Kiki Ekisobola Okutuyamba Okubeera Abanywevu mu Kukkiriza?
1 Okuva bwe twatandika okukolagana n’entegeka ya Yakuwa, okukulaakulana kwaffe mu by’omwoyo kutuviiriddemu essanyu lingi nnyo! Kyokka, kyetaagisa okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo okusobola ‘okusimba amakanda, okuzimbibwa, era n’okunywezebwa mu kukkiriza.’ (Bak. 2:6, 7, NW) Wadde ng’abasinga obungi bakulaakulanye mu mazima, abamu baddiridde olw’okulemererwa ‘okubeera abanywevu mu kukkiriza.’ (1 Kol. 16:13) Tusobola okuziyiza kino okututuukako. Tutya?
2 Okwenyigira mu Mirimu gy’Eby’Omwoyo Bulijjo: Ba n’enkola ey’eby’omwoyo ennungi gy’ogoberera mu ntegeka ya Yakuwa. Omwo ebyetaago byaffe eby’eby’omwoyo gye bikolerwako. Enkuŋŋaana entono n’ennene zitusobozesa okukulaakulana mu by’omwoyo n’okunywera, kasita tuzibeeramu obutayosa okusobola okuziganyulwamu. (Beb. 10:24, 25) Enkola ey’obutayosa kusoma Baibuli, magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!, era n’ebitabo ebinnyonnyola emmere enkalubo ey’Ekigambo kya Katonda ejja kutusobozesa okusimba amakanda mu by’omwoyo. (Beb. 5:14) Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era n’okufuba okubituukako nakyo kijja kutuleetera emiganyulo egy’olubeerera.—Baf. 3:16.
3 Obuyambi Okuva Eri Abakuze mu by’Omwoyo: Fuba okukolagana n’abakuze mu by’omwoyo mu kibiina. Fuba okumanya abakadde, kuba bano okusingira ddala be basobola okutuzzaamu amaanyi. (1 Bas. 2:11, 12) Kkiriza okubuulirira oba amagezi ge bakuwa. (Bef. 4:11-16) Abaweereza mu kibiina nabo bafaayo okuyamba abalala okubeera abanywevu mu kukkiriza, n’olwekyo kkiriza obuyambi bw’ab’oluganda bano obw’okukuzzaamu amaanyi.
4 Weetaaga obuyambi mu buweereza? Yogerako n’abakadde, era basabe obuyambi. Oboolyawo oyinza okussibwa mu nteekateeka eya Bapayoniya Abayamba Abalala. Waakabatizibwa? Okusoma akatabo Our Ministry era n’okugoberera ebikalimu kijja kukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Oli muzadde? Weeyongere okunyweza abaana bo mu by’omwoyo.—Bef. 6:4.
5 Bwe tubeera abanywevu mu kukkiriza, tuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era n’enkolagana ennungi ne baganda baffe. Kino kitusobozesa okugumira okulumba kwa Setaani, era kinyweza essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso eby’olubeerera.—1 Peet. 5:9, 10.