Waliwo Ebintu Bingi Ebisobola Okubaleetera Essanyu
EBINTU byonna Yakuwa bye yatonda bitegeke bulungi. Kino tekyewuunyisa, kubanga Omutonzi waffe ‘si Katonda wa luyoogaano.’ (1 Kol. 14:33) Ate era n’engeri gy’ategeseemu abaweereza be okumusinza nayo ya kitalo. Lowooza ku ekyo Yakuwa ky’akoze. Agasse wamu obukadde n’obukadde bw’ebitonde ebitegeera—abantu ne bamalayika—mu kibiina kimu eky’abasinza be ab’amazima. Ng’ekyo kiwuniikiriza!
Mu Isiraeri ey’edda, ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda kyali kikiikirirwa Yerusaalemi, awaali yeekaalu ya Yakuwa era awaabeeranga kabaka gwe yabanga afuseeko amafuta. Omu ku Baisiraeri abaali batwaliddwa mu buwambe e Babulooni yayogera bw’ati ku kibuga ekyo ekitukuvu: “Olulimi lwange lwegattenga n’ekibuno kyange, bwe ssiikujjukirenga; bwe ssaagalenga Yerusaalemi okusinga essanyu lyange ekkulu.”—Zab. 137:6.
Naawe bw’otyo bw’otwala ekibiina kya Katonda leero? Kikusanyusa okusinga ekintu ekirala kyonna? Abaana bo bamanyi bulungi ebyafaayo by’ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Katonda era bamanyi engeri gye kikolamu emirimu gyakyo? Bakimanyi nti bali kitundu ky’oluganda olw’ensi yonna olw’Abajulirwa ba Yakuwa, era ekyo bakitwala ng’enkizo? (1 Peet. 2:17) Lwaki tokozesa amagezi gano wammanga mu Kusinza kwammwe okw’Amaka kiyambe ab’omu maka go okwongera okutegeera n’okusiima ekibiina kya Yakuwa?
Yogera ku “Nnaku ez’Edda”
Buli mwaka, amaka gonna mu Isiraeri gaakwatanga embaga ey’Okuyitako. Embaga ey’Okuyitako bwe yatandikibwawo, Musa yagamba Abaisiraeri nti: “Omwana wo bw’anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng’ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag’omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.” (Kuv. 13:14) Abaisiraeri baali tebalina kwerabira ebyo Yakuwa bye yali abakoledde. Kya lwatu nti bataata Abaisiraeri bangi baakolera ku bigambo bya Musa ebyo. Mu mirembe egyaddako, Omuisiraeri omu yasaba nti: “Twawuliranga n’amatu gaffe, ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez’edda.”—Zab. 44:1.
Eri omwana omuto leero, ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa ebibaddewo mu myaka 100 egiyise oba n’okusingawo bisobola okuba ‘ng’ennaku ez’edda.’ Oyinza otya okuyamba abaana bo okutegeera obulungi ebyafaayo ebyo? Abazadde abamu bakozesa ebintu, gamba nga ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, Yearbook, ebyafaayo by’abaweereza ba Yakuwa ebifulumira mu magazini zaffe, alipoota ezitali zimu ezikwata ku mulimu gwaffe ogw’Obwakabaka, awamu ne DVD yaffe empya eraga ebyafaayo by’abantu ba Katonda ab’omu kiseera kyaffe. Vidiyo eziraga engeri baganda baffe gye baayigganyizibwamu mu Soviet Union ne mu Bugirimaani wansi w’Abanazi, ziyambye amaka mangi okwongera okwesiga Yakuwa mu mbeera enzibu. Gezaako okukozesa ebintu ng’ebyo mu Kusinza kwammwe okw’Amaka. Ekyo kijja kunyweza okukkiriza kw’abaana bo kibayambe okugumira okugezesebwa.
