Muyambe Abaana Okutegeera Obulungi Ekibiina kya Yakuwa
ABAANA baagala nnyo okuyiga. Lowooza ku bibuuzo abaana Abaisiraeri bye bayinza okuba nga beebuuza ku lunaku lw’embaga y’Okuyitako eyasooka: ‘Lwaki endiga ettiddwa?’ ‘Lwaki Taata asiiga omusaayi ku mifuubeeto gy’oluggi?’ ‘Tugenda wa?’ Ebyo Yakuwa bye yalagira abazadde Abaisiraeri biraga nti ebibuuzo ng’ebyo byamusanyusanga. Ng’ayogera ku mbaga z’Okuyitako ezandikwatiddwa mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa yagamba nti: “Abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki? mulyogera nti Ye ssaddaaka ey’okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z’abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n’awonya ennyumba zaffe.” (Kuv. 12:24-27) Oluvannyuma Yakuwa yajjukiza abazadde Abaisiraeri obukulu bw’okuddamu ebibuuzo by’abaana baabwe ebikwata ku ‘mateeka n’emisango’ bye yali abawadde.—Ma. 6:20-25.
Kya lwatu nti Yakuwa yali ayagala abaana bafune eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo byabwe ebikwata ku kusinza okw’amazima—eby’okuddamu ebyandibakubirizza okwagala Yakuwa nga Katonda waabwe era ng’Omulokozi waabwe. Ne leero, abaana Yakuwa abaagaliza ekintu kye kimu. Engeri emu abazadde gye bayinza okuyamba abaana baabwe okwagala Katonda awamu n’abantu be kwe kubayamba okutegeera obulungi ekibiina kya Yakuwa n’okulaba engeri gye bayinza okuganyulwa mu nteekateeka zaakyo. Kati ka twetegerezeeyo ezimu ku ngeri abaana mwe bayinza okuyambibwa okwongera okutegeera ekibiina kya Katonda.
Ekibiina Kyammwe
Abaana balina okutegeera obulungi ekibiina kyammwe. Ekyo okusobola okukikola, mmwe ng’abazadde musaanidde okugendanga n’abaana bammwe mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna. Bwe mukola mutyo, muba mukoledde ku ekyo Yakuwa kye yalagira Abaisiraeri ng’agamba nti: “Okuŋŋaanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana abato, . . . bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby’amateeka gano okubikola; era abaana baabwe, abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda wammwe.”—Ma. 31:12, 13.
Okuviira ddala mu buwere, abaana baba n’obusobozi bw’okuyiga Ekigambo kya Yakuwa. Omutume Pawulo yayogera ku Timoseewo ng’agamba nti: “Okuva mu buwere wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu.” (2 Tim. 3:15) Mu nkuŋŋaana z’ekibiina, n’abaana abato ddala baganyulwa mu ebyo ebiyigirizibwa era bayiga n’ennyimba ez’Obwakabaka. Bayiga okukozesa n’okussa ekitiibwa mu Baibuli awamu n’ebitabo ebiginnyonnyola. Era bwe baba mu nkuŋŋaana zaffe, abaana baba basobola okulaba ekintu ekyawulawo abagoberezi ba Kristo ab’amazima—okwagala okwa nnamaddala. Yesu yagamba nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe nnabaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Okwagala okwa nnamaddala n’emirembe ebiri mu kibiina bijja kubaleetera okwagala okufuula enkuŋŋaana ekitundu ky’obulamu bwabwe.
Bwe mufuba okutuuka nga bukyali mu nkuŋŋaana era ne musigalawoko nga ziwedde, kijja kuyamba abaana bammwe okufuna akakisa okukola emikwano. Mu kifo ky’okubaleka okubeeranga ne bato bannaabwe bokka, lwaki temubayamba okumanya ab’oluganda ab’emyaka egy’enjawulo? Abaana bammwe bwe beeyongera okumanya ab’oluganda abakuze mu myaka, bajja kukizuula nti ab’oluganda bano balina amagezi mangi n’obumanyirivu. Nga Zekkaliya eyaliwo mu biseera by’edda “eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda” bwe yayamba Uzziya, kabaka wa Yuda eyali omuto, ne leero abo abamaze ebbanga nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa basobola okuyamba ennyo abaana. (2 Byom. 26:1, 4, 5) Ate era bwe muba mu Kizimbe ky’Obwakabaka, musobola okunnyonnyola abaana bammwe omugaso gw’etterekero ly’ebitabo, ekifo awatimbibwa amabaluwa, awamu n’ebintu ebirala.
Ekibiina eky’Ensi Yonna
Abaana balina okukitegeera nti ekibiina kyammwe kitundu kya kibiina eky’ensi yonna ekirimu ebibiina ebisukka mu 100,000. Mubayambe okutegeera ekibiina ekyo, mubannyonnyole engeri gye kitambulamu, n’engeri abaana gye bayinza okuwagiramu emirimu gyakyo. Mubalage ensonga lwaki mwesunga enkuŋŋaana ennene n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu.—Laba akasanduuko “Bye Musobola Okwogerako mu Kusinza kw’Amaka,” ku lupapula 28.
