Weekenneenye Ekigambo kya Yakuwa Buli Lunaku!
1 Buli lunaku luleetawo okusoomooza okuppya eri okukkiriza kwo. Oboolyawo omuntu ow’ensi akupikiriza okugendako naye mu by’amasanyu. Omusomesa wo ayagala oluubirire omulimu ogumu mu nsi, oba mukama wo ayagala okole essaawa mpanvu. Oyinza okuba olwalalwala. Wadde ng’ebigezo ng’ebyo biyinza okukujjira ekiseera kyonna, toli wekka. Yakuwa mwetegefu okukuwa amagezi ageetaagibwa okwolekagana nabyo. Okwekenneenya ekyawandiikibwa okuva mu Baibuli awamu n’ebigambo ebikyogerako mu Examining the Scriptures y’emu ku ngeri gy’oyinza okufunamu Ekigambo kya Yakuwa obutayosa. Weeyambisa enteekateeka eno?
2 Obuyambi Weebuli: Isaaya 30:20 (NW) lwogera ku Yakuwa nga “Omuyigiriza ow’Ekitalo” abantu ba Katonda gwe batunuulira okufuna obuyambi. Akuwa kye weetaaga okusobola okwolekagana n’okusoomooza eri okukkiriza kwo. Atya? Olunyiriri oluddako lunnyonnyola: “Amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti Lino lye kkubo, mulitambuliremu.” Leero, Yakuwa amanyisa “ekigambo” kye okuyitira mu Byawandiikibwa era n’ebitabo ebifulumizibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Mu butabo bwa Omunaala gw’Omukuumi obw’emabega mulimu amagezi mangi nnyo agwakata ku buli kitundu kyonna eky’obulamu bw’Ekikristaayo. Okwejjukanya obwo obujuliziddwa mu Examining the Scriptures kikuyamba okufuna okumanya kungi nnyo okw’omugaso ennyo mu kwaŋŋanga ebigezo ebya buli kika.—Is. 48:17.
3 Tegekawo Ekiseera: Wadde ng’ebiseera eby’oku makya biba bya kukola nnyo, maama omu yagifuula mpisa ye okusoma n’okukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa n’ebigambo ebikyogerako ne mutabani we ng’alya eky’enkya. Ebigambo bino awamu n’okusaba bye bigambo mutabani we bye yasembangayo okuwulira buli nkya nga tannagenda ku ssomero. Byamusobozesa okuziyiza okupikirizibwa okwenyigira mu bukaba, okwekkiriranya eri mwoyo gwa ggwanga, era n’okuwa obujulirwa n’obuvumu eri bayizi banne n’abasomesa. Wadde nga ye yali Omujulirwa yekka mu ssomero lye, teyawulirako nti ali yekka.
4 Weesige Yakuwa n’Ekigambo kye okufuna obulagirizi. Bw’onookola bw’otyo, ajja kubeera wa ddala gy’oli, nga mukwano gwo gwe weesiga. Mutuukirire mu kusaba buli lunaku! Awamu n’obukadde n’obukadde bw’abalala mu nsi yonna abasoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku, ka naawe okizuule nti amaaso go gafuuse ‘amaaso agalaba Omuyigiriza wo ow’Ekitalo.’