Okubuulira abaana abato ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa ng’olinga abawa emboozi kiyinza okubakooya amangu. N’olwekyo, fuba okulaba nti nabo beenyigiramu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okusaba omwana wo alonde ensi gy’ayagala mwogereko, anoonyereze ku byafaayo by’omulimu gwaffe ogw’Obwakabaka mu nsi eyo, era ababuulire ku ebyo by’aba azudde. Mu kibiina kyammwe muyinza okubaamu Abakristaayo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa be musobola okuyita okubaawo mu kusinza kwammwe okw’amaka. Omwana wo asobola okubabuuza ebibuuzo, era n’abasaba boogere ku ebyo bye bayiseemu mu bulamu. Oba oyinza okusaba omwana wo akube ebifaananyi ebiraga ebintu ebikulu ebibaddewo mu kibiina kya Yakuwa, gamba ng’okuzimbibwa kwa ofiisi y’ettabi, olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna, oba okukozesa gramufooni mu mulimu gw’okubuulira nnyumba ku nnyumba.
Manya Engeri ‘Buli Kitundu Gye Kikolamu Omulimu Gwakyo’
Omutume Pawulo yageraageranya ekibiina Ekikristaayo ku ‘mubiri gwonna ogugattiddwa awamu, ennyingo ezigulimu zonna nga zinywezeddwa, buli kitundu ne kikola omulimu gwakyo. Olwo omubiri ne gukula, ne guzimbibwa mu kwagalana.’ (Bef. 4:16, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Okumanya ebikwata ku ngeri omubiri gw’omuntu gye gukolamu kituleetera okwongera okusiima Omutonzi waffe n’okumuwa ekitiibwa. Mu ngeri y’emu, bwe tutegeera obulungi engeri ekibiina kya Yakuwa gye kikolamu emirimu gyakyo, kituleetera okuwuniikirira ‘olw’amagezi ga Katonda ageeyolekera mu ngeri ez’enjawulo.’—Bef. 3:10.
Yakuwa atuyamba okumanya engeri ekibiina kye, nga mw’otwalidde n’ekitundu kyakyo eky’omu ggulu, gye kikolamu emirimu gyakyo. Ng’ekyokulabirako, atubuulira nti okubikkulirwa yasooka kukuwa Yesu Kristo, oluvannyuma Yesu naye ‘n’atuma malayika we ategeeze omuddu we Yokaana okubikkulirwa okwo mu bubonero. Yokaana n’awa obujulirwa.’ (Kub. 1:1, 2) Bwe kiba nti Katonda atutegeeza engeri ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye gye kikolamu emirimu gyakyo, olowooza teyandyagadde tutegeere n’engeri ‘buli kitundu eky’ekibiina kye gye kikolamu omulimu gwakyo’ wano ku nsi?
Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti omulabirizi w’ekitundu anaatera okukyalira ekibiina kyammwe, lwaki temusoma ku buvunaanyizibwa abalabirizi abatambula bwe balina awamu n’emikisa gye bafuna mu mulimu gwabwe? Buli omu ku ffe aganyulwa atya mu kukyala kwabwe? Era musobola n’okukubaganya ebirowoozo ku bibuuzo nga bino: Lwaki kikulu okuwaayo alipoota zaffe ez’obuweereza bw’ennimiro? Ssente ezikozesebwa mu kibiina kya Katonda ziva wa? Akakiiko Akafuzi kategekeddwa katya, era kasobola katya okututuusaako emmere ey’eby’omwoyo?
Okumanya engeri abantu ba Yakuwa gye bategekeddwamu, kituganyula mu ngeri nga ssatu: Kituyamba okusiima ab’oluganda abakola ennyo ku lwaffe. (1 Bas. 5:12, 13) Kitukubiriza okuwagira enteekateeka z’ekibiina. (Bik. 16:4, 5) Era, kituyamba okwongera okwesiga abo abatwala obukulembeze mu kibiina bwe tukiraba nti ebintu byonna bye basalawo n’enteekateeka ze bakola byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.—Beb. 13:7.
