Beera Omuwuliriza Omulungi
1 Kyetaagisa okwefuga okusobola okuwuliriza obulungi. Era omuwuliriza kimwetaagisa okuba ng’ayagala okuyiga n’okuganyulwa mu ebyo by’awulira. N’olwekyo, Yesu yaggumiza obwetaavu ‘bw’okussaayo omwoyo ku ngeri gye tuwulirizaamu.’—Luk. 8:18.
2 Kino okusingira ddala kikola nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Bino bye biseera lwe tuteekwa okuwuliriza n’obwegendereza. (Beb. 2:1) Zino wammanga ze zimu ku nsonga ezinaakuyamba okubeera omuwuliriza omulungi mu nkuŋŋaana zino ez’Ekikristaayo.
◼ Siima omuwendo gw’enkuŋŋaana. Ye ngeri enkulu Yakuwa ‘mw’atuyigiririza’ ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa.’—Is. 54:13; Luk. 12:42.
◼ Teekateeka nga bukyali. Soma ekitundu ekigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo, era kakasa nti oleeta Baibuli yo ne kopi yo ey’ekitabo ekigenda okusomebwa.
◼ Mu kiseera ky’enkuŋŋaana, fuba nga bwe kisoboka okussaayo ebirowoozo. Okwogera n’abo b’otudde nabo era n’okutunuulira abalala abaliwo kye bakola kisaana okwewalibwa. Fuba okulaba nti towugulibwa birowoozo ebikwata ku ky’ogenda okukola oluvannyuma lw’olukuŋŋaana oba ku bintu ebirala ebikukwatako.
◼ Weekenneenye bulungi ebyogerwa. Weebuuze: ‘Kino kinkwatako kitya? Ddi lwe ŋŋenda okukissa mu nkola?’
◼ Wandiika mu bufunze ensonga enkulu n’ebyawandiikibwa. Kino kikuyamba okussa ebirowoozo byo ku ekyo ekikubaganyizibwako ebirowoozo era ne kikusobozesa okujjukira ensonga enkulu z’onookozesa oluvannyuma.
3 Yigiriza Abaana Bo Okuwuliriza: Abaana beetaaga okuweebwa obulagirizi mu by’omwoyo. (Ma. 31:12) Mu biseera eby’edda “bonna abaayinza okuwulira n’okutegeera” mu bantu ba Katonda baali ba kussaayo omwoyo ng’Amateeka gabasomerwa. (Nek. 8:1-3) Abazadde bwe benyigira mu nkuŋŋaana era ne bawuliriza bulungi, abaana baabwe nabo bajja kukola kye kimu. Si kya magezi okuleetera abaana eby’okuzanyisa oba ebitabo ebirimu ebifaananyi okusobola okubakuumirako ebirowoozo byabwe. Okugenda mu kabuyonjo enfunda n’enfunda nakyo kibalemesa okuwuliriza obulungi. Okuva ‘obusirusiru bwe buli mu mutima gw’omwana omuto,’ abazadde balina okufuba okulaba nti abaana baabwe bakkalira mu bifo byabwe era ne bawuliriza nga bali mu nkuŋŋaana.—Nge. 22:15.
4 Bwe tubeera abawuliriza abalungi, tuwa obukakafu nti ddala tulina amagezi era nti twagala ‘okweyongera okuyiga.’—Nge. 1:5.