Musobola okuyita abalabirizi abatambula, abaminsani, Ababeseri, n’abalala abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna okubakyalirako mu maka gammwe. Temulowooza nti tebalina biseera kunyumyako na baana. Ab’oluganda bano abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bafuba okukoppa Yesu, eyafangayo ennyo ku baana abato. (Mak. 10:13-16) Abaana bwe bawulira abaweereza ba Yakuwa bano nga banyumya ku ebyo bye bayiseemu nga bali mu buweereza obutukuvu n’essanyu lye bafunye, kiyinza okubakubiriza okwagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
Kiki ekirala kye muyinza okukola okuyamba abaana bammwe okweyongera okutegeera ekibiina kya Yakuwa? Muyinza okusomera awamu ng’amaka ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom. Mwogere ku bunyiikivu, obuwombeefu, awamu n’obwesigwa abaweereza ba Yakuwa bwe baayoleka. Mubayambe okulaba engeri Yakuwa gye yakozesaamu abaweereza be okubunyisa amawulire amalungi mu nsi yonna. Mukozese vidiyo z’ekibiina okuyamba abaana bammwe okubaako bye bayiga mu ebyo ebyaliwo mu biseera by’edda n’ebyo ebiriwo mu kiseera kino. Bwe muba musobola, mukyaleko ku Beseri eri mu nsi yammwe oba mu nsi endala. Ekyo kiyinza okuyamba abaana bammwe okutegeera engeri ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa gye kikolera ku bulagirizi obuweebwa omuddu omwesigwa okuwa ab’oluganda mu nsi yonna emmere ey’eby’omwoyo, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka.—Mat. 24:45-47; Bik. 15:22-31.
Mulowooze ku Busobozi bwa Buli Mwana
Bwe muba muyigiriza abaana bammwe, kikulu okujjukira engeri Yesu gye yayigirizaamu abatume be. Lumu yabagamba nti: “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kaakano.” (Yok. 16:12) Yesu yeewalanga okuyigiriza abayigirizwa be ebintu ebyandibazibuwalidde okutegeera. Mu kifo ky’ekyo, yabayigirizangako ebyo byokka bye baali basobola okutegeera mu kiseera ekyo. Nammwe muyigirize abaana bammwe okusinziira ku busobozi bwabwe. Bwe munaagenda mubayigiriza mpolampola ebikwata ku kibiina Ekikristaayo, kijja kubaleetera okunyumirwa ebyo bye bayiga. Abaana bammwe bwe bagenda bakula, musobola okubayigiriza ebisingawo.
Ekibiina Ekikristaayo kituyamba okuba abanywevu mu by’omwoyo, era abaana bwe beenyigira mu mirimu gyakyo kibayamba okwewala okutwalirizibwa ensi ya Sitaani. (Bar. 12:2) Tuli bakakafu nti bwe munaayamba abaana bammwe okutegeera obulungi ekibiina kya Yakuwa, mujja kufuna essanyu lingi. Ka Yakuwa yeeyongere okuyamba abaana bammwe okumunywererako n’okunywerera ku kibiina kye.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Bye Musobola Okwogerako mu Kusinza kw’Amaka
Bino bye bimu ku bintu ebikwata ku kibiina kya Yakuwa bye musobola okwogerako mu kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka.
▪ Mwejjukanye ebyafaayo by’ekibiina kyammwe. Kyatandikawo ddi era kitya? Bifo ki eby’enjawulo gye mwafuniranga enkuŋŋaana? Bwe muba mugenda okwogera ku bintu ebyo, lwaki temuyitayo ow’oluganda amaze ebbanga mu kibiina kyammwe addemu ebimu ku bibuuzo abaana bye bayinza okubuuza?
▪ Mwogere ku kigendererwa ky’enkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene n’engeri abaana gye bayinza okuziganyulwamu.
▪ Mwogere ku kigendererwa ky’amasomero ag’enjawulo agaateekebwawo ekibiina kya Yakuwa. Muyinza okubawa ebyokulabirako ebiraga engeri abo abavudde mu masomero ago gye baganyuddemu ekibiina.
▪ Muyambe abaana abato okulaba obukulu bw’okufuuka ababuulizi b’amawulire amalungi abanyiikivu. Mubalage nti ebyo bye bakola birina kye byongera ku alipoota y’ensi yonna efulumira mu katabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses.
▪ Mwogere ku buweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu abaana bwe basobola okwenyigiramu mu kibiina kya Yakuwa. Essuula 10 ey’akatabo Organized to Do Jehovah’s Will esobola okubayamba mu nsonga eno.
▪ Muyambe abaana okutegeera ensonga lwaki ebintu ebimu mu kibiina bikolebwa mu ngeri gye bikolebwamu. Mubalage ensonga lwaki balina okugondera enteekateeka z’ekibiina zonna. Mubalage engeri okugondera abakadde gye kisobozesa ebintu mu kibiina okukolebwa mu ngeri entegeke obulungi.
[Ekifaananyi]
Abaana bammwe bajja kuganyulwa nnyo mu kukola omukwano ku abo abamaze ebbanga nga baweereza Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Nga bwe kyali mu Isiraeri ey’edda, abazadde leero bafuba okuyamba abaana baabwe okufuna eby’okuddamu ebimatiza ebikwata ku kibiina kya Yakuwa