“Mulowooze Amayumba Gaakyo”
“Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye: mubale ebigo byakyo. Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.” (Zab. 48:12, 13) Omuwandiisi wa Zabbuli yakubiriza Abaisiraeri okutunuulira ekibuga Yerusaalemi bakyetegereze. Lowooza ku ssanyu Abaisiraeri lye baafunanga ng’amaka bwe baagendanga mu kibuga kino ekitukuvu ku mbaga ezaakwatibwanga buli mwaka era ne balaba yeekaalu eyali erabika obulungi ennyo. Bateekwa okuba nga baakwatibwako nnyo ebyo bye baalabanga era ne kibaleetera ‘okubibuulirako emirembe egyaddirira.’
Lowooza ku kabaka omukazi ow’e Seeba, mu kusooka eyali takkiriza ebyo bye yali awulidde ku bufuzi bwa Sulemaani n’amagezi ge. Kiki ekyamuyamba okukakasa nti ebintu bye yali awulidde byali bituufu? Yagamba nti: “Sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nnajja amaaso gange ne gakiraba.” (2 Byom. 9:6) Yee, ebyo bye tulabako ‘n’amaaso gaffe’ bitukwatako nnyo.
Oyinza otya okuyamba abaana bo okulaba obulungi bw’ekibiina kya Yakuwa ‘n’amaaso gaabwe’? Musobola okukyalako ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eribali okumpi. Ng’ekyokulabirako, Mandy ne Bethany baali baabeera mu kifo ekyesudde mayiro nga 900 okuva ku Beseri. Naye bwe baali bakyali bato, bazadde baabwe baateranga okubatwala okulambula Beseri. Bagamba nti, “Bwe twali tetunnakyalako ku Beseri, twali tulowooza nti wabeerayo bantu bakulu bokka era nti tebasaagirayo. Naye bwe twatuukayo twalabayo n’abavubuka abaali baweereza Yakuwa ate nga basanyufu! Twakiraba nti ekibiina kya Yakuwa kigazi, era buli lwe twakyalanga ku Beseri twazzibwangamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo.” Okwongera okutegeera ebikwata ku kibiina kya Yakuwa kyayamba Mandy ne Bethany okusalawo okuweereza nga bapayoniya, era batuuka n’okuyitibwa okuweereza ku Beseri okumala ekiseera.
Waliwo engeri endala gye tusobola ‘okulaba’ ekibiina kya Yakuwa, Abaisiraeri ab’edda gye baali tebalina. Leero, abantu ba Katonda balina vidiyo ne DVD ezibayamba okutegeera obulungi ekibiina kya Katonda, nga muno mwe muli: Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News, Our Whole Association of Brothers, To the Ends of the Earth, ne United by Divine Teaching. Okulaba emirimu egikolebwa Ababeseri, ab’oluganda abadduukirira abo abagwiriddwa obutyabaga, abaminsani, n’ab’oluganda abategeka enkuŋŋaana ennene, kisobola okukuyamba awamu n’ab’omu maka go okwongera okusiima ekibiina kya Yakuwa eky’ensi yonna.
Buli kimu ku bibiina by’abantu ba Katonda kirina kinene kye kikola mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ne mu kuyamba ab’oluganda abali mu kitundu buli kibiina mwe kisangibwa. Wadde kiri kityo, funayo akadde ng’oli wamu n’ab’omu maka go mujjukire “baganda bammwe bonna abali mu nsi.” Kino kijja kukuyamba awamu n’abaana bo okusigala “nga muli banywevu mu kukkiriza,” nga mukiraba nti waliwo ebintu bingi ebisobola okubaleetera essanyu.—1 Peet. 5:9.
[Akasanduko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Ekibiina kya Katonda Ebintu Bye Muyinza Okuyigako
Tulina ebintu bingi ebisobola okutuyamba okwongera okumanya ebyafaayo by’ekibiina kya Yakuwa n’engeri gye kikolamu emirimu gyakyo. Bino bye bimu ku bintu bye muyinza okuyigako:
☞ Omulimu gw’abalabirizi abatambula ab’omu kiseera kyaffe gwatandika gutya?—Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 222-227.
☞ Kiki ekyaliwo ku “Lunaku lw’Abaana” ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1941?—Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 86, 88.
☞ Akakiiko Akafuzi katuuka katya okusalawo ku nsonga ezitali zimu?—“Bearing Thorough Witness” About God’s Kingdom, olupapula 108-114.