LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp19 Na. 3 lup. 12-13
  • Oyinza Otya Okuba n’Obulamu Obulungi?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyinza Otya Okuba n’Obulamu Obulungi?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KATONDA ASSUUBIZA OKUBAAKO KY’AKOLAWO OBULAMU KU NSI BUBE NGA BWE YALI AYAGALA BUBEERE
  • YESU YALAGA EBINTU BY’AJJA OKUKOLERA ABANTU
  • OKUZUULA EKKUBO ERITUUSA MU BULAMU
  • TANDIKA OKUTAMBULIRA MU KKUBO ERITUUSA MU BULAMU
  • Engeri Entuufu ey’Okusinzaamu Katonda
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Biki Katonda by’Ajja Okukola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Mweyongere ‘Okumuwuliriza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Okusinza Katonda kw’Asiima
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 3 lup. 12-13
Omu ku bannassaayansi abaayogeddwako asoma Bayibuli

Oyinza Otya Okuba N’obulamu Obulungi?

LEERO obulamu tebuli nga Katonda bwe yali ayagala bubeere. Abantu bonna abali ku nsi bandibadde batwala Katonda ng’omufuzi waabwe, nga bagoberera obulagirizi bwe, era nga booleka okwagala nga ye. Bandibadde bakolagana bulungi, nga bayiga ebintu ebipya, era nga bafuula ensi yonna olusuku lwa Katonda.

KATONDA ASSUUBIZA OKUBAAKO KY’AKOLAWO OBULAMU KU NSI BUBE NGA BWE YALI AYAGALA BUBEERE

  • “Amalawo entalo mu nsi yonna.”​—Zabbuli 46:9.

  • ‘Ekiseera ne kituuka eky’okuzikiriza abo aboonoona ensi.’​—Okubikkulirwa 11:18.

  • “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’”​—Isaaya 33:24.

  • “Abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe.”​—Isaaya 65:22.

Ebisuubizo ebyo binaatuukirizibwa bitya? Katonda yalonda Omwana we Yesu okuba Kabaka mu gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuga ensi. Gavumenti eyo Bayibuli egiyita Obwakabaka bwa Katonda. (Danyeri 2:44) Bayibuli eyogera bw’eti ku Yesu: ‘Katonda alimuwa entebe era alifuga nga Kabaka.’​—Lukka 1:32, 33.

Yesu bwe yali ku nsi yakola ebyamagero bingi okulaga nti bw’anaaba afuga ensi, obulamu bw’abantu bujja kuba bulungi nnyo okusinga bwe buli kati.

YESU YALAGA EBINTU BY’AJJA OKUKOLERA ABANTU

  • Yawonya abantu endwadde eza buli kika, ekiraga nti ajja kuggyawo endwadde zonna eziruma abantu.​—Matayo 9:35.

  • Yakkakkanya omuyaga, ekiraga nti alina obuyinza ku maanyi g’obutonde era nti ajja kusobola okukuuma abantu.​—Makko 4:36-39.

  • Yaliisa abantu nkumi na nkumi, ekiraga nti ajja kuwa abantu bye beetaaga.​—Makko 6:41-44.

  • Bwe yali ku mbaga yafuula amazzi omwenge, ekiraga nti mu bufuzi bwe abantu bajja kunyumirwa obulamu.​—Yokaana 2:7-11.

Kiki ky’osaanidde okukola okusobola okuba mu bulamu obwo? Waliwo “ekkubo” ly’osaanidde okutambuliramu. Bayibuli eriyita ‘ekkubo erituusa mu bulamu, era n’abo abaliraba batono.’​—Matayo 7:14.

OKUZUULA EKKUBO ERITUUSA MU BULAMU

Ekkubo erituusa mu bulamu lye liruwa? Katonda agamba nti: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.” (Isaaya 48:17) Bw’otambulira mu kkubo eryo ojja kuba n’obulamu obulungi.

Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu.” (Yokaana 14:6) Bwe tukkiririza mu mazima Yesu ge yayigiriza era ne tukoppa ekyokulabirako kye yassaawo, tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era ne tuba n’obulamu obusingako obulungi.

Oyinza otya okuzuula ekkubo erituusa mu bulamu? Waliwo amadiini mangi, naye Yesu yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” (Matayo 7:21) Ate era yagamba nti: “Mulibategeerera ku bibala byabwe.” (Matayo 7:16) Bayibuli esobola okukuyamba okumanya eddiini ey’amazima.​—Yokaana 17:17.

Oyinza otya okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu? Ekyo okusobola okukikola, kikwetaagisa okusooka okumanya oyo eyawa abantu bonna obulamu: Erinnya lye y’ani? Engeri ze ze ziruwa? Biki by’akola? Biki by’ayagala tukole?a

Katonda bwe yali atonda abantu teyayagala bakome ku kukola, kulya, kuzannya, n’okuzaala abaana. Tusobola okumanya Omutonzi waffe era ne tufuuka mikwano gye. Bwe tukola by’ayagala tuba tulaga nti tumwagala. Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima.”​—Yokaana 17:3.

OKUYITIRA MU BAYIBULI, KATONDA “AKUYIGIRIZA OSOBOLE OKUGANYULWA.”​—ISAAYA 48:17

TANDIKA OKUTAMBULIRA MU KKUBO ERITUUSA MU BULAMU

Okusobola okusanyusa Katonda omu ow’amazima, kiyinza okukwetaagisa okubaako enkyukakyuka z’okola mu bulamu bwo. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekizibu. Naye ojja kuba n’obulamu obusingayo obulungi singa otandika okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu. Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo by’oyinza okuba nabyo ebikwata ku Katonda, Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyigiriza Bayibuli ku bwereere mu kiseera n’ekifo ebikwanguyira. Osobola okututuukirira okuyitira ku mukutu gwaffe www.pr418.com/lg.

a Laba Omunaala gw’Omukuumi, Na. 1 2019.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share