SEMBERERA KATONDA
‘Engeri Ze Ezitalabika, Zirabikira Ddala Bulungi’
Okkiririza mu Katonda? Bwe kiba bwe kityo, olina obukakafu obulaga nti gyali? Waliwo obukakafu obwenkukunala obulaga nti Katonda gyali, era nti wa magezi, wa maanyi, era alina okwagala. Obukakafu obwo bwe buluwa? Okusobola okufuna eky’okuddamu, lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo ebiri mu bbaluwa gye wandiikira Abakristaayo ab’omu Rooma.
Pawulo yagamba nti: “Engeri [za Katonda] ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyakolebwa, ne kiba nti tebalina kya kwekwasa.” (Abaruumi 1:20) Pawulo yagamba nti ebitonde byoleka engeri za Katonda. Bizooleka bitya? Ka twetegereze ebigambo by’omutume Pawulo ebyo.
Pawulo agamba nti engeri za Katonda zirabikira ddala bulungi “okuva ensi lwe yatondebwa.” Mu lunyiriri luno, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ensi” tekitegeeza ensi eno kwe tuli, wabula kitegeeza bantu.a N’olwekyo, Pawulo ategeeza nti okuva abantu lwe baatondebwa, baali basobola okukiraba nti ebitonde byoleka engeri z’Omutonzi.
Ebitonde byonna ebinene n’ebitono, bikyoleka bulungi nti Katonda gyali era nti alina engeri ennungi. Engeri eyeewunyisa ebintu gye byatondebwamu teraga nti Katonda alina amagezi mangi nnyo? Obwengula obujjudde emmunyeenye era n’amayengo g’ennyanja ag’amaanyi tebiraga nti alina amaanyi mangi? Emmere ey’ebika ebingi etuwoomera n’enjuba erabika obulungi ng’evaayo era ng’egolooba tebiraga nti Omutonzi ayagala nnyo abantu?—Zabbuli 104:24; Isaaya 40:26.
Ebitonde byoleka bulungi engeri za Katonda ne kiba nti abo abagamba nti taliiyo “tebalina kya kwekwasa.” Omukugu omu ye akinnyonnyola bw’ati: Lowooza ku muvuzi w’emmotoka alaba ekipande ekigamba nti “Oluguudo Luddaabirizibwa—Weta ku Kkono,” kyokka ye n’atafaayo. Owa poliisi amuyimiriza n’amuwa ekibaluwa. Omuvuzi oyo agamba nti ekipande takirabye, naye ekyo owa poliisi takikkiriza kubanga ekipande kirabikkira ddala bulungi ate nga n’amaaso g’omuvuzi w’emmotoka galaba bulungi. Ng’oggyeko ekyo, buvunaanyizibwa bwa muvuzi okulaba ebipande ng’ebyo n’okukola kye bimugamba. Okufaananako “ekipande,” ebitonde bituyamba okutegeera nti Katonda gyali era nti alina engeri ennungi. Ng’abantu abalowooza era abategeera tusobola okukiraba. N’olwekyo, tewali kye tuyinza kwekwasa.
Awatali kubuusabuusa, ebitonde bituyigiriza bingi nnyo ku Mutonzi waffe. Naye ate waliwo ekintu ekirala ekisinga okutuyamba okumanya ebimukwatako, nga ye Bayibuli. Bwe tugisoma tusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kino ekikulu: Katonda alina kigendererwa ki eri ensi n’abantu? Okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kukuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. ‘Engeri ze ezitalabika zirabikira ddala bulungi’ mu bitonde.
Essuula za Bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Agusito
a Bayibuli era egamba nti “ensi” erina ebibi era nti yeetaaga omulokozi. Mu nnyiriri ng’ezo ekigambo “ensi” kitegeeza bantu so si eno kwe tuli.—Yokaana 1:29; 4:42; 12:47.
Ebitonde byoleka engeri za Katonda