LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 8/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Okusemberera Katonda mu Kusaba
    Katonda Atwetaagisa Ki?
  • Oyinza Otya Okusemberera Katonda?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 8/1 lup. 16
[Ekifaananyi ekiri  ku lupapula 16]

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Katonda awulira essaala zonna?

Katonda tasosola. (Zabbuli 145:18, 19) Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, atukubiriza okumubuulira kyonna ekitweraliikiriza. (Abafiripi 4:6, 7) Kyokka, waliwo essaala Katonda z’atawulira. Ng’ekyokulabirako, bwe tusaba nga tuddiŋŋana ebigambo tatuwulira.​—Soma Matayo 6:7.

Ate era, Yakuwa tawulira ssaala z’abo abamenya amateeka ge mu bugenderevu. (Engero 28:9) Ng’ekyokulabirako, mu biseera eby’edda Katonda yagaana okuwulira essaala z’Abaisiraeri abaali abatemu. Ekyo kitegeeza nti Katonda bw’aba ow’okuwulira essaala zaffe, waliwo bye tulina okukola.​—Soma Isaaya 1:15.

Biki bye tulina okukola okusobola okuwulirwa Katonda?

Katonda tayinza kuwulira ssaala zaffe bwe tumusaba nga tetulina kukkiriza. (Yakobo 1:5, 6) Tulina okuba nga tukkiriza nti gyali era nti atufaako. Tusobola okunyweza okukkiriza kwaffe nga tusoma Bayibuli, kubanga okukkiriza okwa nnamaddala kuba kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda.​—Soma Abebbulaniya 11:1, 6.

Tusaanidde okusaba mu bwesimbu era nga tuli bawombeefu. Ne Yesu, Omwana wa Katonda, yabanga muwombeefu ng’asaba. (Lukka 22:41, 42) N’olwekyo, mu kifo ky’okusaba ng’abalagira Katonda eky’okukola, tusaanidde okusoma Bayibuli tusobole okumanya engeri gy’ayagala tumusabemu.​—Soma 1 Yokaana 5:14.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 17 mu katabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Akatabo kano osobola okukafuna ku mukutu www.pr418.com

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share