‘Beeranga Mugabi’
1 Ebyasa bingi ebiyiseewo omutume Pawulo yalagira Timoseewo okukubiriza bakkiriza banne “bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu.” (1 Tim. 6:18) Pawulo era yajjukiza Abakristaayo Abebbulaniya obuteerabiranga “okukola obulungi n’okugabiranga abalala.” (Beb. 13:16, NW) Lwaki yawandiika ebiragiro bino? Kubanga yali akimanyi nti wandibaddewo “ekitiibwa, n’ettendo n’emirembe ku buli akola obulungi.”—Bar. 2:10.
2 Olw’okuba ye Mutonzi, Yakuwa Katonda ye Nnannyini bintu byonna. (Kub. 4:11) Mazima ddala tusiima by’atukolera ng’akozesa ebibye. Wadde ng’abantu abasinga obungi tebasiima, Ali Waggulu Ennyo yeeyongera okukkiriza bonna okuganyulwa mu bintu by’ataddewo ebibeesaawo obulamu. (Mat. 5:45) Yawaayo n’Omwana we gw’asinga okwagala nga ssaddaaka tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Okwagala kwe tulagiddwa tekwanditukubirizza okulaga okusiima kwaffe nga tuba bagabi eri bannaffe?—2 Kol. 5:14, 15.
3 Kiki Kye Tuyinza Okugaba? Tusaanidde okukozesa byonna bye tulina mu ngeri esanyusa Katonda. Mazima ddala, twagala okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogw’ensi yonna nga tweyambisa ebintu ebikalu bye tulina awamu n’ebyo bye tulina mu by’omwoyo. Kya lwatu, amawulire amalungi kye ky’obugagga ekisingirayo ddala okuba eky’omuwendo omuntu yenna ky’ayinza okuba nakyo, kuba ge ‘maanyi ga Katonda agalokola.’ (Bar. 1:16) Bwe tukozesa ebiseera byaffe n’ebyo bye tulina okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza buli mwezi, tuyinza okugabanyizaako abalala ku ky’obugagga kino eky’eby’omwoyo, ekiyinza okubaviiramu okufuna obulamu obutaggwaawo.
4 Yakuwa asanyuka nnyo bwe tuyamba abalina ebintu ebitono. Atusuubiza emikisa, era atujjukiza: “Eby’obugagga tebiribaako kye bigasa ku lunaku olw’obusungu naye obutuukirivu bu[li]wonya mu kufa.” (Nge. 11:4; 19:17) Okuwagira omulimu gw’Obwakabaka nga tukozesa bye tulina era n’okwenyigira mu bujjuvu mu kubuulira amawulire amalungi ngeri nnungi nnyo mwe tuyinza okulagira nti ddala tuli ba kisa era bagabi.