonda eggulu n’ensi.’ (Lub. 1:1) Baibuli eraga nti bwe yali tannatonda kintu kyonna, yasooka kutonda muntu ow’omwoyo, ng’oyo gwe yakozesa mu kutonda “ebintu [ebirala] byonna.” Omuntu oyo ow’omwoyo ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka​—“omubereberye ow’ebitonde byonna”​—eyajja n’abeera ku nsi ng’omuntu, n’aweebwa erinnya Yesu. (Bak. 1:15-17) Okufaananako Yakuwa, Yesu alina amagezi mangi nnyo. Mu butuufu, ayogerwako ng’amagezi mu Engero essuula 8. Mu ssuula eno, Yesu era ayogerwako ‘ng’omukozi omukugu.’​—Nge. 8:12, 22-31, NW.

6 Bwe kityo, ebitonde tebyoleka magezi ga Yakuwa gokka wabula byoleka n’ag’Omukozi we Omukugu, Yesu. Birina ebintu eby’omuwendo bingi bye bituyigiriza. Ka twetegerezeeyo ebitonde bina ebyogerwako mu Engero 30:24-28, ebirina ‘amagezi amangi ennyo.’a

Enkuyege Zituyigiriza Obunyiikivu

7, 8. Kiki ekikwewuunyisa ku nkuyege?

7 N’ebitonde ‘ebitono ku nsi’ birina kye bituyigiriza bwe twetegereza ebintu bye bikola n’engeri gye bibikolamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nkuyege.​—Soma Engero 30:24, 25.b

8 Bannasayansi abamu bagamba nti ekuyege, ng’omuwendo gwazo gukubisaamu ogw’abantu emirundi egisuuka 200,000, zonna zibeera eyo munda mu ttaka nga zikola obutaweera. Enkuyege zeekolamu ebibinja, era ng’ebibinja ebisinga obungi bibaamu ebika by’enkuyege bisatu: nnamunswa, enkuyege ensajja, n’enkuyege enkozi. Buli kika kya nkuyege kirina omulimu gwe kikola mu kuyimirizaawo ekibinja. Waliwo enkuyege ezisangibwa mu Amerika ew’Ebukiika Kkono eziyinza okwogerwako ng’enkugu mu kulima. Zirima emmere yaazo wansi eyo mu ttaka, zigigimusa, zigisalira, era zigisimbuliza n’esobola okubalira ddala obulungi. Era kizuuliddwa nti enkuyege ezo “ennimi” zikola okusinziira ku bwetaavu bw’emmere obubaawo mu kibinja.c

9, 10. Tuyinza tutya okuba abanyiikivu ng’enkuyege?

9 Tulina bye tuyigira ku nkuyege ezo. Zituyigiriza nti okusobola okufuna ebibala tulina okuba abanyiikivu. Baibuli egamba nti: “Genda eri [enkuyege], ggwe omugayaavu; lowooza empisa zaayo obeerenga n’amagezi: eyo terina mwami, newakubadde omulabirizi newakubadde afuga, naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby’okukunguliramu, n’ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka.” (Nge. 6:6-8) Yakuwa n’Omukozi we Omukugu, Yesu, bakola na bunyiikivu. Yesu yagamba nti “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.”​—Yok. 5:17.

10 Okusobola okukoppa Katonda ne Kristo, naffe tulina okuba abanyiikivu. Ka tube nga tukola mulimu ki mu kibiina kya Yakuwa, ffenna tusaanidde ‘okukola ennyo bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe.’ (1 Kol. 15:58) N’olwekyo, kiba kirungi okukolera ku magezi gano Pawulo ge yawa Abakristaayo b’omu Ruumi: ‘Mube banyiikivu so si bagayaavu, abasanyufu mu mwoyo. Mubeerenga baddu ba Yakuwa.’ (Bar. 12:11) Okufuba kwaffe mu kukola Yakuwa by’ayagala si kwa bwereere kubanga Baibuli etukakasa nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.”​—Beb. 6:10.

Okwekuuma mu by’Omwoyo

11. Nnyonnyola ebikwata ku kamyu akabeera mu njazi.

11 Akamyu kye kitonde ekirala ekitono ekirina kye kituyigiriza. (Soma Engero 30:26.) Akasolo ako kabeera mu bifo bya njazi. Kalina amaaso moogi agakayamba okulaba amangu akabi, era kaddukira mu binnya n’emiwaatwa ebiba mu njazi ne keewala okuliibwa. Obumyu buno bubeera mu bibinja, nga kino kibuyamba mu kwekuuma akabi n’okubuguma mu biseera eby’obutiti.d

12, 13. Kiki kye tusobola okuyigira ku kamyu?

12 Kiki kye tuyinza okuyigira ku kamyu ako? Ekisooka, akasolo ako tekagenda mu bifo biyinza kuteeka bulamu bwako mu kabi. Era olw’amaaso gaako amoogi, kalengerera wala omulabe, era kaliira mu bifo awali ebinnya n’emiwaatwa mwe kasobola okwekweka. Okufaananako akamyu ako, naffe tusaanidde okuba nga tulengera wala mu by’omwoyo tusobole okwewala okugwa mu mitego gy’ensi ya Setaani. Omutume Peetero yakubiriza Abakristaayo nti: “Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peet. 5:8) Bwe yali ku nsi, Yesu yeekuumanga nnyo okulaba nti Setaani tamuleetera kusuula bugolokofu bwe. (Mat. 4:1-11) Bw’atyo yateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekirungi!

13 Engeri emu gye tusobola okwekuuma obutatuukibwako kabi mu by’omwoyo kwe kulaba nti tuganyulwa mu bintu Yakuwa bye yatuwa okutukuuma. Tetusaanidde kulagajjalira kwesomesa Kigambo kya Katonda na kubeerawo mu nkuŋŋaana. (Luk. 4:4; Beb. 10:24, 25) Ate era, ng’okubeera mu kibinja bwe kiyamba ennyo akamyu, naffe twetaaga okubeerako ne Bakristaayo bannaffe tusobole ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:12, NW) Bwe tufuba okukozesa ebintu byonna Yakuwa bye yatuteerawo okutukuuma, tuba tulaga nti tukkiriziganya n’ebigambo bya Dawudi bino: “Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga.”​—Zab. 18:2.

Okugumira Okuyigganyizibwa

14. Wadde ng’enzige emu teba ya kabi, kiba kitya bwe ziba ennyingi?

14 Enzige nazo zirina kye zisobola okutuyigiriza. Enzige emu eyinza okuweza inci nga bbiri obuwanvu era teba ya kabi, naye bwe ziba ennyingi zeewuunyisa. (Soma Engero 30:27.) Enzige zirya nnyo, era bwe zigwa mu musiri gw’emmere zigumalawo mu kaseera buseera. Baibuli egeraageranya okuwuuma kw’ebiwuka ng’enzige ku musinde gw’amagaali agasikibwa embalaasi oba ku kubuubuuka kw’omuliro ogwokya ensambu. (Yo. 2:3, 5) Abantu abamu bakoleeza omuliro nga bagezaako okulemesa enzige okulumba ekitundu, naye ekyo tekitera kuyamba. Lwaki? Enzige bwe zifa, emibiri gyazo gireetera omuliro okuzikira, ezisigadde ne zeeyongerayo. Wadde nga tezirina kabaka oba mukulembeze, enzige zifaananako eggye ettegeke obulungi, era kumpi zisobola okuvvuunuka buli ekikolebwa okuziremesa.e​—Yo. 2:25.

15, 16. Abalangirizi bw’Obwakabaka leero bafaananako batya enzige?

15 Nnabbi Yoweeri yageraageranya abaweereza ba Yakuwa ku nzige. Yawandiika nti: “Badduka mbiro ng’abasajja ab’amaanyi; balinnya bbugwe ng’abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri. So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe.”​—Yo. 2:7, 8.

16 Ng’obunnabbi buno bulaga bulungi engeri abalangirizi bw’Obwakabaka bwa Katonda gye bakolamu omulimu gwabwe! Ka kube kuyigganyizibwa okufaananako “bbugwe,” tekusobodde kubalemesa kubuulira. Bakoledde ddala nga Yesu, eyanywerera ku kukola Katonda by’ayagala wadde nga bangi baali bamunyooma. (Is. 53:3) Kituufu nti Abakristaayo abamu ‘bawagulizza awali ebyokulwanyisa’ ne battibwa olw’okukkiriza kwabwe, naye omulimu gw’okubuulira gweyongedde mu maaso era n’omuwendo gw’ababuulizi gweyongera bungi. Mu butuufu emirundi egisinga, okuyigganyizibwa kusobozesezza amawulire amalungi okutuuka ku bantu abatandigafunye. (Bik. 8:1, 4) Naawe olaze obumalirivu ng’obw’enzige mu buweereza bwo obw’ennimiro, k’obe ng’oyigganyizibwa oba nga b’obuulira tebeefiirayo?​—Beb. 10:39.

“Munywerere ku Kirungi”

17. Omunya gusobola gutya okutambulira ku bisenge?

17 Omunya gukola ekintu ekirabika ng’ekitasoboka, ne gutambula nga gwesulise awatali kugwa. (Soma Engero 30:28.) Mu butuufu, bannasayansi balemeddwa okutegeera engeri omunya gye gusobola okutambulira waggulu ku bisenge ne kungalama nga gwesulise naye ne gutagwa. Omunya gusobola gutya okukikola? Tegulina ggaamu mu bigere byagwo, naye wansi w’ebigere byagwo waliyo layini okuli obwoya obungi ennyo. Buli kamu ku bwoya obwo kaliko obuviiri nkumi na nkumi nga bulina emitwe egyakula ng’essoosi. Mu buviiri obwo mwe muva amaanyi agasobozesa omunya okwekwata ne gunywera, ne bwe guba nga guddukira ku ndabirwamu nga gwesulise! Bannasayansi bagamba nti singa bayiiya ekintu ekiyinza okukola ng’ebigere by’omunya, baba bafunye ggaamu ow’amaanyi ennyo.f

18. Tuyinza tutya okukakasa nti “tunywerera ku kirungi” buli kiseera?

18 Kiki kye tuyinza okuyigira ku munya? Baibuli etukubiriza nti: “Mukyawe ekibi, munywerere ku kirungi.” (Bar. 12:9, NW) Ebintu ebitazimba ebiri mu nsi ya Setaani biyinza okutulemesa okunywerera ku misingi gya Baibuli. Ng’ekyokulabirako, okukola omukwano n’abantu abatatambulira ku mateeka ga Katonda​—ka babe bayizi bannaffe, bakozi bannaffe, oba omuntu gwe tulaba obulabi ku ttivi​—kiyinza okutulobera okukola ekituufu. Ekyo tokiganya kukutuukako! Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Tobanga na magezi mu maaso go ggwe.” (Nge. 3:7) Mu kifo ky’ekyo, kolera ku magezi gano Musa ge yawa abantu ba Katonda ab’edda: “Onootyanga Mukama Katonda wo; oyo gw’onooweerezanga; era oyo [gw’onoonywererangako].” (Ma. 10:20) Bwe tunywerera ku Yakuwa, tuba tukoppa Yesu, eyayogerwako nti: “Wayagala obutuukirivu, n’okyawa obujeemu.”​—Beb. 1:9.

Bye Tuyigira ku Butonde

19. (a) Ngeri ki eza Yakuwa z’olaba mu butonde? (b) Amagezi ga Katonda gayinza gatya okukuganyula?

19 Nga bwe tulabye waggulu, engeri za Yakuwa zeeyolekera mu bintu bye yatonda, era ebitonde ebyo birina ebintu ebikulu bye bituyigiriza. Gye tukoma okwekkaanya emirimu gya Yakuwa, gye tukoma okuwuniikirira olw’amagezi ge ag’ekitalo. Okussaayo omwoyo ku magezi agava eri Katonda kijja kwogera ku ssanyu lye tulina kati era kituwe obukuumi mu biseera by’omu maaso. (Mub. 7:12) Yee, tujja kulaba obutuufu bw’ebigambo bino ebiri mu Engero 3:13, 18: “Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N’oyo afuna okutegeera. Ago gwe muti ogw’obulamu eri abo abagakwata: era alina omukisa buli muntu abeera nago.”

[Obugambo obuli wansi]

a Abaana bayinza okunyumirwa okunoonyereza ku bintu ebyogerwako mu bitabo ebiragiddwa mu bugambo obwa wansi era ne boogera ku bye bazudde ng’ekitundu kino kisomebwa mu kibiina.

b Engero 30:24, 25 (NW): “Waliwo ebintu bina ebitono ennyo ku nsi, naye biba n’amagezi mangi nnyo: enkuyege lye ggwanga eritali lya maanyi, naye ziteekateeka emmere yaazo mu kyeya.”

c Okumanya ebisingawo ku nkuyege zino, laba Awake! eya Maaki 22, 1997, olupapula 31, n’eya Maayi 22, 2002, olupapula 31.

d Okumanya ebisingawo ku kamyu kano, laba Awake! eya Ssebutemba 8, 1990, olupapula 15-16.

e Okumanya ebisingawo ku nzige, laba Awake! eya Okitobba 22, 1976, olupapula 11.

f Okumanya ebisingawo ku munya, laba Awake! eya Apuli 2008, olupapula 26.

Ojjukira?

Biki bye tuyigira ku . . .

• nkuyege?

• kamyu?

• nzige?

• munya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Oli munyiikivu ng’enkuyege?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]

Akamyu kabeera ne bunnebwako ne kafuna obukuumi. Naawe okola kye kimu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Okufaananako enzige, Abakristaayo baba bamalirivu mu buweereza bwabwe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Ng’omunya bwe gwekwata ku kisenge ne gunywera, Abakristaayo banywerera ku kirungi

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Stockbyte/Getty Images

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share